LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • g21 Na. 1 lup. 8-9
  • Ebinaakuyamba Okuba Omusanyufu era Omumativu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ebinaakuyamba Okuba Omusanyufu era Omumativu
  • Zuukuka!—2021
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Beera Mukozi Munyiikivu
  • Beera Mwesigwa
  • Beera n’Endowooza Ennuŋŋamu ku Ssente
  • Funa Obuyigirize Obusingayo Obulungi
  • Ddala Ssente Ye Nsibuko y’Ebibi Ebya Buli Ngeri?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Okukozesa Obulungi Ssente
    Amaka Gammwe Gasobola Okubaamu Essanyu
  • Ekyo Bayibuli ky’Eyogera ku Mirimu ne Ssente
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Oyinza Otya Okuba n’Endowooza Entuufu Ekwata ku Ssente?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
See More
Zuukuka!—2021
g21 Na. 1 lup. 8-9
Maama ne mutabani we abamativu nga bayita ku dduuka erimu mu Buyindi eritunda amajorobera era nga waliwo abantu abatunuulidde amajolobera ago.

Ebinaakuyamba Okuba Omusanyufu era Omumativu

Ffenna, ka tube bafumbo oba nga tetuli bafumbo, ka tube bato oba bakulu, twagala okuba abasanyufu era nga tuli bamativu. Ekyo Omutonzi waffe naye ky’atwagaliza. N’olwekyo atuwa amagezi agasobola okutuyamba okuba abasanyufu.

Beera Mukozi Munyiikivu

“Afube okukola emirimu, ng’akola emirimu emirungi n’emikono gye asobole okubaako ky’ayinza okuwa omuntu ali mu bwetaavu.”​—ABEEFESO 4:28.

Omutonzi Waffe atukubiriza okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku kukola. Lwaki? Omuntu akola emirimu n’obunyiikivu aba musanyufu kubanga aba asobola okweyimirizaawo era n’okulabirira ab’omu maka ge. Aba asobola n’okulabirira abo abali mu bwetaavu. Ate era ne mukama we aba amwagala nnyo. N’olwekyo, omukozi omulungi ayinza obutafiirwa mulimu gwe. Bayibuli eyogera ku birungi omuntu by’afuna mu mulimu gwe ‘ng’ekirabo ekiva eri Katonda.’​—Omubuulizi 3:13.

Beera Mwesigwa

“Tumanyi nti tulina omuntu ow’omunda omuyonjo, era twagala okubeera abeesigwa mu bintu byonna.”​—ABEBBULANIYA 13:18.

Bwe tuba abeesigwa, tuba n’emirembe mu mutima era tuwoomerwa otulo. Okugatta ku ekyo, abalala baba batwesiga era nga batuwa ekitiibwa. Omuntu atali mwesigwa aba yeefiiriza ebintu ebyo ebirungi. Ate era omutima guba gumulumiriza era buli kiseera aba mu kutya nti lumu bayinza okukizuula nti si mwesigwa.

Beera n’Endowooza Ennuŋŋamu ku Ssente

“Temubeeranga na mpisa ya kwagala ssente, naye mubeerenga bamativu ne bye mulina.”​—ABEBBULANIYA 13:5.

Twetaaga ssente okusobola okugula emmere n’ebintu ebirala bye twetaaga mu bulamu. Kyokka, okwagala ennyo ssente kisobola okuba eky’obulabe. Kisobola okuleetera omuntu okukozesa ebiseera bye byonna n’amaanyi ge gonna okunoonya ssente. Ekyo kiyinza okuviirako obufumbo bwe okubaamu ebizibu, obutafuna budde kubeerako na baana be, era ayinza n’okulwala. (1 Timoseewo 6:9, 10) Ate era, okwagala ennyo ssente kiyinza okuviirako omuntu obutaba mwesigwa. Omusajja omu ow’amagezi yagamba nti: “Omuntu omwesigwa anaafunanga emikisa mingi, naye oyo ayagala okugaggawala amangu taaleme kubaako kya kunenyezebwa.”​—Engero 28:20.

Funa Obuyigirize Obusingayo Obulungi

“Amagezi n’obusobozi bw’okulowooza obulungi tobiganyanga kukuvaako.”​—ENGERO 3:21.

Bwe tufuna obuyigirize obulungi, kituyamba okuba abantu ab’obuvunaanyizibwa era abazadde abalungi. Naye okufuna obuyigirize obulungi ku bwakyo tekitegeeza nti tujja kuba basanyufu era bamativu mu bulamu. Okusobola okutuuka ku buwanguzi mu mbeera zonna ez’obulamu, twetaaga okuyigirizibwa Katonda. Bayibuli bw’eba eyogera ku muntu ayiga ebikwata ku Katonda era n’abikolerako, egamba nti: “Buli ky’akola ebivaamu biba birungi.”​—Zabbuli 1:1-3.

Mpulira nga Ndi Musanyufu era Mumativu

“Mu kitundu gye mbeera, abantu bangi bafuba nnyo okufuna obuyigirize obwa waggulu n’okuba abagagga era abatutumufu. Kyokka ne bwe batuuka ku biruubirirwa byabwe ebyo, tebafuna ssanyu lya nnamaddala. Bayibuli yannyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu. Nnayiga nti ssente zisobola okutuyamba, naye tezisobola kugula kwagala na ssanyu rya nnamaddala. Mpulira nga ndi musanyufu era mumativu kubanga Bayibuli ennyamba okusalawo obulungi ku bikwata ku ssente n’emirimu.”​—Kishore.

Kishore.

Manya ebisingawo:

Okumanya amagezi amalala Omutonzi waffe g’atuwa agakwata ku by’emirimu, ssente, n’obuyigirize, genda ku jw.org/lg wansi wa ENJIGIRIZA ZA BAYIBULI > EMIREMBE N’ESSANYU.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share