LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w13 12/1 lup. 12-13
  • ‘Mu Nsozi Mujja Kusimamu Ekikomo’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • ‘Mu Nsozi Mujja Kusimamu Ekikomo’
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Subheadings
  • Similar Material
  • EBITUNDU OMWASIMIBWANGA EKIKOMO MU NSI ENSUUBIZE
  • ENGERI EKIKOMO GYE KYAKOZESEBWANGAMU MU ISIRAERI EY’EDDA
  • OBUNGI BW’EKIKOMO KABAKA SULEMAANI KYE YAKOZESA
  • Omusota ogw’Ekikomo
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
w13 12/1 lup. 12-13
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]

‘Mu Nsozi Mujja Kusimamu Ekikomo’

Abayiikuula eby’omu ttaka bwe baali banoonyereza mu ddungu lya Yuda, baasanga empuku empanvu mu kitundu ekiyitibwa Nahal Mishmar. Waliwo ekintu kyonna eky’omugaso kye baasangamu? Kyabeewuunyisa nnyo okusangamu ebintu bingi eby’omuwendo.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]

EBINTU ebyo byazuulibwa mu Maaki 1961, nga bizingiddwa mu kiwempe ekyakolebwa mu mmuli. Mu kiwempe ekyo mwalimu ebintu eby’enjawulo ebiwerera ddala 400, era ng’ebisinga obungi ku byo byakolebwa mu kikomo. Mu bintu ebyo mwalimu engule, ddamula, ebisala, n’ebintu ebirala. Ebintu ebyo ebyazuulibwa bijjukiza abasomi ba Bayibuli ebyo ebiri mu Olubereberye 4:22, awalaga nti Tubalukayini yali ‘muweesi wa buli ekisala eky’ekikomo n’eky’ekyuma.’

Abaakola ebintu ebyo n’ekiseera kye baabikoleramu tebinnamanyibwa. Kyokka eky’okuba nti byazuulibwa, kiraga nti abantu baava dda nga basima ekikomo era nga bakikolamu ebintu ebitali bimu.

EBITUNDU OMWASIMIBWANGA EKIKOMO MU NSI ENSUUBIZE

Abaisiraeri bwe baali banaatera okuyingira mu Nsi Ensuubize, Musa yabagamba nti: ‘Mu nsozi zaayo mujja kusimamu ekikomo.’ (Ekyamateeka 8:7-9) Abayiikuula eby’omu ttaka baazuula mu Isiraeri ne mu Jordan ebitundu ebyasimibwangamu ekikomo, gamba ng’eky’e Feinan, eky’e Timna, n’eky’e Khirbat en-Nahas. Mu bitundu ebyo baasangamu ki?

Mu kitundu ky’e Feinan n’eky’e Timna mulimu ebirombe abasimi b’ekimo mwe baakisimanga okumala ebbanga lya myaka nga 2,000. Ne leero omuntu bw’agenda mu bitundu ebyo alaba obuyinja obuliko ekikomo nga busaasaanye wonna. Abasimi b’eby’obugagga eby’omu ttaka ab’edda baasimanga enjazi nga bakozesa eby’okusimisa ebyakolebwa mu mayinja ne bafuna ekikomo ekyabanga okumpi. Ekikomo eky’okumpi bwe kyaggwangawo, baasimanga munda ddala nga bakozesa ebintu eby’ekyuma ne batuuka n’okukola empuku. Okusima mu ngeri eyo kwogerwako mu kitabo kya Bayibuli ekya Yobu. (Yobu 28:2-11) Guno gwabanga mulimu muzibu nnyo; mu butuufu, okuva mu kyasa eky’okusatu okutuuka mu ky’okutaano embala eno, ab’obuyinza mu Rooma baawanga abasibe ekibonerezo eky’okukola mu birombe by’ekikomo eby’e Feinan.

Ebisiriiza bingi nnyo bisangibwa mu kitundu ekiyitibwa Khirbat en-Nahas, ekiraga nti mu kitundu ekyo baalongoosezangamu ekikomo kingi nnyo. Abakugu bagamba nti ekikomo ekitali kirongoose kyaleetebwanga mu kifo ekyo okuva mu birombe ebyali biriraanyeewo, gamba ng’eby’omu Feinan n’eby’omu Timna. Okusobola okulongoosa ekikomo ekyo, baakozesanga omuliro ogwokya ennyo okumala essaawa wakati w’omunaana n’ekkumi. Mu kkiro ttaano ez’ekikomo ekitali kirongoose, baggyangamu kkiro emu ey’ekikomo ekirongoose, mwe baakolanga ebintu ebitali bimu.

ENGERI EKIKOMO GYE KYAKOZESEBWANGAMU MU ISIRAERI EY’EDDA

Ku Lusozi Sinaayi, Yakuwa Katonda yalagira Abaisiraeri okukozesa ekikomo mu kuzimba weema ey’okusisinkaniramu, era oluvannyuma baakozesa ekikomo mu kuzimba yeekaalu mu Yerusaalemi. (Okuva, essuula 27) Abaisiraeri bayinza okuba nga baali bamanyi okukola ebintu okuva mu kikomo ne mu zzaabu nga tebannagenda Misiri, oba bayinza okuba nga baayigira eyo okubikola. Bwe baali baakava e Misiri, baakola ennyana eya zzaabu. Ate era baakola ebintu bingi eby’ekikomo, gamba ng’ebbaafu ennene, ensuwa, ebibya, ebitiiyo, n’ebintu ebirala ebyali byetaagibwa mu weema ey’okusisinkaniramu.​—Okuva 32:4.

Oluvannyuma Abaisiraeri bwe baali mu ddungu, oboolyawo okumpi n’e Punoni (kirabika kye kitundu ekiyitibwa Feinan mu kiseera kino), ekitundu ekyalimu ekikomo ekingi, beemulugunya olw’emmaanu n’olw’ebbula ly’amazzi. Yakuwa yababonereza ng’abasindikira emisota egy’obusagwa, era bangi ku abo be gyaluma baafa. Abaisiraeri bwe beenenya, Musa yeegayirira Yakuwa abasonyiwe, era Yakuwa yamulagira okukola omusota mu kikomo aguwanike ku kikondo. Bayibuli egamba nti: “Awo olwatuuka omusota bwe gwabanga gulumye omuntu yenna, bwe yatunuulira omusota ogw’ekikomo, n’aba mulamu.”​—Okubala 21:4-10; 33:43.

OBUNGI BW’EKIKOMO KABAKA SULEMAANI KYE YAKOZESA

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 13]

Ebintu bingi ebya yeekaalu eyali mu Yerusaalemi byakolebwa mu kikomo

Kabaka Sulemaani yakozesa ekikomo kingi nnyo ng’azimba yeekaalu mu Yerusaalemi. Ekikomo ekisinga obungi kitaawe Dawudi ye yakifuna ng’alwanyisa Busuuli. (1 Ebyomumirembe 18:6-8) “Ennyanja ensaanuuse,” oba ttanka ennene eyakolebwa mu kikomo eyateekebwangamu amazzi bakabona ge baayozesanga, yali ya lita nga 66,000 era yali ezitowa kkiro nga 30,000. (1 Bassekabaka 7:23-26, 44-46) Era ne ku mulyango oguyingira mu yeekaalu waaliwo empagi bbiri ezaakolebwa mu kikomo. Zaali za ffuuti abiri mu mukaaga obuwanvu era nga waggulu zaaliko emitwe gya ffuuti nga musaanvu. Empagi ezo zaalimu emiwulenge, era nga za ffuuti nga ttaano n’ekitundu obugazi. (1 Bassekabaka 7:15, 16; 2 Ebyomumirembe 4:17) Teeberezaamu obungi bw’ekikomo ekyakozesebwa okukola ebintu ebyo byokka!

Abantu aba bulijjo nabo baakozesanga nnyo ekikomo mu biseera eby’edda. Ng’ekyokulabirako, mu Bayibuli tusoma ku bintu ebyakolebwa mu kikomo gamba ng’eby’okulwanyisa, amasamba, ebivuga, n’enzigi. (1 Samwiri 17:5, 6; 2 Bassekabaka 25:7; 1 Ebyomumirembe 15:19; Zabbuli 107:16) Yesu yayogera ku ssente ‘ez’ekikomo,’ n’omutume Pawulo yayogera ku “Alekizanda omuweesi w’ekikomo.”​—Matayo 10:9; 2 Timoseewo 4:14.

Abayiikuula eby’omu ttaka ne bannabyafaayo bakyanoonyereza ku nsibuko y’ebintu ebyakolebwa mu kikomo ebyazuulibwa edda, ne ku ebyo ebyazuulibwa e Nahal Mishmar. Wadde kiri kityo, nga bwe kiragibwa mu Bayibuli, ensi Abaisiraeri gye baasikira, ddala ‘yali nsi nnungi, era mu nsozi zaayo baasimamu ekikomo.’​—Ekyamateeka 8:7-9.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share