LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • g21 Na. 1 lup. 4-5
  • Amagezi Agasobozesa Amaka Okubaamu Essanyu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Amagezi Agasobozesa Amaka Okubaamu Essanyu
  • Zuukuka!—2021
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Abaami, Mwagale Bakyala Bammwe
  • Abakyala, Musseemu Abaami Bammwe Ekitiibwa
  • Beera Mwesigwa eri Munno mu Bufumbo
  • Abazadde, Mutendeke Abaana Bammwe
  • Abaana, Mugondere Bazadde Bammwe
  • Amaka go Gasobola Okubaamu Essanyu
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Engeri y’Okufuulamu Amaka Gammwe Amasanyufu
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Obulamu bw’Amaka Obusanyusa Katonda
    Katonda Atwetaagisa Ki?
  • Amaka Go Gayinza Gatya Okubaamu Essanyu?—Ekitundu 1
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
See More
Zuukuka!—2021
g21 Na. 1 lup. 4-5
Ab’omu maka abasanyufu nga bali mu katale.

Amagezi Agasobozesa Amaka Okubaamu Essanyu

Obufumbo n’abaana birabo bya muwendo okuva eri Omutonzi waffe. Ayagala tubeere n’amaka agalimu essanyu. N’olwekyo okuyitira mu kitabo ekitukuvu ekyawandiikibwa edda, atuwadde obulagirizi obusobozesa ab’omu maka okuba n’obulamu obulungi era n’okuba abasanyufu. Lowooza ku magezi gano g’atuwadde.

Abaami, Mwagale Bakyala Bammwe

‘Abaami bagwanidde okwagalanga bakyala baabwe nga bwe baagala emibiri gyabwe. Omusajja ayagala mukyala we aba yeeyagala kennyini, kubanga tewali muntu yali akyaye mubiri gwe, naye aguliisa era agulabirira.’​—ABEEFESO 5:28, 29.

Omwami gwe mutwe gw’amaka. (Abeefeso 5:23) Naye omwami omulungi taba mukambwe, era taba nnaakyemalira. Atwala mukyala we nga wa muwendo, amulabirira mu by’omubiri, era afaayo ku nneewulira ye. Ate era afuba nnyo okumusanyusa, nga yeewala buli kiseera okukalambira ku ekyo ye ky’aba ayagala. (Abafiripi 2:4) Aba n’empuliziganya ennungi naye, era amuwuliriza bw’abaako ky’amugamba. ‘Tamusunguwalira,’ era takola bintu bimulumya.​—Abakkolosaayi 3:19.

Abakyala, Musseemu Abaami Bammwe Ekitiibwa

“Omukyala asaanidde okussaamu ennyo omwami we ekitiibwa.”​—ABEEFESO 5:33.

Omukyala bw’assaamu omwami we ekitiibwa era n’amuwagira mu ebyo by’aba asazeewo, ayambako mu kuleetawo emirembe mu maka. Omwami we bw’akola ensobi tamuyisaamu maaso, wabula asigala nga mukkakkamu era ng’amussaamu ekitiibwa. (1 Peetero 3:4) Bw’aba n’ekizibu ky’ayagala okutegeeza omwami we, alonda ekiseera ekituufu eky’okukimugambiramu era ayogera naye mu ngeri eraga nti amussaamu ekitiibwa.​—Omubuulizi 3:7.

Beera Mwesigwa eri Munno mu Bufumbo

‘Omusajja anaanywereranga ku mukazi we era banaabanga omubiri gumu.’​—OLUBEREBERYE 2:24.

Omwami n’omukyala bwe bafumbiriganwa, bafuna enkolagana ey’oku lusegere. N’olwekyo abafumbo balina okufuba ennyo okunyweza obufumbo bwabwe nga bafunayo ekiseera ne banyumyako, era buli omu n’akolerayo munne ebintu ebirungi. Ate era buli omu alina okuba omwesigwa eri munne nga yeewala okwegatta n’omuntu omulala atali munne mu bufumbo. Obwenzi kikolwa kya ttima. Kireetera omuntu okulekera awo okwesiga munne, era kisobola okuviirako obufumbo okusattulukuka.​—Abebbulaniya 13:4.

Abazadde, Mutendeke Abaana Bammwe

“Yigiriza omwana ekkubo ly’asaanidde okutambuliramu; ne bw’aliba ng’akaddiye talirivaamu.”​—ENGERO 22:6.

Katonda yawa abazadde obuvunaanyizibwa obw’okutendeka abaana baabwe. Ekyo kizingiramu okuyigiriza abaana engeri y’okweyisaamu era n’okubateerawo ekyokulabirako ekirungi. (Ekyamateeka 6:6, 7) Omwana bwe yeeyisa obubi, omuzadde ow’amagezi takambuwala kisusse. Mu kifo ky’ekyo, aba ‘mwangu okuwuliriza, alwawo okwogera, era alwawo okusunguwala.’ (Yakobo 1:19) Omuzadde bw’akiraba nti omwana yeetaaga okukangavvula, tasaanidde kumukangavvula na busungu, wabula na kwagala.

Abaana, Mugondere Bazadde Bammwe

“Abaana, mugonderenga bazadde bammwe . . . ‘Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.’”​—ABEEFESO 6:1, 2.

Abaana basaanidde okugondera bazadde baabwe n’okubassaamu ennyo ekitiibwa. Abaana bwe bassa ekitiibwa mu bazadde baabwe, kireeta essanyu mu maka era kiyambako mu kuleetawo emirembe n’obumu. Abaana ababa bakuze bassa ekitiibwa mu bazadde baabwe, nga bafuba okulaba nti bazadde baabwe balabirirwa bulungi. Ekyo kiyinza okuzingiramu okufaayo okulaba nti ennyumba bazadde baabwe mwe bali eri mu mbeera nnungi, n’okubayambako mu by’enfuna we kiba kyetaagisa.​—1 Timoseewo 5:3, 4.

Nnafuuka Omwami Omulungi

“Olw’amaka ge nnakuliramu, nnalinga nnaakyemalira mu maka gange. Naye nnayiga nti ng’omutwe gw’amaka, nsaanidde okuwuliriza mukyala wange, obuteefaako nzekka, n’obutamukajjalako. Mu maaso ga Katonda nze naye tuli omubiri gumu, era nsaanidde okumwagala nga bwe njagala omubiri gwange. Nneebaza Katonda olw’amagezi amalungi ge yatuwa. Kati nnafuuka omwami omulungi, era tulina essanyu mu maka.”​—Rahul.

Rahul ne mukyala we.

Manya ebisingawo:

Okusobola okufuna amagezi amalala agasobola okuyamba amaka gammwe okweyongera okubaamu essanyu, genda ku jw.org/lg wansi wa ENJIGIRIZA ZA BAYIBULI > OBUFUMBO N’AMAKA.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share