Weeyongere Okukula mu Kwagala Ab’oluganda
“Mutambulirenga mu kwagala nga Kristo bwe yabaagala.”—BEF. 5:2.
1. Yesu yalaga nti kiki ekyandyawuddewo abagoberezi be?
ABAJULIRWA ba Yakuwa bamanyiddwa olw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda nnyumba ku nnyumba. Kyokka Kristo Yesu yalaga nti ekintu ekyandyawuddewo abayigirizwa ab’amazima kyandibadde kirala. Yagamba nti: “Mbawa etteeka eriggya, mwagalanenga; nga bwe nnabaagala mmwe, nammwe bwe muba mwagalana. Ku kino bonna kwe bajja okutegeerera nti muli bayigirizwa bange bwe munaayagalananga.”—Yok. 13:34, 35.
2, 3. Okwagala kwaffe kukwata kutya ku abo abajja mu nkuŋŋaana zaffe?
2 Okwagala okuli mu Bakristaayo ab’amazima tekuli mu bantu balala bonna. Nga magineeti bw’esika ebyuma, n’okwagala bwe kutyo bwe kusika abaweereza ba Yakuwa ne kubagatta era kusikiriza abantu ab’emitima emirungi okujja mu kusinza okw’amazima. Ng’ekyokulabirako, Marcelino, omusajja abeera mu Cameroon, yafuna akabenje ng’ali ku mulimu n’aziba amaaso. Oluvannyuma abantu baatandika okugamba nti amaaso ge gaaziba lwa kuba yali mulogo. Mu kifo ky’okumubudaabuda, omusumba n’abalala mu kkanisa mwe yali asabira bamugoba bugobi. Omujulirwa wa Yakuwa bwe yamuyita okujja mu nkuŋŋaana, Marcelino yasooka n’agaana ng’alowooza nti nayo bajja kumugobayo.
3 Kyokka Marcelino yeewuunya nnyo bwe yatuuka mu Kizimbe ky’Obwakabaka. Ab’oluganda baamwaniriza era ebyayigirizibwa okuva mu Baibuli byamuzzaamu amaanyi. Yatandika okugenda mu nkuŋŋaana zonna, yanyiikira okuyiga Baibuli, era yabatizibwa mu 2006. Kati ayamba ab’omu maka ge ne baliraanwa be okuyiga amazima, era alina abayizi ba Baibuli abawerako. Marcelino ayagala abo b’ayigiriza Baibuli nabo balabe okwagala okuli mu bantu ba Katonda.
4. Lwaki tusaanidde ‘okutambulira mu kwagala’ nga Pawulo bwe yakubiriza?
4 Okwagalana kwaffe ng’ab’oluganda kwa muwendo nnyo, era ffenna tulina okufuba okukukuuma. Lowooza ku muliro ogukumiddwa ekiro ng’obudde bunnyogovu era ne gusikiriza abantu okujja okwota. Naye omuliro ogwo guzikira singa ababa bazze okwota tebaguseesaamu. Mu ngeri y’emu, naffe ffenna tulina okufuba okukuuma okwagala kwaffe mu kibiina kuleme kuwola. Kino tuyinza kukikola tutya? Omutume Pawulo agamba nti: “Mutambulirenga mu kwagala nga Kristo bwe yabaagala ne yeewaayo ku lwammwe ng’ekiweebwayo era nga ssaddaaka okuba evvumbe eriwunya obulungi eri Katonda.” (Bef. 5:2) Kati tusaanidde okwebuuza nti, Nnyinza ntya okweyongera okutambulira mu kwagala?
“Mugaziwe mu Mitima Gyammwe”
5, 6. Lwaki Pawulo yakubiriza Abakristaayo ab’omu Kkolinso ‘okugaziwa mu mitima gyabwe’?
5 Pawulo yawandiikira Abakristaayo b’e Kkolinso nti: “Twogedde kaati gye muli, mmwe Abakkolinso; emitima gyaffe gigaziye. Emitima gyaffe tegifunze gye muli naye mmwe mufunze mu kwagala kwammwe. N’olwekyo mukole kye kimu gye tuli—njogera gye muli ng’ayogera eri abaana—nammwe mugaziwe mu mitima gyammwe.” (2 Kol. 6:11-13) Lwaki Pawulo yakubiriza Abakkolinso okugaziwa mu kwagala kwabwe?
6 Lowooza ku ngeri ekibiina ky’e Kkolinso gye kyatandikawo. Pawulo yatuuka e Kkolinso ng’omwaka gwa 50 E.E. gunaatera okuggwako. Wadde nga mu kusooka yayolekagana n’okuziyizibwa, teyalekulira. Mu bbanga ttono, bangi mu kibuga ekyo bakkirizza amawulire amalungi. Pawulo yamala “omwaka gumu n’emyezi mukaaga” ng’ayigiriza era ng’anyweza ekibiina ekyo ekipya. Tewali kubuusabuusa nti yali ayagala nnyo Abakristaayo b’omu Kkolinso. (Bik. 18:5, 6, 9-11) Nabo baali basaanidde okumwagala n’okumuwa ekitiibwa. Kyokka abamu mu kibiina ekyo baali tebamwagala. Oboolyawo abamu engeri gye yabagololamu teyabasanyusa. (1 Kol. 5:1-5; 6:1-10) Abalala bandiba nga baawuliriza eby’obulimba ebyali byogerwa ‘abatume baabwe abakulu.’ (2 Kol. 11:5, 6) Pawulo yali ayagala ab’oluganda bonna bamulage okwagala. Bwe kityo yabakubiriza ‘okugaziwa mu mitima gyabwe’ bamwagale era baagale ne basinza bannaabwe.
7. Tuyinza tutya ‘okugaziwa mu mutima gwaffe’ ne tulaga ab’oluganda okwagala?
7 Ate kiri kitya ku ffe? Tuyinza tutya ‘okugaziwa mu mitima gyaffe’ ne tulaga ab’oluganda okwagala? Abantu abali mu myaka egimu oba ab’eggwanga erimu batera okwagalana. N’abo abanyumirwa eby’okwesanyusaamu ebimu batera okuyita bonna. Naye ebintu ebitugatta n’Abakristaayo abamu bwe biba bituleetera okweyawula ku balala, tuba twetaaga ‘okugaziwa mu mitima gyaffe.’ Kiba kya magezi okwebuuza: ‘Okubuulirako oba okusanyukako n’ab’oluganda abatali bannange nnyo nkikola lumu na lumu? Bwe mba mu Kizimbe ky’Obwakabaka, nneewala okwewa abantu abapya nga ndowooza nti omukwano gwange nabo gulina kujja mpolampola? Nfuba okulamusa ab’oluganda bonna mu kibiina, abato n’abakulu?’
8, 9. Okubuulirira kwa Pawulo okuli mu Abaruumi 15:7 kutuyamba kutya okulamusagana mu ngeri etumbula okwagala ab’oluganda?
8 Bwe kituuka ku kulamusagana, Pawulo bye yayogera eri Abaruumi bituyamba okutunuulira bakkiriza bannaffe mu ngeri ennuŋŋamu. (Soma Abaruumi 15:7.) Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa ‘okusembeza’ kitegeeza “okwaniriza obulungi omuntu oba okumufuula mukwano gwo.” Mu biseera bya Baibuli, omuntu bwe yakyazanga mikwano gye, yafubanga okubalaga nti musanyufu nnyo okubalaba. Mu ngeri ey’akabonero, Kristo yatusembeza era naffe tukubirizibwa okumukoppa nga tusembeza basinza bannaffe.
9 Bwe tulamusa ab’oluganda nga tuli mu Kizimbe ky’Obwakabaka oba awalala wonna, tusobola okumanya ebifa ku abo be tuludde okulaba oba okwogerako nabo. Lwaki totwala akaseera ng’onyumyako nabo? Ate mu lukuŋŋaana oluddako, nyumyako n’ab’oluganda abalala. Mu bbanga ttono, ojja kwesanga ng’onyumizzaako kumpi na buli omu mu kibiina. Tolina kweraliikirira olw’okuba tosobodde kwogerako na buli omu abaddewo mu lukuŋŋaana. Mu butuufu, tewali asaanidde kunenya mulala nga tasobodde kumulamusa mu nkuŋŋaana ezimu.
10. Mukisa ki ffenna gwe tufuna mu kibiina, era tuyinza tutya okugukozesa obulungi?
10 Okulamusa abalala kye kintu kye tusooka okukola nga tubaaniriza. Kino kiyinza okuvaako emboozi ennyuvu n’omukwano ogwa namaddala. Ng’ekyokulabirako, bwe tuba mu nkuŋŋaana ennene ne tweyanjulira abalala era ne tunyumya nabo, kiyinza okutuleetera okwesunga okuddamu okubalaba. Ab’oluganda abakola ogw’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka n’abo abeenyigira mu kudduukirira abagwiriddwa obutyabaga batera okufuuka ab’omukwano ennyo olw’okuba bakolera wamu, buli omu n’alaba engeri za munne ennungi. Mu kibiina kya Yakuwa tufuna emikisa mingi okukola emikwano egya namaddala. Bwe ‘tugaziwa mu mitima gyaffe,’ bangi bajja kufuuka mikwano gyaffe, tweyongere okunyweza okwagala okutugatta mu kusinza okw’amazima.
Oli Muntu Atuukirikika?
11. Okusinziira ku Makko 10:13-16, Yesu yateekawo kyakulabirako ki?
11 Abakristaayo bonna basaanidde okuba nga batuukirikika nga Yesu bwe yali. Lowooza ku Yesu kye yayogera ng’abayigirizwa be bagezaako okugaana abazadde okuleeta abaana baabwe gy’ali. Yagamba nti: “Muleke abaana abato bajje gye ndi; temubagaana, kubanga obwakabaka bwa Katonda bw’abo abalinga abaana abato.” Bw’atyo “[y]awambaatira abaana n’abawa omukisa ng’abassaako emikono.” (Mak. 10:13-16) Ng’abaana abo balina okuba nga baasanyuka nnyo olw’Omuyigiriza Omukulu okubalaga okwagala okwenkanidde awo!
12. Biki ebiyinza okutulemesa okunyumyako n’abalala?
12 Buli Mukristaayo asaanidde okwebuuza, ‘Ndi muntu atuukirikika, oba buli kiseera ndabika ng’alina eby’okukola ebingi?’ Waliwo ebintu bye tukola nga si bikyamu naye nga biremesa abalala okunyumyako naffe. Ng’ekyokulabirako, bwe tudda mu kukozesa obusimu bwaffe obw’omu ngalo oba bukompyuta buli kiseera, oba ne tuteeka obuzindaalo ku matu okubaako bye tuwuliriza, kiyinza okuleetera abalala okulowooza nti tetwagala kwogera nabo. Kyo kituufu nti waliwo “ekiseera eky’okusirikiramu.” Naye bwe tubeera mu bantu, kitera kuba ‘kiseera kya kwogereramu.’ (Mub. 3:7) Abamu bayinza okugamba nti, “Nsinga kwagala kubeera nzekka” oba nti “Ku makya mba saagala kwogera.” Naye bwe twogera n’abalala wadde nga kitukaluubirira, kiba kiraga nti tulina okwagala ‘okuteenoonyeza byakwo.’—1 Kol. 13:5.
13. Pawulo yakubiriza Timoseewo atwale atya ab’oluganda?
13 Pawulo yakubiriza Timoseewo okuwa ab’oluganda bonna mu kibiina ekitiibwa. (Soma 1 Timoseewo 5:1, 2.) Naffe tusaanidde okuyisa Abakristaayo abakulu mu myaka nga bamaama oba bataata, n’abo abakyali abato nga baganda baffe oba bannyinnaffe ab’enda emu. Bwe tukola tutyo, tewali wa luganda n’omu ajja kukaluubirirwa kututuukirira.
14. Miganyulo ki egiri mu kunyumya n’abalala ebintu ebizimba?
14 Bwe tunyumya n’abalala ebintu ebizimba, kibayamba okunywera mu by’omwoyo n’okuwulira obulungi. Ow’oluganda omu aweereza ku ofiisi y’ettabi akyajjukira engeri ab’oluganda abaali baludde ku Beseri gye banyumyangako naye nga yakagendayo. Ebigambo byabwe byamuzzaamu amaanyi era byamuleetera okuwulira nti ab’omu maka ga Beseri baali bamwagala. Kati naye afuba okubakoppa ng’anyumyako ne Babeseri banne.
Okuba Omwetoowaze Kireetawo Emirembe
15. Kiki ekiraga nti naffe tusobola okufuna obutategeeragana?
15 Kirabika Abakristaayo babiri ab’omu Firipi, Ewudiya ne Suntuke, baafuna obutakkaanya ne balemwa okubugonjola. (Baf. 4:2, 3) Ate era enkaayana ey’amaanyi eyaliwo wakati wa Pawulo ne Balunabba bangi bagimanya era yabaviirako buli omu okukwata erirye. (Bik. 15:37-39) Ebyokulabirako ebyo biraga nti n’abasinza ab’amazima basobola okufuna obutategeeragana. Kyokka Yakuwa atulaga engeri y’okubugonjoolamu n’okuzzaawo omukwano. Naye alina ky’atwetaagisa okukola.
16, 17. (a) Okulaga obwetoowaze kikulu kwenkana wa mu kugonjoola obutategeeragana? (b) Engeri Yakobo gye yatuukiriramu Esawu eraga etya obukulu bw’okuba omwetoowaze?
16 Kuba akafaananyi nga ggwe ne mukwano gwo muliko gye mulaga era nga mugendera mu mmotoka. Okusobola okusimbula, omugoba wa mmotoka alina okusooka okugiteekamu ekisumuluzo n’akoleeza. N’okugonjoola obutategeeragana bwe kutyo kwetaagisa ekisumuluzo, ng’ekisumuluzo ekyo bwe bwetoowaze. (Soma Yakobo 4:10.) Nga bwe tugenda okulaba, obwetoowaze buyamba abantu abalina obutategeeragana okukolera ku misingi gya Baibuli.
17 Waali wayise emyaka abiri bukya Esawu akwatirwa muganda we Yakobo obusungu olw’okumutwalako obusika era n’ayagala okumutta. Ab’oluganda abo abaali abalongo bwe baali bagenda okuddamu okusisinkana, ‘Yakobo yatya nnyo ne yeeraliikirira.’ Yali alowooza nti Esawu ayinza okumukola akabi. Naye bwe baasisinkana, Yakobo yakola ekintu Esawu kye yali tasuubira. ‘Yavunnama’ nga bw’amusemberera. Kiki ekyaddirira? “Esawu [yadduka] mbiro okumusisinkana, n’amukwata mu ngalo, n’amugwa mu kifuba, n’amunywegera: ne bakaaba amaziga.” Okutya nti waali wayinza okubaawo olutalo wakati waabwe kwakoma awo. Yee, okuba nti Yakobo yalaga obwetoowaze kyakkakkanya obusungu bwa Esawu.—Lub. 27:41; 32:3-8; 33:3, 4.
18, 19. (a) Bw’ofuna obutategeeragana n’omuntu, lwaki wandifubye okukolera ku magezi agali mu Byawandiikibwa? (b) Lwaki tosaanidde kuggwamu maanyi nga gw’ofuba okutabagana naye tafaayo?
18 Baibuli erimu amagezi amalungi ennyo agatuyamba mu kugonjoola obutategeeragana. (Mat. 5:23, 24; 18:15-17; Bef. 4:26, 27)a Naye kiba kizibu okuleetawo emirembe singa tetulaga bwetowaaze ne tukolera ku magezi ago. Tekiyamba kulinda munno alage obwetoowaze nga naawe kennyini osobola okubulaga.
19 Bw’ogezaako okugonjoola obutategeeragana ne bitagenda bulungi, toggwaamu maanyi. Gw’oba ofuba okutabagana naye ayinza okuba ng’akyetaaga ekiseera okutereeza endowooza ye. Baganda ba Yusufu baamulyamu olukwe. Kyokka oluvannyuma lw’ebbanga ddene, baddamu okumulaba, ng’olwo ye katikkiro wa Misiri. Ku luno baali beetoowaze era baamusaba abasonyiwe. Yusufu yabasonyiwa era batabani ba Yakobo baafuuka eggwanga eryaweebwa enkizo okukiikirira Yakuwa. (Lub. 50:15-21) Okukuuma emirembe n’ab’oluganda kiyamba mu kuleetawo essanyu n’obumu mu kibiina.—Soma Abakkolosaayi 3:12-14.
Twagale “mu Bikolwa ne mu Mazima”
20, 21. Yesu okunaaza abatume be ebigere kituyigiriza ki?
20 Ng’anaatera okuttibwa, Yesu yagamba abatume be nti: “Mbateereddewo ekyokulabirako, nga bwe nkoze nammwe bwe musaanidde okukola.” (Yok. 13:15) Yali yaakamala okunaaza abatume be 12 ebigere. Kino Yesu teyakikola kutuukiriza kalombolombo oba kulaga kisa. Nga tannawandiika bikwata ku kunaaza batume bigere, Yokaana yagamba nti: “[Yesu] yayagala ababe abaali mu nsi, era yeeyongera okubaagala okutuukira ddala ku nkomerero.” (Yok. 13:1) Okwagala abagoberezi be kye kyamuleetera okukola ekintu ekyakolebwanga abaddu. Kati nabo baalina okulaga obwetoowaze ne bakolera bannaabwe ebikolwa ebirungi. Yee, okwagala ab’oluganda kutukubiriza okufaayo ku Bakristaayo bannaffe bonna.
21 Omutume Peetero, Omwana wa Katonda gwe yanaaza ebigere, yategeera bulungi amakulu g’ekyo Yesu kye yakola. Yawandiika: “Kaakano nga bwe mumaze okutukuza obulamu bwammwe nga mugondera amazima era ng’ekyo kibaviiriddeko okuba n’okwagalana okw’ab’oluganda okutaliimu bukuusa, kale mwagalane nnyo okuviira ddala ku mutima.” (1 Peet. 1:22) Omutume Yokaana, nga naye Mukama waffe yamunaaza ebigere, yawandiika: “Abaana abato, tulemenga okwagala mu bigambo ne mu lulimi, wabula mu bikolwa ne mu mazima.” (1 Yok. 3:18) Ka ebikolwa byaffe birage nti twagala ab’oluganda.
[Obugambo obuli wansi]
a Laba olupapula 144-150 mu katabo Organized to Do Jehovah’s Will.
Ojjukira?
• Tuyinza tutya ‘okugaziwa mu mitima gyaffe’ ne tulaga abalala okwagala?
• Kiki ekinaatuyamba okuba abantu abatuukirikika?
• Obwetoowaze buyamba butya mu kuleetawo emirembe?
• Kiki ekitukubiriza okufaayo ku bakkiriza bannaffe?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 21]
Yaniriza ab’oluganda n’essanyu
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]
Kozesa buli kakisa okunyumyako n’abalala