LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 5/04 lup. 4
  • ‘Mugaziye’ Okwagala Kwammwe

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • ‘Mugaziye’ Okwagala Kwammwe
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
  • Similar Material
  • Okukuuma Emikwano mu Nsi Etaliimu Kwagala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Weegendereze ng’Olonda Emikwano
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Weeyongere Okukula mu Kwagala Ab’oluganda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • “Mwagalanenga Mwekka na Mwekka”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
See More
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
km 5/04 lup. 4

‘Mugaziye’ Okwagala Kwammwe

1. Buli omu ku ffe avunaanyizibwa kukola ki?

1 Mu luganda olw’Ekikristaayo, buli omu ku ffe avunaanyizibwa okuba ow’ebbugumu mu kibiina. (1 Peet. 1:22; 2:17) Ebbugumu eryo lijjawo bwe ‘tugaziya’ okwagala kwaffe nga tufaayo ku balala. (2 Kol. 6:12, 13) Lwaki kikulu nnyo okumanya obulungi baganda baffe ne bannyinaffe?

2. Lwaki kikulu okukola emikwano mu bakkiriza bannaffe?

2 Omukwano Gweyongera Okunywera: Bwe tumanya obulungi bakkiriza bannaffe, tweyongera okusiima okukkiriza kwabwe, obugumiikiriza, n’engeri zaabwe endala. Tetukuliriza nsobi zaabwe, era omukwano gweyongera okunywera. Bwe tumanyagana obulungi, buli omu aba asobola okuzimba munne era n’okumubudaabuda. (1 Bas. 5:11) Ate era tusobola ‘okuzziŋŋanamu amaanyi’ ne tuziyiza okupikirizibwa okuva mu nsi ya Setaani. (Bak. 4:11) Nga tuli mu nnaku ez’oluvannyuma ezijjudde ebizibu, nga kituzzaamu nnyo amanyi okuba n’emikwano emirungi mu bantu ba Yakuwa!​—Nge. 18:24.

3. Tuyinza tutya okuzzaamu abalala amaanyi?

3 Emikwano egy’oku lusegere gisobola okutuzzaamu amaanyi n’okutubudaabuda nga twolekaganye n’ebizibu eby’amaanyi. (Nge. 17:17) Mwannyinaffe omu eyali awulira nti talina mugaso agamba bw’ati: “Waaliwo ab’emikwano abaayogeranga ku bintu ebirungi bye nkola ne kinnyamba okuvvuunuka endowooza enkyamu.” Emikwano ng’egyo birabo okuva eri Yakuwa.​—Nge. 27:9.

4. Tuyinza tutya okumanya obulungi abo abali mu kibiina?

4 Faayo ku Balala: Tuyinza tutya okugaziya okwagala kwaffe eri bakkiriza bannaffe? Ng’oggyeko okubabuuza nga muli mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo, fuba okunyumya nabo emboozi ezizimba. Laga nti obafaako kyokka nga togezaako kweyingiza mu nsonga zaabwe ez’omunda. (Baf. 2:4; 1 Peet. 4:15) Engeri endala gye tuyinza okulagamu okufaayo ku balala kwe kubayita ku kijjulo. (Luk. 14:12-14) Oba oyinza okuteekateeka okukolako nabo mu buweereza bw’ennimiro. (Luk. 10:1) Bwe tufuba okumanya obulungi baganda baffe, tuleetawo obumu mu kibiina.​—Bak. 3:14.

5. Tuyinza tutya okwongera ku mikwano gye tulina?

5 Abo be tulonda okubeera mikwano gyaffe nfiirabulago beebo be twenkanya emyaka oba be tufaanaganya ebiruubirirwa? Tetulina kuleka nsonga nga zino kutukugira kuba na mikwano egy’enjawulo mu kibiina. Dawudi ne Yonasaani era ne Luusi ne Nawomi baalina omukwano omunywevu wadde nga baali tebenkana mu myaka era nga n’engeri gye baakuzibwamu ya njawulo. (Luus. 4:15; 1 Sam. 18:1) Oyinza okwongera ku mikwano gy’olina? Bw’onookola bw’otyo kiyinza okuvaamu emiganyulo gy’obadde tosuubira.

6. Miganyulo ki egiri mu kugaziya okwagala kwaffe eri baganda baffe?

6 Bwe tugaziya okwagala kwaffe ne tuba nga tufaayo ku balala, tuziŋŋanamu amaanyi era wabaawo emirembe mu kibiina. Ate era, Yakuwa kennyini atuwa emikisa olw’okulaga baganda baffe okwagala. (Zab. 41:1, 2; Beb. 6:10) Lwaki tokifuula kiruubirirwa kyo okweyongera okumanya obulungi abantu bangi nga bwe kisoboka?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share