LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • my olugero 27
  • Kabaka Omubi Afuga Misiri

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Kabaka Omubi Afuga Misiri
  • Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Similar Material
  • Musa Yasalawo Okuweereza Yakuwa
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Okusomoka Ennyanja Emmyufu
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Ebibonyoobonyo Omukaaga Ebyaddako
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Ebibonyoobonyo Ebisatu Ebyasooka
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
See More
Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
my olugero 27

OLUGERO 27

Kabaka Omubi Afuga Misiri

ABASAJJA abali wano bakaka abantu okukola. Tunuulira omusajja akuba omu ku bakozi ne kibooko! Abakozi ba lulyo lwa Yakobo, era bayitibwa Abaisiraeri. Ate abasajja ababakaka okukola bayitibwa Bamisiri. Abaisiraeri bafuuse baddu ba Bamisiri. Kino kyabaawo kitya?

Okumala emyaka mingi amaka ga Yakobo amanene gaali mu mirembe mu Misiri. Yusufu eyali omuntu omukulu ennyo mu Misiri ng’addirira Falaawo kabaka, yali abalabirira. Naye Yusufu yafa. Falaawo omuppya eyali tayagala Baisiraeri yafuuka kabaka mu Misiri.

N’olwekyo, Falaawo ono omubi yafuula Abaisiraeri abaddu. Era n’abateeka wansi w’abasajja ab’ettima era abakambwe. Baakaka Abaisiraeri okukola emirimu egy’amaanyi egy’okuzimbira Falaawo ebibuga. Wadde kyali kityo, Abaisiraeri beeyongera obungi. Oluvannyuma lw’ekiseera, Abamisiri baatya nnyo nti Abaisiraeri bandifuuse bangi era nga ba maanyi nnyo.

Omanyi Falaawo kye yakola? Yayogera n’abakazi abaayambanga abakazi Abaisiraeri nga bazaala abaana, n’abagamba: ‘Muteekwa okutta buli mwana omulenzi azaalibwa.’ Naye bano baali bakazi balungi, era tebatta baana abo.

N’olwekyo, Falaawo yawa ekiragiro kino eri abantu be bonna: ‘Mutwale abaana abawere ab’obulenzi Abaisiraeri mu batte. Abaana abawere ab’obuwala bokka be muba muleka.’ Ekyo tekyali kintu kibi nnyo okulagira? Ka tulabe engeri omwana omu omulenzi gye yawonyezebwamu.

Okuva 1:6-22.

Ebibuuzo

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share