Ennyanjula
Obadde okimanyi nti Abajulirwa ba Yakuwa bakuba ebitabo byabwe mu nnimi ezisukka mu 750?
Ekyo lwaki bakikola? Baagala obubaka obuli mu Bayibuli butuuke ku bantu aba “buli ggwanga n’ekika n’olulimi.”—Okubikkulirwa 14:6.
Magazini eno eya “Zuukuka!” ennyonnyola engeri Abajulirwa ba Yakuwa gye bakolamu omulimu gwabwe ogw’okuvvuunula.