LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w09 10/15 lup. 17-21
  • Okukuuma Emikwano mu Nsi Etaliimu Kwagala

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okukuuma Emikwano mu Nsi Etaliimu Kwagala
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Omukwano Omulungi Gulina Kwesigamizibwa ku Ki?
  • Engeri y’Okukolamu Emikwano Emirungi
  • Ddi Lwe Kyetaagisa Okukomya Omukwano?
  • Okukuuma Emikwano Emirungi
  • Weegendereze ng’Olonda Emikwano
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Londa Emikwano Egyagala Katonda
    Engeri gy’Oyinza Okusigala mu Kwagala kwa Katonda
  • ‘Mugaziye’ Okwagala Kwammwe
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
w09 10/15 lup. 17-21

Okukuuma Emikwano mu Nsi Etaliimu Kwagala

“Mbalagira ebintu bino, musobole okwagalananga.”​—YOK. 15:17.

1. Lwaki Abakristaayo b’omu kyasa ekyasooka baalina okusigala nga ba mukwano?

MU KIRO kye ekyasembayo ku nsi, Yesu yakubiriza abayigirizwa be abeesigwa okwagalananga. Emabegako mu kiro ekyo, yali abagambye nti okulagaŋŋana okwagala kye kyandibaawuddewo ng’abagoberezi be. (Yok. 13:35) Abatume kyali kibeetaagisa okusigala nga ba mukwano okusobola okugumira okugezesebwa kwe bandyolekaganye nakwo n’okukola omulimu Yesu gwe yali agenda okubawa. Mazima ddala, Abakristaayo b’omu kyasa ekyasooka baali bamanyiddwa olw’okwagala Katonda n’olw’okwagalana.

2. (a) Tuli bamalirivu kukola ki era lwaki? (b) Bibuuzo ki bye tugenda okwetegereza?

2 Nga kituwa essanyu lingi okuba nti tuli mu kibiina ekiri mu nsi yonna era ekijjudde abantu abaagalana, ng’Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka bwe baali! Tuli bamalirivu okugoberera ekiragiro kya Yesu nga tulagaŋŋana okwagala okwa nnamaddala. Naye mu nnaku zino ez’oluvannyuma, abantu abasinga obungi si beesigwa era tebaagala ba ŋŋanda. (2 Tim. 3:1-3) Omukwano gwabwe guba gwa ku ngulu era baba beenoonyeza byabwe. Okusobola okulaga nti ffe tuli Bakristaayo ba mazima, tulina okwoleka okwagala okwa namaddala. Kati ka twetegereze ebibuuzo bino: Omukwano omulungi gulina kwesigamizibwa ku ki? Tuyinza tutya okukola emikwano emirungi? Ddi lwe kiyinza okwetaagisa okukomya omukwano? Tuyinza tutya okukuuma emikwano emirungi?

Omukwano Omulungi Gulina Kwesigamizibwa ku Ki?

3, 4. Omukwano ogusingayo okuba omunywevu gulina kwesigamizibwa ku ki, era lwaki?

3 Omukwano ogusingayo okuba omunywevu gulina kuba nga gwesigamiziddwa ku kwagala Yakuwa. Kabaka Sulemaani yawandiika nti: “Omuntu bw’asinga oyo ali yekka, ababiri be balimusobola; n’omugwa ogw’emiyondo esatu tegutera kukutuka.” (Mub. 4:12) Omukwano bwe gubaamu Yakuwa, nga guno gwe muyondo ogw’okusatu, guba gwa lubeerera.

4 Kituufu nti n’abantu abataagala Yakuwa basobola okuba ab’omukwano ennyo. Naye abantu bwe baba n’omukwano ogwesigamiziddwa ku kwagala Katonda, omukwano gwabwe tegusobola kusasika. Abantu abalina omukwano ogwa namaddala bwe bafuna obutategeeragana, buli omu afuba okuyisa munne mu ngeri esanyusa Yakuwa. Abalabe ba Katonda ne bwe bagezaako okuleetawo enjawukana mu Bakristaayo ab’amazima, bakizuula nti omukwano gwabwe tegusobola kufa. Ebyafaayo biraga nti abaweereza ba Yakuwa bakiraze nti beetegefu okufa mu kifo ky’okulya mu bannaabwe olukwe.​—Soma 1 Yokaana 3:16.

5. Lwaki omukwano gwa Luusi ne Nawomi gwali munywevu nnyo?

5 Awatali kubuusabuusa, emikwano egisingayo obulungi gy’egyo gye tukola n’abantu abaagala Yakuwa. Lowooza ku kyokulabirako kya Luusi ne Nawomi. Omukwano abakazi bano gwe baalina gwe gumu ku mikwano egisinga okuba emirungi egyogerwako mu Baibuli. Lwaki omukwano gwabwe gwali munywevu nnyo? Ensonga Luusi yagiraga bwe yagamba Nawomi nti: “Abantu bo be banaabanga abantu bange, era Katonda wo Katonda wange. . . . Mukama ankole bw’atyo era n’okusingawo, oba ng’ekigambo kyonna kiritwawukanya ggwe nange wabula okufa.” (Luus. 1:16, 17) Kya lwatu, Luusi ne Nawomi bombi baali baagala nnyo Katonda era ekyo kyeyolekeranga mu ngeri buli omu gye yayisangamu munne. N’ekyavaamu, abakazi bano bombi Yakuwa yabawa omukisa.

Engeri y’Okukolamu Emikwano Emirungi

6-8. (a) Okukola emikwano eminywevu kyetaagisa ki? (b) Oyinza otya okukola emikwano?

6 Ekyokulabirako kya Luusi ne Nawomi kiraga nti abantu tebeesanga bwesanzi nga bafunye emikwano emirungi. Omusingi omukwano gwabwe kwe gwesigama guli nti bombi baba baagala Yakuwa. Naye okusobola okukola emikwano eminywevu kyetaagisa okufuba ennyo n’okwefiiriza. N’abaana abazaalibwa awamu mu maka Amakristaayo era nga baweereza Yakuwa kibeetaagisa okufuba okusobola okufuuka ab’omukwano ennyo. Kati olwo oyinza otya okukola emikwano emirungi?

7 Olina okubaako ky’okolawo. Omutume Pawulo yakubiriza mikwano gye mu kibiina ky’e Rooma ‘okusembezanga abagenyi.’ (Bar. 12:13) Okusembeza abagenyi kulinga okutambula olugendo. Okutuuka gy’olaga, ogenda otambula kigere ku kigere. Bwe kityo n’okusembeza abagenyi kizingiramu okugenda ng’okolera abalala ebirungi, ne bwe biba bitonotono. Era nga bwe kiri nti olugendo ggwe wennyini ggwe olina okulwetambulira, n’okusembeza abagenyi gwe alina okukyekolera. (Soma Engero 3:27.) Engeri emu gy’osobola okusembezaamu abagenyi kwe kuyitanga ab’oluganda abatali bamu ku kijjulo ekitonotono. Oyinza okugifuula empisa yo okuyita ab’oluganda abatali bamu mu kibiina okukukyalira?

8 Engeri endala gy’osobola okukolamu emikwano kwe kubuulirako n’ab’oluganda ab’enjawulo mu buweereza bw’ennimiro. Bwe muba mu buweereza bw’ennimiro n’owulira nga munno by’ayogera bimuviira ddala ku mutima oba nga byoleka nti ayagala nnyo Yakuwa, weeyongera okumwagala.

9, 10. Pawulo yatuteerawo kyakulabirako ki, era tuyinza tutya okumukoppa?

9 Gaziwa mu kwagala kwo. (Soma 2 Abakkolinso 6:12, 13.) Muli owulira nti mu kibiina temuli muntu gw’oyinza kufuula mukwano gwo? Bwe kiba kityo, kyandiba nti ggwe atakiraba nti mulimu abasobola okufuuka mikwano gyo? Omutume Pawulo yateekawo ekyokulabirako ekirungi ng’agaziwa mu kwagala kwe. Waliwo ekiseera we yawulirira nga tasobola kukola mukwano na muntu yenna atali Muyudaaya. Kyokka yafuuka “omutume eri amawanga.”​—Bar. 11:13.

10 Ng’oggyeko ekyo, Pawulo teyakola mukwano n’abo abaali mu myaka gye bokka. Ng’ekyokulabirako, ye ne Timoseewo baafuuka ba mukwano nnyo wadde ng’emyaka gyabwe n’embeera mwe baakulira byali bya njawulo. Leero, abavubuka bangi baganyuddwa nnyo mu mikwano gye bakola ku bantu abakulu mu kibiina. Vanessa eyakayingira mu myaka 20 agamba nti: “Nnina mukwano gwange atemera mu myaka 50. Mmubuulira buli kintu kyonna kye nnandibuulidde ow’emyaka gyange. Era naye anfaako nnyo.” Omuntu ayinza atya okukola omukwano ng’ogwo? Vanessa agamba nti: “Nnalina okufuba okuteekawo omukwano guno, so tegwajja buzzi.” Oli mwetegefu okukola omukwano ku abo abatali mu myaka gyo? Naawe bw’onoofuba okukola emikwano, Yakuwa ajja kukuwa omukisa.

11. Kiki kye tuyiga mu kyokulabirako kya Yonasaani ne Dawudi?

11 Beera Mwesigwa. Sulemaani yawandiika nti: “Ow’omukwano ayagala mu biro byonna, era ow’oluganda yazaalirwa obuyinike.” (Nge. 17:17) Mu kuwandiika ebigambo ebyo, Sulemaani ayinza okuba nga yali alowooza ku mukwano kitaawe Dawudi gwe yalina ne Yonasaani. (1 Sam. 18:1) Kabaka Sawulo yali ayagala mutabani we Yonasaani y’aba amuddira mu bigere nga kabaka wa Isiraeri. Naye Yonasaani yawagira ekya Dawudi okufuuka kabaka wa Isiraeri nga Yakuwa bwe yali asazeewo. Yonasaani teyakwatirwa Dawudi bujja nga kitaawe Sawulo. Teyanyiiga olw’abantu okutendereza ennyo Dawudi, era yagaana okukkiriza eby’obulimba Sawulo bye yayogera ku Dawudi. (1 Sam. 20:24-34) Naawe olinga Yonasaani? Mikwano gyaffe bwe baweebwa enkizo mu kibiina, tusanyukira wamu nabo? Bwe bafuna ebizibu, tubabudaabuda era ne tubayamba? Bwe wabaawo ayogera ekintu ekibi ku mukwano gwaffe, twanguwa okukikkiriza, oba tumuwolereza nga Yonasaani bwe yakola?

Ddi Lwe Kyetaagisa Okukomya Omukwano?

12-14. Buzibu ki abayizi ba Baibuli abamu bwe bafuna, era oyinza otya okubayamba?

12 Omuyizi wa Baibuli bw’atandika okukola enkyukakyuka mu bulamu bwe, ayinza okufuna obuzibu. Ayinza okuba ng’akyayagala okusigaza mikwano gye naye ng’empisa zaabwe tezituukana na misingi gya Baibuli. Ayinza okuba ng’abadde abeera nnyo nabo, naye nga kati alaba nti empisa zaabwe tezisaana era nga yandyagadde okubeesalako. (1 Kol. 15:33) Kyokka ayinza okuwulira nti okukola ekyo aba talaze bwesigwa gye bali.

13 Bw’oba oyiga Baibuli ng’olina ekizibu ekyo, kijjukire nti mukwano gwo owa namaddala ajja kuba musanyufu okukulaba ng’ofuba okutereeza obulamu bwo. Ayinza n’okwagala okukwegattako mu kuyiga ebikwata ku Yakuwa. Ku luuyi olulala, abo abatali mikwano gyo gya namaddala bajja ‘kukuvuma’ kubanga tokyatambulira wamu nabo kugenda “mu kidiba ekyo eky’ebintu eby’obugwenyufu.” (1 Peet. 4:3, 4) Mu butuufu, abantu ng’abo be baba batalaze bwesigwa gy’oli, so si ggwe.

14 Omuyizi wa Baibuli bw’akyayibwa mikwano gye abatayagala Katonda, ab’oluganda mu kibiina balina okufuuka mikwano gye. (Bag. 6:10) Ofuba okukola omukwano ku bayizi ba Baibuli abajja mu nkuŋŋaana zammwe? Ofunayo akadde n’onyumyako nabo era n’obazzaamu amaanyi?

15, 16. (a) Tusaanidde kukola ki nga mukwano gyaffe alekedde awo okuweereza Yakuwa? (b) Tuyinza tutya okulaga Katonda nti tumwagala?

15 Ate kiba kitya ng’oyo abadde mukwano gwo mu kibiina asazeewo okwabulira Yakuwa, oboolyawo n’agobwa ne mu kibiina? Ekyo kiyinza okukuleetera ennaku ey’amaanyi. Ng’ayogera ku ngeri gye yawuliramu nga mukwano gwe nfiirabulago alekedde awo okuweereza Yakuwa, mwannyinaffe omu yagamba nti: “Nnawulira nga nzenna sikyategeera. Nnali mmanyi nti mukwano gwange munywevu mu mazima, naye si bwe kyali. Muli nneebuuza obanga yali aweereza Yakuwa lwa kwagala kusanyusa be waabwe. Kino kyandeetera okwekebera okulaba ensonga lwaki nnali mpeereza Yakuwa.” Mwannyinaffe ono yasobola atya okuguma? Agamba nti: “Ekizibu kyange nnakitegeeza Yakuwa. Era kati ndi mumalirivu okulaga nti mpeereza Yakuwa lwa kuba mmwagala, so si lwa mikwano gye nnina mu kibiina kye.”

16 Tetusobola kusigala nga tuli mikwano gya Katonda singa tudda ku ludda lw’abo abasalawo okufuuka mikwano gy’ensi. Omuyigirizwa Yakobo yawandiika nti: “Temumanyi nti okubeera mukwano gw’ensi bwe bulabe eri Katonda? N’olwekyo, buli ayagala okubeera mukwano gw’ensi yeefuula mulabe wa Katonda.” (Yak. 4:4) Tulaga nti twagala Katonda nga tumwesiga okutuyamba okuguma nga mikwano gyaffe gitwabulidde. (Soma Zabbuli 18:25.) Mwannyinaffe gwe tulabye waggulu agamba nti: “Nnakitegeera nti tetusobola kuwaliriza muntu yenna kwagala Yakuwa oba okutwagala. Ekyo buli omu alina kukyesalirawo ku lulwe.” Ate tuyinza kukola ki okukuuma emikwano emirungi gye tulina mu kibiina?

Okukuuma Emikwano Emirungi

17. Ab’omukwano boogera batya?

17 Empuliziganya ennungi eyamba omukwano okunywera. Bw’osoma ebikwata ku Luusi ne Nawomi, Dawudi ne Yonasaani, Pawulo ne Timoseewo, ojja kukiraba nti abantu bwe baba ba mukwano buli omu ayogera ekimuli ku mutima era awa munne ekitiibwa. Ng’ayogera ku ngeri gye tusaanidde okwogeramu n’abalala, Pawulo yagamba nti: “Ebigambo byammwe bulijjo bibeerenga bya kisa, era nga binoze omunnyo.” Wano Pawulo yali ayogera ku ngeri gye tusaanidde okwogeramu n’abantu “ab’ebweru,” oba abo abatali Bakristaayo bannaffe. (Bak. 4:5, 6) Oba nga abo abatali bakkiriza tusaanidde okubawa ekitiibwa nga twogera nabo, tetwandisinzeewo nnyo nga twogera ne mikwano gyaffe mu kibiina!

18, 19. Tusaanidde kutwala tutya amagezi agatuweebwa mikwano gyaffe Abakristaayo, era kyakulabirako ki abakadde b’omu Efeso kye baatuteerawo?

18 Abantu bwe baba ab’omukwano, buli omu afaayo ku munne ky’agamba, era bwe kityo buli omu alina okuggyayo ekimuli ku mutima, naye ng’ayogera bulungi. Kabaka Sulemaani yawandiika nti: “Amafuta ag’omugavu n’eby’akaloosa bisanyusa omutima: Obuwoomerevu bw’omukwano gw’omuntu bwe busanyusa bwe butyo obuva mu kuteesa okw’omu mwoyo gwe.” (Nge. 27:9) Naawe bw’otyo bw’otwala amagezi agaba gakuweereddwa mukwano gwo? (Soma Zabbuli 141:5.) Mukwano gwo bw’akulaga nti waliwo ekintu kye weetaaga okutereezaamu, okitwala otya? Okiraba ng’ekikolwa eky’okwagala, oba onyiiga bunyiizi?

19 Omutume Pawulo yalina enkolagana ennungi n’abakadde b’omu kibiina ky’omu Efeso. Kirabika abamu ku bo yali abamanyi okuviira ddala lwe baafuuka abakkiriza. Kyokka ku mulundi gwe yasembayo okubasisinkana, yababuulira nga taluma mu bigambo. Ekyo baakitwala batya? Mikwano gya Pawulo bano tebaamunyiigira. Mu kifo ky’ekyo, baamusiima olw’okulaga nti abafaako, era baakaaba n’okukaaba bwe baakitegeera nti baali tebajja kuddamu kumulabako.​—Bik. 20:17, 29, 30, 36-38.

20. Ow’omukwano owa namaddala akola ki?

20 Omuntu bw’aba mukwano gwo, tolina ku kukoma ku kukkiriza magezi g’akuwa naye naawe oba olina okumuwabula. Kya lwatu nti tulina okwegendereza ‘obuteeyingiza mu bya balala.’ (1 Bas. 4:11) Era tulina okukijjukira nti buli omu ku ffe “alyennyonnyolako ku lulwe mu maaso ga Katonda.” (Bar. 14:12) Naye bwe kiba kyetaagisa, omuntu asaanidde okujjukiza mukwano gwe emisingi gya Yakuwa. (1 Kol. 7:39) Ng’ekyokulabirako, wandikoze ki singa mukwano gwo ali obwannamunigina atandika okuba n’enkolagana ey’okulusegere n’omuntu atali mukkiriza? Wandisirise n’otobaako ky’omugamba olw’okutya nti omukwano gwammwe gujja kufa? Ate bw’omuwa amagezi n’agagaana, onookola ki? Bw’oba mukwano gwe owa namaddala, ojja kusaba abakadde bamuyambe. Kino okukikola kyetaagisa obuvumu. Naye tekijja kwonoona mukwano gwammwe bwe guba nga gwesigamiziddwa ku kwagala Yakuwa.

21. Kiki ffenna oluusi kye tukola, naye lwaki kirungi okukuuma emikwano emirungi mu kibiina?

21 Soma Abakkolosaayi 3:13, 14. Oluusi mikwano gyaffe bayinza ‘okubaako ensonga’ gye batwemulugunyaako, era nabo bayinza okukola oba okwogera ebitunyiiza. Yakobo yawandiika nti: ‘Ffenna tusobya emirundi mingi.’ (Yak. 3:2) Kyokka, omukwano ogwa namaddala tegusinziira ku mirundi buli omu gy’asobya munne, wabula gusinziira ku kuba nti buli omu asonyiwa munne. Nga kiba kirungi okukola emikwano eminywevu nga tuba n’empuliziganya ennungi era nga buli omu asonyiwa munne! Okulaga okwagala ng’okwo kijja ‘kunywereza ddala obumu’ bwaffe.

Wandizzeemu Otya?

• Tuyinza tutya okukola emikwano emirungi?

• Ddi lwe tuyinza okukomya omukwano?

• Kiki kye tulina okukola okusobola okukuuma emikwano emirungi?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]

Lwaki omukwano gwa Luusi ne Nawomi gwali munywevu?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]

Ofuba okusembeza abagenyi?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share