LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • my olugero 41
  • Omusota ogw’Ekikomo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Omusota ogw’Ekikomo
  • Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Similar Material
  • Ekisaka Ekyaka Omuliro
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • ‘Mu Nsozi Mujja Kusimamu Ekikomo’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Ekisaka Ekyaka
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
my olugero 41

OLUGERO 41

Omusota ogw’Ekikomo

OGWO gulabika ng’omusota ogwa ddala ogwezingiridde ku mpagi? Si gwa ddala. Omusota ogwo gukoleddwa mu kikomo. Yakuwa yagamba Musa okuguwanika ku mpagi abantu basobole okugutunulako basigale nga balamu. Naye egyo emisota emirala egiri wansi, gya ddala. Gibozze abantu ne balwala. Omanyi lwaki?

Lwakuba Abaisiraeri boogedde bubi ku Katonda ne ku Musa. Beemulugunya: ‘Mwatuggira ki mu Misiri okutuleeta okufiira mu ddungu lino? Wano tewali kya kulya wadde amazzi. Era twetamiddwa okulya mmaanu.’

Naye mmaanu mmere nnungi. Yakuwa agibawadde mu ngeri ey’ekyamagero. Era abawadde amazzi mu ngeri y’ekyamagero. Naye abantu tebasiima ngeri Katonda gy’abalabiriddemu. N’olwekyo Yakuwa asindise emisota gino egy’obusagwa okubonereza Abaisiraeri. Emisota gibabojja era bangi ku bo bafa.

Oluvannyuma abantu bajja eri Musa ne bagamba: ‘Twonoonye, kubanga twogedde bubi ku Yakuwa naawe. Kati saba Yakuwa aggyewo emisota gino.’

Awo Musa asabira abantu. Era Yakuwa agamba Musa okukola omusota guno ogw’ekikomo. Amugamba okuguwanika ku mpagi, era nti buli muntu aba abojjeddwa omusota agutunuleko. Musa akola Katonda ky’amugamba. Era abantu abaabojjebwa batunuulira omusota ogw’ekikomo ne bawona.

Waliwo kye tuyigira ku kino. Ffenna, mu ngeri emu, tulinga Abaisiraeri abo abaabojjebwa emisota egyo. Ffenna tuli mu mbeera ey’okufa. Weetegereze ebikwetoolodde, era ojja kulaba nti abantu bakula ne bakaddiwa, balwala era ne bafa. Kino kiri kityo kubanga omusajja n’omukazi abaasooka, Adamu ne Kaawa, baajeemera Yakuwa, ate ffenna tuli baana baabwe. Naye Yakuwa atukoledde enteekateeka tusobole okuba abalamu emirembe gyonna.

Yakuwa yatuma Omwana we, Yesu Kristo, ku nsi. Yesu yawanikibwa ku muti, kubanga abantu bangi baalowooza nti yali mubi. Naye Yakuwa yatuwa Yesu okutulokola. Singa tumwesiga, ne tumugoberera, tujja kufuna obulamu obutaggwaawo. Naye kino tujja kukiyigako oluvannyuma.

Okubala 21:4-9; Yokaana 3:14, 15.

Ebibuuzo

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share