Ab’Oluganda Babiri Abapya Abaweereza ku Kakiiko Akafuzi
NGA Okitobba 5, 2024, ekirango eky’enjawulo kyayisibwa ku lukuŋŋaana olwa buli mwaka era kyali kigamba nti: Ow’Oluganda Jody Jedele n’ow’Oluganda Jacob Rumph, balondeddwa okuweereza ku Kakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa. Ab’oluganda abo bombi babadde baweereza Yakuwa n’obwesigwa okumala emyaka mingi.
Jody Jedele ne mukyala we, Damaris
Ow’Oluganda Jedele yazaalibwa mu ssaza lya Missouri, mu Amerika, era yakuzibwa abazadde Abajulirwa ba Yakuwa. Ye ne bazadde be baali babeera mu kitundu ekitatera kubuulirwamu. Ekyo kyamusobozesa okusisinkana ab’oluganda bangi okuva mu bitundu by’Amerika ebyenjawulo abaagendanga mu kitundu ekyo okubuulira amawulire amalungi. Okwagala kwe baali balagaŋŋana n’okuba nti baali bumu, byabakwatako nnyo. Yabatizibwa ng’ali mu myaka gye egy’obutiini nga Okitobba 15, 1983. Yali anyumirwa nnyo okubuulira era bwe yamala emisomo gye egya siniya, yatandika okuweereza nga payoniya owa bulijjo mu Ssebutemba 1989.
Ow’Oluganda Jedele bwe yali akyali muto, bazadde be baamutwalanga ye ne mwannyina okulambula Beseri. Ekyo kyayamba abaana abo okweteerawo ekiruubirirwa eky’okuweereza ku Beseri, era ekiruubirirwa ekyo baakituukako. Ow’Oluganda Jedele yatandika okuweereza ku Beseri y’omu Wallkill mu Ssebutemba 1990. Yasooka kukola mu kitongole ekikola ogw’okuyonja ate oluvannyuma n’akola mu kitongole ekikola ku kujjanjaba Ababeseri.
Mu kiseera ekyo, ebibiina by’Olusipeyini byali byeyongedde era nga byetaaga ab’oluganda abatwala obukulembeze. N’olwekyo, ow’Oluganda Jedele yeegatta ku kimu ku bibiina ebyo era n’atandika okuyiga Olusipeyini. Tewaayita kiseera kiwanvu n’asisinkana Damaris, mwannyinaffe eyali aweereza nga payoniya mu kitundu ekyo. Oluvannyuma lw’ekiseera baafumbiriganwa era Damaris naye yatandika okuweereza ku Beseri.
Mu 2005 baava ku Beseri ne bagenda okulabirira bazadde baabwe abaali abalwadde. Bazadde baabwe abo baali baweereza Yakuwa n’obwesigwa. Mu kiseera ekyo ow’Oluganda Jedele ne mukyala we baali baweereza nga bapayoniya aba bulijjo. Ow’Oluganda Jedele yayambako mu kusomesa mu Ssomero lya Bapayoniya, yaweereza ku Kakiiko Akakwanaganya eby’Eddwaliro, ne ku Kakiiko Akakola ku by’Okuzimba.
Mu 2013, Ow’Oluganda Jedele ne mukyala we baddamu okuyitibwa ku Beseri okuyambako mu kuzimba Beseri y’e Warwick. Oluvannyuma baaweerezaako ku Beseri y’e Patterson ne Wallkill. Ow’Oluganda Jedele yaweererezaako mu kitongole ekikola ogw’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka ne mu kitongole ekikola ku by’obujjanjabi. Mu Maaki 2023, Ow’Oluganda Jedele yalondebwa okuweereza ng’omuyambi ku Kakiiko k’Obuweereza. Bw’afumiitiriza ku buvunaanyizibwa obw’enjawulo bw’azze aweebwa, agamba nti: “Bw’oweebwa obuvunaanyizibwa obupya, emirundi egimu oyinza okuwulira ng’otidde. Oba weetaaga okwesiga ennyo Yakuwa kubanga asobozesa ebintu okubaawo.”
Jacob Rumph ne mukyala we, Inga
Ow’Oluganda Rumph yazaalibwa mu ssaza lya California, mu Amerika. Bwe yali akyali muto, maama we yali yaggwaamu amaanyi mu by’omwoyo, naye yafuba okumuyigiriza amazima agali mu Bayibuli. Ate era, buli mwaka yagendanga okukyalira jjajjaawe eyali aweereza Yakuwa n’obwesigwa. Yamuyamba okwagala okuyiga ebisingawo ebikwata ku Bayibuli, era bwe yali wa myaka 13, yasaba okutandika okuyigirizibwa Bayibuli. Ow’Oluganda Rumph yabatizibwa mu myaka gye egy’obutiini nga Ssebutemba 27, 1992. Eky’essanyu, maama we yaddamu okubuulira era taata we ne baganda be baakulaakulana mu by’omwoyo era ne babatizibwa.
Ow’Oluganda Rumph bwe yavubuka, yakiraba nti bapayoniya baali basanyufu nnyo. Bwe yamala okusoma siniya, yatandika okuweereza nga payoniya mu Ssebutemba 1995. Mu 2000, yagenda okuweereza mu Ecuador awaali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. Eyo gye yasisinkana mwannyinaffe Inga, enzaalwa y’e Canada, eyali aweereza nga payoniya owa bulijjo era oluvannyuma baafumbiriganwa. Oluvannyuma lw’okufumbiriganwa baaweerereza wamu mu kabuga akamu mu Ecuador, awaali ekibinja ekyalimu ababuulizi abatonotono. Leero mu kabuga ako waliyo ekibiina era kirimu ababuulizi bangi.
Oluvannyuma lw’ekiseera, ow’Oluganda Rumph ne mukyala we baalondebwa okuweereza nga bapayoniya ab’enjawulo era oluvannyuma ne bakola omulimu gw’okukyalira ebibiina. Mu 2011 baayitibwa mu Ssomero lya Gireyaadi erya 132. Bwe baamala okutikkirwa baaweereza mu nsi ez’enjawulo era beenyigira mu buweereza obw’enjawulo, gamba ng’okuweereza ku Beseri, okuweereza ng’abaminsani, n’okukyalira ebibiina. Ate era ow’Oluganda Rumph yafuna enkizo ey’okusomesaako mu Ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka.
Olw’ekirwadde kya COVID-19, ow’Oluganda Rumph ne mukyala we baddayo mu Amerika. Baayitibwa okuweereza ku Beseri y’omu Wallkill, era ow’Oluganda Rumph yatendekebwa okukola mu Kitongole ky’Obuweereza. Oluvannyuma baasindikibwa okuddamu okuweereza ku ofiisi y’ettabi ey’omu Ecuador, era ow’Oluganda Rumph yali aweereza ku Kakiiko k’Ettabi. Mu 2023 baasindikibwa okuweereza e Warwick. Mu Jjanwali 2024, ow’Oluganda Rumph yalondebwa okuweereza ng’omuyambi ku Kakiiko k’Obuweereza. Bw’alowooza ku bitundu gy’aweererezza, agamba nti: “Ekifo gy’oweerereza oba omulimu gw’okola si kye kikulu, ekisinga obukulu be bantu b’oweereza nabo.”
Tusiima nnyo omulimu ab’oluganda bano gwe bakola, era ‘abantu abalinga abo tubatwala nga ba muwendo nnyo.’—Baf. 2:29.