Ensimbi Ze Tuwaayo Bye Zikola
1 Omulimu gw’okuyigiriza abantu Baibuli mu nsi yonna, guddukanyizibwa na nsimbi eziweebwayo kyeyagalire. Ensimbi zonna ezifunibwa zeeyambisibwa okuwagira omulimu gw’okubuulira Obwakabaka mu kiseera kyaffe. Ng’oggyeko okufulumya ebitabo ebisaasaanyizibwa mu nsi yonna, Sosayate erabirira amatabi gaayo, Beseri, bapayoniya eb’enjawulo, abalabirizi abatambula, amasomero g’abaminsani, ag’abakadde n’abaweereza, ebifo awasinziirwa okusaasaanya ebitabo, n’ebintu ebirala bingi ebyetaagisa mu kuwagira omulimu Yesu gwe yawa abayigirizwa be.—Mat. 24:14; 28:19, 20.
2 Ababuulizi bangi wamu n’ab’omu maka gaabwe, babaako kye baterekawo obutayosa okusobola okuwaayo eri omulimu gw’okubuulira mu nsi yonna. (Geraageranya 1 Abakkolinso 16:1, 2.) Mu ngeri eyo, emirimu gya Sosayate giddukanyizibwa. Bwe tuneeyongera okugaziya obuweereza bwaffe, era ne tukozesa bulungi ebitabo bya Sosayate, Yakuwa ajja kutuwa omukisa tweyongere obungi. Abantu ab’emitima emirungi basiima bwe tubannyonnyola obulungi ebikwata ku buweereza bwaffe era ne bawagira omulimu guno nga bawaayo kyeyagalire.
3 Sosayate esobola etya okugaba ebitabo byayo awatali kubisasulira? Sente ezikozesebwa okukuba ebitabo bino n’okubisaasaanya ziva mu kuwaayo okwa kyeyagalire. Abaweereza ba Yakuwa abeewaddeyo gy’ali be basingira ddala okuwagira omulimu guno. Abajulirwa ba Yakuwa tebasabiriza buyambi kuva mu bantu ab’ebweru okusobola okukola omulimu guno omukulu ennyo ogw’okulangirira Obwakabaka. Tetukolangako kaweefube wa kusonda nsimbi okuva mu bantu ab’ebweru, era tetumukola wadde mu kiseera kino. Kyokka, tusiima obuyambi obutonotono obuva mu bantu abaagala okuyiga Baibuli be tusanga nga tubuulira.
4 Nga tuwumbawumbako, ab’oluganda abali mu kitundu kyaffe okufaananako abali awalala wonna mu nsi, bakimanyi nti abantu ba Yakuwa abeewaddeyo gy’ali be basingira ddala okuwaayo ensimbi ezeetaagisa okulabirira omulimu gw’okubuulira mu nsi yonna. Bakimanyi nti obwetaavu obwo weebuli era bateeka ensimbi mu busanduuko obuli mu Bizimbe by’Obwakabaka obuwandiikiddwako nti “Okuwaayo eri Omulimu gw’Okubuulira mu Nsi Yonna.—Mat. 24:14.” Kino kikolebwa kyeyagalire era n’essanyu okusinziira ku musingi oguli mu 2 Abakkolinso 9:7. Lipoota y’eby’embalirira bw’esomebwa eri ekibiina omulundi ogumu buli mwezi, ab’oluganda bategeezebwa ssente ezaaweebwayo eri Sosayate okuwagira omulimu gw’okubuulira mu nsi yonna, era mu ngeri eyo bamanya nti ekibiina kyabwe kiwagira omulimu gw’Obwakabaka obutayosa. Beera mukakafu nti obuwagizi bwo eri Sosayate, buyamba okutuukiriza omulimu gw’okubuulira amawulire g’Obwakabaka n’okufuula abayigirizwa mu nsi yonna.