LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • my olugero 23
  • Ebirooto bya Falaawo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ebirooto bya Falaawo
  • Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Similar Material
  • “Okutegeeza Amakulu Si kwa Katonda?”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Yakuwa Teyeerabira Yusufu
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Otera Okukwatibwa Obuggya? Baganda ba Yusufu Baakwatibwa Obuggya
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Yusufu Ateekebwa mu Kkomera
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
See More
Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
my olugero 23

OLUGERO 23

Ebirooto bya Falaawo

EMYAKA ebiri giyitawo, era Yusufu akyali mu kkomera. Omusenero tamujjukiranga. Ekiro kimu Falaawo aloota ebirooto bibiri eby’enjawulo, era yeebuuza kye bitegeeza. Omulaba awo nga yeebase? Enkeera, Falaawo ayita abasajja be abagezigezi n’ababuulira by’aloose. Naye tebasobola kumunnyonnyola makulu ga birooto bye.

Kati omusenero ajjukira Yusufu. Agamba Falaawo: ‘Bwe nnali mu kkomera, waaliyo omusajja eyali asobola okunnyonnyola amakulu g’ebirooto.’ Falaawo alagira Yusufu okuggibwa mu kkomera amangu ago.

Falaawo abuulira Yusufu ebirooto bye: ‘Nnalabye ente musanvu engevu ezirabika obulungi. Era ne ndaba ente endala musanvu enkovvu era ezirabika obubi. Era ente enkovvu ne zirya ente engevvu.

‘Mu kirooto kyange eky’okubiri, nnalabye ebirimba musanvu ebigimu obulungi nga bimera ku kiti kimu. Era ne ndaba ebirimba ebitono musanvu ebikaze. Ebirimba ebitono ne bitandika okumira ebirimba ebirungi omusanvu.’

Yusufu agamba Falaawo: ‘Ebirooto byombi bitegeeza ekintu kye kimu. Ente omusanvu engevvu n’ebirimba omusanvu ebigimu obulungi bitegeeza myaka musanvu, ate ente enkovvu omusanvu n’ebirimba omusanvu ebitono bitegeeza myaka musanvu emirala. Wanaabaawo emyaka musanvu emmere nnyingi bw’eneebala mu Misiri. Oluvannyuma wabeewo emyaka emirala musanvu omunaabalira emmere ntono nnyo.’

N’olwekyo Yusufu agamba Falaawo: ‘Londa omusajja ow’amagezi omuwe obuvunaanyizibwa obw’okukuŋŋaanya emmere mu myaka omusanvu emirungi. Bwe kityo abantu tebaafe njala mu myaka omusanvu emibi eginaddirira, omunaabalira emmere ttono nnyo.’

Ekirowoozo Falaawo akisiima. Era alonda Yusufu okukuŋŋaanya emmere n’okugitereka. Nga y’addirira Falaawo, Yusufu afuuka omusajja omukulu ennyo mu Misiri.

Nga wayiseewo emyaka munaana, mu kiseera eky’enjala, Yusufu alaba abasajja abajja. Omanyi be baani? Be baganda be 10 abakulu! Taata waabwe Yakobo abatumye e Misiri kubanga emmere yali ebakendeddeko ewaabwe mu Kanani. Yusufu ategeera baganda be naye bo tebamutegeera. Omanyi lwaki? Lwakuba Yusufu akuze, era ayambadde engoye za njawulo.

Yusufu ajjukira nti bwe yali akyali muto yaloota baganda be nga bamuvvunamira. Ojjukira okukisomako? N’olwekyo, Yusufu akiraba nti Katonda ye yamutuma e Misiri, era lwa nsonga nnungi. Olowooza Yusufu akola atya? Ka tulabe.

Olubereberye 41:1-57; 42:1-8; 50:20.

Ebibuuzo

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share