Ennyanjula
Okweggyamu emize emibi ne weemanyiiza okukola ebintu ebirungi kyetaagisa okufuba, naye ebivaamu biba birungi nnyo?
Bayibuli egamba nti:
“Enkomerero y’ekintu esinga entandikwa yaakyo.”—Omubuulizi 7:8.
Akatabo kano kalaga engeri abantu gye bayinza okweggyamu emize emibi ne beemanyiiza okukola ebintu ebirungi era ebibaganyula.