LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • g17 Na. 6 lup. 8-9
  • Okuyigiriza Abaana Obwetoowaze

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okuyigiriza Abaana Obwetoowaze
  • Zuukuka!—2017
  • Subheadings
  • Similar Material
  • OKUSOOMOOZA
  • KY’OSAANIDDE OKUMANYA
  • KY’OYINZA OKUKOLA
  • Okuba Omwetoowaze
    Zuukuka!—2019
  • Beera Mwetoowaze
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Obutapondooka
    Zuukuka!—2019
  • Yesu Yali Mwetoowaze
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
See More
Zuukuka!—2017
g17 Na. 6 lup. 8-9
A boy expects his mother to wait on him

AMAGEZI AGAYAMBA AMAKA | OKUKUZA ABAANA

Okuyigiriza Abaana Obwetoowaze

OKUSOOMOOZA

  • Omwana wo ayoleka amalala kyokka ng’alina emyaka kkumi gyokka!

  • Asuubira nti buli omu alina okumutwala nti wa kitalo.

Oyinza okwebuuza, ‘Kiki ekimutuuseeko? Njagala yeeyagale naye saagala alowooze nti wa waggulu ku balala!’

Kisoboka okuyigiriza omwana okuba omwetoowaze naye nga tomuleetedde kuwulira nti si wa mugaso?

A little girl sits like a princess with her parents bowing down to her

KY’OSAANIDDE OKUMANYA

Mu myaka egiyise abazadde babadde bakubirizibwa okukolera abaana baabwe buli kimu kye baagala, okubatendereza ennyo ne bwe kiba nti tewali kye bakoze kibagwanyiza kutenderezebwa, n’obutabagambako wadde okubakangavvula. Kyali kirowoozebwa nti singa abaana bayisibwa mu ngeri eyo kyandibayambye okukula nga bekkiririzaamu oba nga tebeenyooma. Naye biki ebivuddemu? Ekitabo ekiyitibwa Generation Me kigamba nti: “Mu kifo ky’okuyamba abaana, ekyo kireetedde abaana okubeera nga beetwala okuba ab’ekitalo.”

Abaana bangi abatenderezebwa ne mu bintu ebitaliimu, bwe bakula, bayisibwa bubi bwe banenyezebwako, ebintu bwe bitagenda nga bwe babadde basuubira, oba bwe babaako kye balemereddwa okutuukiriza. Olw’okuba baba baakuzibwa nga beerowoozaako bokka, kibazibuwalira okukola emikwano egiwangaala. N’ekivaamu bangi ku bo bafuna obulwadde obw’okwennyamira.

Ekiyamba abaana okukula nga tebeenyooma, si kwe kubatendereza buli kaseera, wabula kwe kubayamba okuyiga okukola ebintu obulungi. Ekyo okusobola okukikola tebalina kukoma bukomi ku kwekkiririzaamu. Naye balina okuyiga okukola ebintu ebitali bimu, n’okwongera okukuguka mu ngeri gye babikolamu. (Engero 22:29) Balina n’okuyiga okufaayo ku balala. (1 Abakkolinso 10:24) Ebyo byonna byetaagisa obwetoowaze.

KY’OYINZA OKUKOLA

Mutendereze nga ddala kyetaagisa. Omwana wo bw’ayita obulungi ebigezo, mwebaze. Naye bw’akola obubi, toyanguyiriza kunenya musomesa. Ekyo tekijja kuyamba mwana wo kuyiga kuba mwetoowaze. Mu kifo ky’ekyo, muyambe okumanya ebinaamuyamba okukola obulungi ku mulundi omulala. Mutendereze nga ddala kyetaagisa.

Bwe kiba kyetaagisa muwabule. Ekyo tekitegeeza nti olina okunenya omwana wo mu buli nsobi gy’akola. (Abakkolosaayi 3:21) Naye bw’akola ensozi ez’amaanyi olina okumuwabula. Ekyo era ky’osaanidde okukola singa okiraba nti omwana wo alina endowooza embi. Bw’otomuwabula, endowooza ezo ziyinza okwongera okusimba amakanda mu mutima gwe.

Ng’ekyokulabirako, watya singa omwana wo atandika okwewaana. Bw’otomuwabula, kiyinza okumuviirako okufuna amalala n’atuuka n’okwetwala nti asukkulumye ku balala. N’olwekyo omwana wo oba weetaaga okumuyamba okukiraba nti okwewaana si kulungi era nti kuyinza n’okumuviirako okuswala. (Engero 27:2) Era muyambe okukiraba nti omuntu alina endowooza ennuŋŋamu talina kubeera awo nga yeewaana olw’ebyo by’akola. Bw’omuwabula mu ngeri ey’okwagala kimuyamba okuba omwetoowaze ate mu kiseera kye kimu n’aba nga teyeenyooma.​—Amagezi okuva mu Bayibuli: Matayo 23:12.

Yamba omwana wo okutunuulira obulamu nga bwe buli ddala. Bw’owa omwana buli kimu ky’akusaba, kiyinza okumuleetera okulowooza nti ateekeddwa okufuna buli ky’ayagala. N’olwekyo, singa omwana wo akusaba ekintu ky’otosobola kugula, munnyonnyole ensonga lwaki kya magezi omuntu okumanya ensawo ye w’ekoma. Bwe kiba nga kikwetaagisa okusazaamu enteekateeka ez’okwesanyusaamu ze muba mwakola, munnyonnyole nti oluusi ebintu biyinza obutagenda nga bwe tubadde twagala era munnyonnyole engeri gy’ayinza okwaŋŋangamu embeera eyo. Mu kifo ky’okutaliza abaana bo baleme kwolekagana na mbeera yonna nzibu, bayambe okwetegekera ebizibu bye bajja okwolekagana nabyo nga bakuze.​—Amagezi okuva mu Bayibuli: Engero 29:21.

Mukubirize okugaba. Yamba omwana wo okukimanya nti “okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.” (Ebikolwa 20:35) Ekyo oyinza otya okukikola? Ng’oli wamu n’omwana wo muyinza okuwandiika olukalala lw’abantu abeetaaga obuyambi, gamba ng’abo abeetaaga okuyambibwako mu kugula ebintu, mu by’entambula, oba mu kuddaabiriza ebintu byabwe. Bw’oba ogenda okuyamba abamu ku bantu abo, genda n’omwana wo. Leka omwana wo akirabe nti ofuna essanyu lingi mu kuyamba abalala. Bw’okola bw’otyo, ojja kuba omuteereddewo ekyokulabirako ekirungi ekijja okumuyamba okuba omwetoowaze.​—Amagezi okuva mu Bayibuli: Lukka 6:38.

Okumanya ebisingawo, kozesa code oba genda ku mukutu gwa, jw.org, onoonye omutwe ogugamba nti “Raising Considerate Children in a Me-First World.”

EBYAWANDIIKIBWA EBIKULU

  • “Buli eyeegulumiza alitoowazibwa na buli eyeetoowaza aligulumizibwa.”​—Matayo 23:12.

  • “Omuweereza bwe bamuginya okuva mu buvubuka bwe, mu maaso eyo alifuuka omuntu atasiima.”​—Engero 29:21.

  • “Mugabenga.”​—Lukka 6:38.

KITWALE NTI ABALALA BAKUSINGA

Bayibuli egamba nti: ‘Temukola kintu kyonna mu kuyomba, oba mu kwetwala ng’ab’ekitalo, wabula mukole ebintu byonna mu buwombeefu nga mukitwala nti abalala babasinga, era nga temufaayo ku byammwe byokka naye nga mufaayo ne ku by’abalala.’​—Abafiripi 2:3, 4.

Omwana akuzibwa ng’akolera ku magezi ago kimwanguyira okukiraba nti mu ngeri emu oba endala buli muntu alina ky’amusingako. Ekyo kimuyamba okubeera omwetoowaze n’okuba nga teyeefaako yekka ng’abantu abasinga obungi leero bwe bakola.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share