LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lfb essomo 20 lup. 52-lup. 53 kat. 3
  • Ebibonyoobonyo Omukaaga Ebyaddako

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ebibonyoobonyo Omukaaga Ebyaddako
  • Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Similar Material
  • Ebibonyoobonyo Ebisatu Ebyasooka
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Musa ne Alooni Balaba Falaawo
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Musa Yasalawo Okuweereza Yakuwa
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Kabaka Omubi Afuga Misiri
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
See More
Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
lfb essomo 20 lup. 52-lup. 53 kat. 3
Enzige

ESSOMO 20

Ebibonyoobonyo Omukaaga Ebyaddako

Musa ne Alooni baagenda eri Falaawo okumugamba ekyo Katonda kye yali agambye. Baamugamba nti, ‘Bw’otooleke bantu bange kugenda, ŋŋenda kusindika ebibinja bya kawawa mu nsi ya Misiri.’ Ebibinja bya kawawa byayingira mu mayumba g’Abamisiri bonna, abagagga n’abaavu. Ensi ya Misiri yajjula kawawa. Naye mu kitundu ky’e Goseni Abayisirayiri gye baali babeera tewaaliyo kawawa. Okuva ku kibonyoobonyo eky’okuna, Abamisiri bokka be baakosebwa. Falaawo yagamba Musa ne Alooni nti: ‘Musabe Yakuwa aggyewo kawawa. Nja kuleka abantu bammwe bagende.’ Naye Yakuwa bwe yaggyawo kawawa, Falaawo yagaana okuleka Abayisirayiri okugenda. Ddala ekiseera kyandituuse Falaawo n’awuliriza Yakuwa?

Yakuwa yagamba nti: ‘Falaawo bw’ataaleke bantu bange kugenda, ebisolo by’Abamisiri bijja kulwala bife.’ Olunaku olwaddako, ebisolo byatandika okufa. Naye ebisolo by’Abayisirayiri tebyafa. Kyokka era Falaawo yagaana okuleka Abayisirayiri okugenda.

Yakuwa yagamba Musa addeyo eri Falaawo amanse evvu mu bbanga. Evvu eryo lyafuuka enfuufu, enfuufu eyo n’esaasaana mu mpeewo n’eyiika ku Bamisiri bonna. Enfuufu eyo yaleetera Abamisiri bonna n’ebisolo byabwe okulwala amayute agaluma ennyo. Wadde kyali kityo, Falaawo teyaleka Bayisirayiri kugenda.

Ebibonyoobonyo mu Misiri, ekibonyoobonyo eky’okuna okutuuka ku ky’omukaaga: kawawa, obulwadde mu nsolo, amayute

Yakuwa yaddamu n’atuma Musa eri Falaawo amugambe nti: ‘Okyagaanye okuleka abantu bange okugenda? Enkya omuzira gugenda kugwa mu Misiri.’ Olunaku olwaddako, Yakuwa yasindika omuzira n’okubwatuka n’omuliro mu Misiri. Ogwo gwe muzira ogwali gukyasinzeeyo obubi mu Misiri. Emiti gyonna n’ebimera byonna byayonooneka, naye eby’omu kitundu ky’e Goseni byo tebyayonooneka. Falaawo yagamba nti: ‘Mwegayirire Yakuwa akomye ekibonyoobonyo kino, nja kubaleka mugende.’ Naye omuzira n’enkuba bwe byalekera awo, Falaawo yeekyusa.

Oluvannyuma Musa yagamba nti: ‘Enzige zigenda kulya ebimera byonna omuzira bye gwalekawo.’ Enzige nnyingi nnyo zajja ne zirya buli ekyali kisigadde mu nnimiro ne ku miti. Falaawo yagamba nti: ‘Mwegayirire Yakuwa aggyewo enzige zino.’ Kyokka Yakuwa bwe yamala okuggyawo enzige, Falaawo yagaana okukola Yakuwa kye yamugamba.

Yakuwa yagamba Musa nti: ‘Golola omukono gwo eri eggulu.’ Bwe yakikola, enzikiza ey’amaanyi yakwata. Abamisiri baamala ennaku ssatu nga tebalina kye bayinza kulaba. Abayisirayiri bokka be baalina ekitangaala mu mayumba gaabwe.

Ebibonyoobonyo mu Misiri eky’omusanvu okutuuka ku ky’omwenda: omuzira, enzige, ekizikiza

Falaawo yagamba Musa nti: ‘Ggwe n’abantu bo mugende, naye zo ensolo zammwe muzireke.’ Musa yamuddamu nti: ‘Tujja kugenda n’ensolo zaffe, kubanga tugenda kuziwaayo eri Katonda waffe.’ Falaawo yasunguwala n’aboggolera Musa n’amugamba nti: ‘Nva mu maaso; bw’onookomawo we ndi nja kukutta.’

“Muliddamu nate okulaba enjawulo eriwo wakati w’omutuukirivu n’omubi, n’enjawulo eriwo wakati w’oyo aweereza Katonda n’oyo atamuweereza.”​—Malaki 3:18

Ebibuuzo: Bibonyoobonyo ki ebirala Yakuwa bye yaleeta? Ebibonyoobonyo ebyo byayawukana bitya ku bibonyoobonyo ebisatu ebyasooka?

Okuva 8:20–10:29

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share