LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb21 Maayi lup. 11
  • Yigiriza n’Ebbugumu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yigiriza n’Ebbugumu
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
  • Similar Material
  • Okwogera n’Ebbugumu
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Okwogera n’Ebbugumu
    Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
  • Kozesa Ebibuuzo
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
  • Fuba Okutuuka ku Mutima
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
See More
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
mwb21 Maayi lup. 11
Ow’oluganda amwenya era akozesa ebitundu bye eby’omubiri ng’ayigiriza omusajja akaddiye Bayibuli.

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU | WEEYONGERE OKUFUNA ESSANYU MU BUWEEREZA

Yigiriza n’Ebbugumu

Bwe twogera n’ebbugumu kireetera abatuwuliriza nabo okuba n’ebbugumu era n’okussaayo omwoyo ku ebyo bye tubabuulira. Ate era kiraga nti obubaka bwe tubuulira tubutwala nga bukulu nnyo. Ka tube nga twakulira mu mbeera ki oba nga tuli bantu ba ngeri ki, tusobola okuyigiriza n’ebbugumu. (Bar 12:11) Biki ebisobola okutuyamba?

Ekisooka, lowooza ku bukulu bw’obubaka bw’obuulira. Olina enkizo ey’okubuulira “amawulire amalungi ag’ebintu ebirungi!” (Bar 10:15) Eky’okubiri, fumiitiriza ku ngeri amawulire amalungi gye gasobola okukyusaamu obulamu bw’abo b’obuulira. Mu butuufu, beetaaga okuwulira amawulire ago amalungi. (Bar 10:13, 14) N’ekisembayo, yogera n’ebbugumu, era kozesa ebitundu byo eby’omubiri n’endabika yo ey’oku maaso mu ngeri eyoleka enneewulira gy’olina ku bubaka bw’obuulira.

MULABE VIDIYO, FUNA ESSANYU ERIVA MU KUFUULA ABANTU ABAYIGIRIZWA NG’OLONGOOSA MU NGERI GY’OYIGIRIZAAMU​—YIGIRIZA N’EBBUGUMU, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Ekifaananyi ekiggiddwa mu vidiyo, ‘Funa Essanyu Eriva mu Kufuula Abantu Abayigirizwa ng’Olongoosa mu Ngeri gy’Oyigirizaamu​—Yigiriza n’Ebbugumu.’ Anita aweddemu amaanyi oluvannyuma lwa Shanita okusazzaamu okuyiga Bayibuli.

    Kiki ekyaleetera Anita okulekera awo okuyigiriza omuyizi we n’ebbugumu?

  • Ekifaananyi ekiggiddwa mu vidiyo, ‘Funa Essanyu Eriva mu Kufuula Abantu Abayigirizwa ng’Olongoosa mu Ngeri gy’Oyigirizaamu​—Yigiriza n’Ebbugumu.’ Shanita tanyumirwa nga bayiga Bayibuli.

    Kiki ekyayamba Anita okuddamu okuyigiriza n’ebbugumu?

  • Ekifaananyi ekiggiddwa mu vidiyo, ‘Funa Essanyu Eriva mu Kufuula Abantu Abayigirizwa ng’Olongoosa mu Ngeri gy’Oyigirizaamu​—Yigiriza n’Ebbugumu.’ Shanita ne Anita banyumya nga basanyufu oluvannyuma lw’okuyiga kwabwe.

    Bwe twogera n’ebbugumu kireetera abatuwuliriza nabo okuba n’ebbugumu

    Lwaki tusaanidde okulowooza ku ngeri ennungi abo be tubuulira ze balina?

  • Bwe tuyigiriza n’ebbugumu kiyinza kitya okukwata ku bayizi baffe era ne ku bantu abalala?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share