Mu biseera ebizibu, nyweza enkolagana yo n’abalala ng’okola ebintu bino
NYWEZA OBUFUMBO BWO
Nyweza obufumbo bwo
Bayibuli egamba nti: “Ababiri basinga omu . . . Kubanga omu bw’agwa, munne asobola okumuyamba n’asituka.” (Omubuulizi 4:9, 10) Kiba kikulu abafumbo okukolera awamu ng’omugoba w’ennyonyi n’omuyambi we bwe bakolera awamu, era buli omu tasaanidde kuvuganya ne munne.
Mumalirire nti bwe munaafuna ekizibu buli omu tajja kunyiigira munne. Mufube okuba abagumiikiriza.
Mufuneeyo waakiri olunaku lumu buli wiiki mwogera ku kizibu kye mulina ekyetaaga okugonjoolwa. Essira mulisse ku ngeri gye muyinza okugonjoolamu ekizibu ekyo, so si buli omu kunenya munne.
Mufube okukolera awamu ebintu mmwembi bye munyumirwa.
Mwejjukanye ebiseera ebirungi bye mwali mubaddemu mmwembi, gamba ng’okutunula ku bifaananyi byammwe eby’embaga, oba ekintu ekirala ekirungi kye mujjukira.
“Abafumbo bayinza obutakkiriziganya ku buli kimu, naye ekyo tekitegeeza nti tebasobola kukolera wamu. Basobola okubaako kye basalawo bombi era ne bakolera wamu okukituukiriza.”—David.
NYWEZA ENKOLAGANA YO NE MIKWANO GYO
Nyweza enkolagana yo ne mikwano gyo
Ng’oggyeeko okufuna obuyambi okuva eri mikwano gyo, lowooza ku ngeri ggwe gy’oyinza okubayambamu. Bw’ozzaamu abalala amaanyi, naawe ozzibwamu amaanyi.
Baako mikwano gyo b’oyogera nabo buli lunaku.
Buuza mikwano gyo engeri gye basobodde okugonjoolamu ekizibu ekifaananako n’ekyo ky’olina.
“Bw’ofuna ekizibu, mikwano gyo basobola okuyamba. Basobola okukuyamba okusalawo obulungi, ne bwe kiba nti bakujjukizza bujjukiza ebintu by’omanyi. Mikwano gyo bakufaako era baba bakimanyi nti naawe obafaako.”—Nicole.
FAAYO KU BAANA BO
Faayo ku baana bo
Bayibuli egamba nti: “Buli muntu abenga mwangu okuwuliriza, alwengawo okwogera.” (Yakobo 1:19) Mu kusooka, abaana bo bayinza okutya okukubuulira ebibeeraliikiriza. Naye bw’obawuliriza n’obugumiikiriza kiyinza okubayamba okukweyabiza.
Ssaawo embeera eneekifuula ekyangu eri abaana bo okukubuulira ebibali ku mutima. Abaana abamu kibanguyira okwogera nga tewaliiwo mbeera ya bunkenke, gamba nga baliko gye balaga ne bazadde baabwe, mu kifo ky’okwogera n’abazadde nga batunuuliganye maaso ku maaso.
Kakasa nti abaana bo tebalaba nnyo mawulire agalimu ebintu ebitiisa.
Buulira abaana bo bye mukoze okusobola okukuuma ab’omu maka baleme kutuukibwako bizibu.
Mweteekereteekere ebigwa bitalaze, era mwegezeemu n’abaana ku ngeri gye muyinza okwekuumamu.
“Yogera n’abaana bo, era baleke boogere ebibali ku mutima. Bayinza okuba nga balina ebibeeraliikiriza oba ebibanyiiza bye basirikidde. Babuulire nti naawe oluusi ofuna ebikweraliikiriza oba ebikunyiiza, era obabuulire ne by’otera okukola ng’ofunye enneewulira ng’eyo.”—Bethany.