Ennyanjula
Lwaki tusaanidde okwetegekera obutyabaga?
Bayibuli egamba nti: “Omuntu ow’amagezi alaba akabi ne yeekweka, naye atalina bumanyirivu agenda bugenzi mu maaso n’agwa mu mitawaana.”—Engero 27:12.
Magazini eno eraga bye tusaanidde okukola ng’akatyabaga tekannagwawo, nga kagwawo, n’oluvannyuma lw’okugwawo.