ESSOMO 10
Okwogera n’Ebbugumu
OKWOGERA n’ebbugumu kifuula emboozi yo okuba ennyuvu. Wadde nga kikulu okuba n’eby’okwogerako ebiganyula abalala, okubyogera n’ebbugumu kye kijja okuleetera abakuwuliriza okussaayo omwoyo ku by’oyogera. K’obe nga wakulira mu mbeera ki oba ng’olina ngeri ki, osobola okuyiga okwogera n’ebbugumu.
Yoleka Enneewulira ng’Oyogera. Bwe yali ayogera n’omukazi Omusamaliya, Yesu yagamba nti abo abasinza Yakuwa bateekwa okumusinza “mu mwoyo n’amazima.” (Yok. 4:24) Bandimusinzizza olw’okuba bamwagala era n’engeri gye bamusinzaamu yandibadde etuukagana n’Ekigambo kya Katonda. Omuntu bw’aba n’okusiima okw’engeri ng’eyo, kijja kweyolekera mu ngeri gy’ayogeramu. Ajja kuba ayagala nnyo okubuulira abalala ebikwata ku nteekateeka za Yakuwa ez’okwagala. Endabika ye ey’oku maaso, engeri gy’akozesaamu obubonero ng’ayogera, awamu n’eddoboozi lye, bijja kwoleka enneewulira ye.
Kati ate, lwaki omuntu ayagala Yakuwa era akkiririza mu by’ayogera ayinza obutayogera na bbugumu? Kubanga tekimala omuntu okutegeka obutegesi by’agenda okwogera. Ateekwa okubyogera n’ebuggumu. Ka tugambe nti asabiddwa okwogera ku kinunulo kya Yesu Kristo. Bw’aba awa emboozi, talina kukoma ku kwogera bwogezi ku kinunulo ekyo, naye era alina okukyoleka nti asiima engeri ekinunulo kya Yesu gye kimuganyulamu ye kennyini awamu n’abamuwuliriza. Alina okwoleka nti asiima Yakuwa Katonda ne Kristo Yesu olw’ekirabo ekyo eky’omuwendo. Alina okulowooza ku ngeri ekinunulo ekyo gye kisobozesa abantu okuba n’essuubi ery’ekitalo ery’okuba mu bulamu obutuukiridde mu lusuku lwa Katonda ku nsi! N’olw’ekyo, by’ayogera birina okuba nga biviira ddala ku mutima ggwe.
Baibuli egamba nti Ezera omuwandiisi era omuyigiriza w’amateeka mu Isiraeri, ‘yateekateeka omutima gwe okunoonya amateeka ga Yakuwa, okugakuuma, n’okugayigirizanga mu Isiraeri.’ (Ezer. 7:10) Naffe bwe tukola bwe tutyo, ne tutakoma ku kuteekateeka bya kwogera kyokka, naye era ne tuteekateeka n’emitima gyaffe, tujja kwogera ebigambo ebiviira ddala ku mutima. Bwe twogera mu ngeri eyo, kijja kuyamba abatuwuliriza okwagalira ddala amazima.
Lowooza ku Bakuwuliriza. Ensonga endala enkulu eyinza okukuyamba okwogera n’ebbugumu, kwe kukimanya nti abakuwuliriza beetaaga okuwulira by’otegese okwogera. Kino kitegeeza nti bw’oba ng’oteekateeka by’ogenda okwogera, tokoma ku kunoonya bunoonya bintu bya mugaso eby’okwogerako, naye era wandisabye Yakuwa okukuwa obulagirizi osobole okubikozesa mu ngeri eneeganyula abakuwuliriza. (Zab. 32:8; Mat. 7:7, 8) Weebuuze lwaki abakuwuliriza beetaaga okuwulira by’ogenda okwogera, engeri gye bijja okubaganyulamu, era n’engeri gy’oyinza okubyogeramu ne basiima omugaso gwabyo.
Teekateeka by’ogenda okwogera okutuusa lw’owulira nti bikukutte omubabiro. Tebirina kuba bippya naye olina okubyogera mu ngeri esikiriza. Bwe kiba nga ky’ogenda okwogerako kijja kuyamba abakuwuliriza okunyweza enkolagana yaabwe ne Yakuwa, okusiima by’abakolera, okwaŋŋanga ebizibu ebiri mu nteekateeka eno embi, oba okubeera abanyiikivu mu buweereza, kino kijja kukusobozesa okwogera n’ebbugumu.
Ate kiba kitya singa osabibwa okusoma mu lujjudde? Okusobola okusoma n’ebbugumu, olina okukola ekisingawo ku kwatula obwatuzi obulungi ebigambo. Weekenneenye by’ogenda okwogerako. Bw’oba ng’ogenda kusoma kitundu ekimu okuva mu Baibuli, sooka okinoonyerezeeko. Kakasa nti okitegeerera ddala bulungi. Lowooza ku ngeri ebikirimu gye bikuganyulamu era n’abakuwuliriza, era kisome ng’olina ekigendererwa eky’okulaga engeri gye kiganyulamu abakuwuliriza.
Weeteekerateekera buweereza bwa nnimiro? Lowooza ku nsonga gy’onooyogerako era n’ebyawandiikibwa by’onookozesa. Era fumiitiriza ku ekyo abantu kye balowoozaako. Biki ebibadde mu mawulire? Bizibu ki bye boolekagana nabyo? Bw’oba ng’osobola okubannyonnyola nti Ekigambo kya Katonda kisobola okubayamba okugonjoola ebizibu bye boolekaganye nabyo, ojja kuwulira nti wandyagadde okubibategeeza, era ekyo kijja kukusobozesa okwogera n’ebbugumu.
Yogera n’Ebbugumu. Ebbugumu lisobola okweyoleka mu ngeri gy’owamu emboozi. Endabika yo ey’oku maaso esaanidde okukyoleka. Ate olina okwogera nga weekakasa.
Kyetaagisa obutagwa lubege. Abamu bacamuukirira ekisukkiridde ku buli nsonga. Beetaaga okuyambibwa okukitegeera nti omuntu bw’acamuukirira ennyo, abamuwuliriza bajja kulowooza ku ye mu kifo ky’okulowooza ku ebyo by’ayogera. Ku luuyi olulala, abo abalina ensonyi beetaaga okuyambibwa basobole okwogera n’ebbugumu.
Bw’otunuulira abakuwuliriza era n’oyogera n’ebbugumu, nabo bajja kubuguumirira. Apolo yayogeranga n’ebbugumu, era ayogerwako ng’omwogezi omulungi. Omwoyo gwa Katonda gujja kukuyamba okwogera n’ebbugumu era abawuliriza bajja kubaako kye bakolawo.—Bik. 18:24, 25; Bar. 12:11.
Ebbugumu Erituukana ne ky’Oyogerako. Weewale okwogera n’ebbugumu ku buli nsonga yonna eri mu mboozi yo ne kiviirako abakuwuliriza okukoowa. Bw’oyogera n’ebbugumu eriyitiridde, abakuwuliriza bayinza obutassaayo mwoyo ku by’oyogera. Kino kiggumiza obukulu bw’okuteekateeka emboozi yo mu ngeri eneekusobozesa okugiwa nga toyoleka bbugumu ku buli nsonga. Toyogera mu ngeri eraga nti teweefiirayo. Bw’olonda n’obwegendereza eby’okwogerako, ojja kwagala okubyeyambisa mu mboozi yo. Naye, ensonga ezimu kyetaagisa okuzoogera n’ebbugumu okusinga endala, era kiba kirungi ensonga ezo obutaziteeka wamu.
Ensonga enkulu zirina okwogerwa n’ebbugumu. Emboozi yo erina okubaamu ensonga enkulu kw’ogizimbira. Ensonga ezo enkulu ze zijja okukubiriza abakuwuliriza okubaako kye bakolawo. Weetaaga okubakubiriza okubaako kye bakolawo n’okubalaga emiganyulo egiva mu kussa mu nkola by’obabuulidde. Bw’oyogera n’ebbugumu ojja kusobola okutuuka ku mitima gy’abakuwuliriza. Tosaanidde kwogera na bbugumu we kitasaanira. Walina okubaawo ensonga ekuleetera okwogera n’ebbugumu era ng’ensonga eyo esinziira ku ebyo by’otegese.