LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • g16 Na. 3 lup. 3
  • Okutuusa Obubaka ku Bantu ab’Ennimi ez’Enjawulo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okutuusa Obubaka ku Bantu ab’Ennimi ez’Enjawulo
  • Zuukuka!—2016
  • Similar Material
  • Ennyanjula
    Zuukuka!—2016
  • Amawulire Amalungi mu Nnimi 500
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Ensimbi Ze Tuwaayo Bye Zikola
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
  • Abantu ‘ab’Ennimi Zonna’ Bawuliriza Amawulire Amalungi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
See More
Zuukuka!—2016
g16 Na. 3 lup. 3
Abantu ab’amawanga ag’enjawulo

OMUTWE OGULI KUNGULU | OKUTUUSA OBUBAKA KU BANTU AB’ENNIMI EZ’ENJAWULO

Okutuusa Obubaka ku Bantu ab’Ennimi ez’Enjawulo

OKUBA nti mu nsi mulimu ennimi ezoogerwa nga 7,000 oluusi kiyinza okuzibuwaza eby’entambula, eby’obusuubuzi, eby’enjigiriza, n’emirimu gya gavumenti. Bwe kityo bwe kibadde okuva edda. Ng’ekyokulabirako, emyaka nga 2500 emabega, mu bufuzi bwa Kabaka Akaswero (oboolyawo ng’ono ye Zakisiisi I), Abaperusi baasaasaanya ebiwandiiko mu bitundu byonna ebyali bifugibwa obwakabaka bwa Buperusi, “okuva mu Buyindi okutuuka mu Esiyopiya, amasaza 127, buli ssaza mu mpandiika yaalyo na buli ggwanga mu lulimi lwalyo.”a

Leero, ebibiina bitono nnyo oba gavumenti ntono nnyo ezisobola okugezaako okukola ekintu ng’ekyo ekitali kyangu. Naye waliwo ekibiina kimu ekisobodde okukola ekintu ekyo. Abajulirwa ba Yakuwa bafulumya magazini, vidiyo, n’ebitabo ebirala bingi, nga muno mwe muli ne Bayibuli, mu nnimi ezisukka mu 750. Mu nnimi ezo mwe muli n’eza bakiggala nga 80. Era Abajulirwa ba Yakuwa bakuba n’ebitabo eby’enjawulo ebya bamuzibe.

Mu kukola omulimu ogwo Abajulirwa ba Yakuwa tebasasulwa. Mu butuufu, Abajulirwa ba Yakuwa abakola ogw’okuvvuunula bonna bakola nga bannakyewa. Naye lwaki bafuba nnyo okuvvuunula ebitabo byabwe mu nnimi ennyingi bwe zityo, era omulimu ogwo bagukola batya?

a Laba Eseza 8:9 mu Bayibuli.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share