Amawulire Amalungi mu Nnimi 500
OLUTALO olwali mu Rwanda bwe lwanyiinyiitira, akabinja k’abavvuunuzi badduka mu maka gaabwe ne baleka ebintu byabwe byonna. Wadde kyali kityo, badduka ne bu kompyuta bwabwe ne bagenda nabwo mu nkambi z’ababundabunda. Lwaki? Kibasobozese okweyongera okuvvuunula ebitabo ebyesigamiziddwa ku Baibuli mu lulimi Olunyarwanda.
Omuwala omu omuto ow’omu Bukiikaddyo bw’Obuvanjuba bwa Asiya akozesa kompyuta ye ekiro mu matumbi budde okuvvuunula ebitabo. Kino akikola wadde ng’aba mukoowu, ng’ebbugumu lingi ate nga n’amasannyalaze gavaavaako. Aba na kiruubirirwa ki? Aba ayagala amalirize omulimu ogwo mu kiseera ekigereke.
Abavvuunuzi bano be bamu ku bannakyewa 2,300 abali mu bitundu ebisukka mu 190 okwetooloola ensi yonna. Bali wakati w’emyaka 20 ne 90 era bakola butaweera okulaba nti abantu bafuna obubaka obubudaabuda okuva mu Baibuli mu nnimi 500.—Okubikkulirwa 7:9.
Okutuusa Obubaka ku Bantu Aboogera Ennimi ez’Enjawulo
Mu myaka egyakayita, omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa ogw’okuvvuunula ebitabo gukulaakulanye ne gutuuka ku kigero ekitabangawo. Ng’ekyokulabirako, mu 1985, magazini eyitibwa The Watchtower yali efulumizibwa mu nnimi 23 mu kiseera kye kimu, era nga kuno kwali kukulaakulana kwa maanyi nnyo mu kiseera ekyo. Leero, magazini eyo efulumizibwa mu nnimi 176 mu kiseera kye kimu kisobozese abantu okwetooloola ensi yonna okusoma ebintu bye bimu mu kiseera kye kimu.
Magazini eyitibwa Watchtower ye yokka efulumizibwa obutayosa mu nnimi nga 50. Lwaki? Kubanga kampuni ezikuba ebitabo eby’okutunda tezifaayo kukuba bitabo mu nnimi ezoogerwa abantu aba bulijjo. Naye Abajulirwa ba Yakuwa okwetooloola ensi yonna babaako bye bawaayo kyeyagalire kisobozese abantu okufuna Baibuli n’ebitabo ebigyesigamiziddwako.—2 Abakkolinso 8:14.
Abantu basanyukira nnyo obubaka bwa Baibuli obuli mu nnimi zaabwe. Ng’ekyokulabirako, gye buvuddeko awo, ebitabo ebyesigamiziddwa ku Baibuli byatandika okufulumizibwa mu Miskito olulimi olwogerwa abantu nga 200,000 ab’omu Nicaragua. Omukyala omu yasaba ekitabo ekiyitibwa Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibulia ekiri mu lulimi Miskito, era pasita ow’omu kitundu ekyo yaliwo nga ba kimuwa. Pasita bwe yalaba ekitabo ekyo ekirungi, yayagala akisigaze. Naye omukyala oyo yagaana okukimuwa, wadde nga Pasita yali ayagala bawaanyise amuweemu kiro 20 ez’emwanyi za kase!
Mu myaka kkumi egiyise, ebitabo ebinnyonnyola Baibuli bivvuunuddwa mu nnimi ezisoba mu kkumi na bbiri ezoogerwa bannansi ba Mexico, nga mw’otwalidde ennimi gamba nga Maya, Nahuatl, ne Tzotzil. Mu myaka egitawera kkumi, ebibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa ebikozesa ennimi ezoogerwa mu nsi eyo n’olulimi lwa bakiggala byeyongedde okuva ku bibiina 72 okutuuka ku bibiina 1,200. Abajulirwa ba Yakuwa bayinza okusiga obubaka bwa Baibuli mu mitima gy’abantu, naye obuvunaanyizibwa obw’okukuza ensigo ezo ez’amazima babulekera Katonda.—1 Abakkolinso 3:5-7.
Enkyusa ya Baibuli ey’Omu Kiseera Kino mu Nnimi 80
Mu myaka egyakayita, Abajulirwa ba Yakuwa bafubye nnyo okufulumya Baibuli ey’Enkyusa ey’Ensi Empya mu bulambalamba ne mu bitundutundu mu nnimi 80. Biki ebivuddemu? Omujulirwa wa Yakuwa omu ow’omu South Africa yayogera bw’ati ku Baibuli eri mu lulimi Oluswana: “Nga Baibuli eno nnungi nnyo. Ejja kunnyamba okwongera okutegeera Ekigambo kya Katonda. Nyangu okusoma era enyuma.” Ate omulala ow’omu Mozambique asoma Olusonga yagamba nti: “Wadde nga tubadde n’ebitabo ebirala ebyesigamiziddwa ku Baibuli, eky’obutaba na Baibuli kibadde kiringa okulaba ebimyanso n’okuwulira eggulu nga libwatuka naye enkuba ne tatonnya! Kyokka, okuva Baibuli ey’Enkyusa ey’Ensi Empya lwe yafulumizibwa mu lulimi Olusonga, olwo enkuba yali ng’etandise okutonnya.”
Mu ngeri eyeewuunyisa, abo abavvuunula era ne basaasaanya amawulire amalungi agali mu Baibuli batuukiriza obunnabbi obw’edda ennyo. Yesu Kristo kennyini yagamba nti: “Amawulire gano amalungi ag’obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna etuuliddwamu okuba obujulirwa eri amawanga gonna, olwo enkomerero n’eryoka ejja.”—Matayo 24:14.
[Obugambo obuli wansi]
a Kyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
[Gulaafu eri ku lupapula 31]
(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu magazini)
ENKYUSA EY’ENSI EMPYA EBITABO
EBIRALA
Mu bulambalamba oba
mu bitundutundu
80 2010 500 2010
36 2000
13 1990 200 1990
190 1980
7 1970 165 1970
125 1960
1 1950 88 1950
ENNIMI
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 31]
Bannakyewa nga 2,300 bavvuunula ebitabo ebinnyonnyola Baibuli mu nnimi 500
BENIN
SLOVENIA
ETHIOPIA
BRITAIN