ESSOMO 12
Okukozesa Ebitundu by’Omubiri n’Endabika ey’Oku Maaso
MU BITUNDU ebimu eby’ensi, abantu bakozesa nnyo ebitundu eby’omubiri nga boogera okusinga ab’omu bitundu ebirala. Kyokka, buli muntu alina engeri gy’akyusakyusaamu endabika ye ey’oku maaso era n’engeri gy’akozesaamu ebitundu bye eby’omubiri ng’ayogera. Bwe kityo bwe kibeera ka tube nga tunyumya oba nga tuwa mboozi.
Yesu n’abayigirizwa be baakozesanga ebitundu byabwe by’omubiri nga boogera. Lumu, omuntu yategeeza Yesu nti nnyina ne baganda be baali baagala kwogerako naye. Yesu yaddamu nti: ‘Mange ne baganda bange be baani?’ Baibuli egenda mu maaso n’eraga nti: ‘Yagolola omukono gwe eri abayigirizwa be n’abagamba nti, laba mmange ne baganda bange!’ (Mat. 12:48, 49) Ate era, mu Ebikolwa 12:16 ne 13:16, Baibuli eraga nti omutume Peetero ne Pawulo baakozesa ebitundu byabwe eby’omubiri nga boogera.
Eddoboozi si lye lyokka erisobola okumanyisa abantu enneewulira yo n’endowooza gy’olina ku kintu, naye era n’engeri gy’okozesaamu ebitundu byo eby’omubiri n’endabika yo ey’oku maaso. Bw’otokozesa bitundu byo eby’omubiri oba endabika ey’oku maaso ng’oyogera, kiyinza okuwa abakuwuliriza ekifaananyi nti by’oyogerako tobitwala nti bikulu nnyo. N’olwekyo, bw’okozesa endabika ey’oku maaso n’ebitundu by’omubiri obulungi, kyongera okuggumiza amakulu g’ebyo by’oyogera. Ne bw’oba oyogera n’omuntu ku ssimu, eddoboozi lyo lisobola bulungi okwoleka obukulu bw’ebyo by’oba oyogera era n’engeri gy’obitwalamu okusinziira ku engeri gy’okozesaamu emikono gyo n’endabika yo ey’oku maaso. N’olwekyo, k’obe nga by’oyogera osoma bisome oba nedda, ka kibe nti abakuwuliriza bakutunuulidde oba batunudde mu Baibuli zaabwe, kikulu nnyo okukozesa ebitundu byo eby’omubiri n’endabika ey’oku maaso.
Engeri gy’okozesaamu ebitundu byo eby’omubiri oba endabika yo ey’oku maaso tesomebwa busomebwa mu kitabo. Teri kitabo ky’oyinza kusoma okusobola okuyiga okuseka oba okusunguwala. Engeri gy’okozesaamu ebitundu byo eby’omubiri ng’oyogera erina kuva ku mutima. Bwe kityo bw’okozesa ebitundu eby’omubiri ng’oyogera, oba oyoleka bwolesi nneewulira gy’oba olina. Gy’okoma okubikozesa mu ngeri etuukirawo gy’okoma okwogera obulungi.
Bwe tuba twogera tusobola okukozesa ebitundu byaffe eby’omubiri okunnyonnyola oba okuggumiza kye tuba twogerako. Osobola okukozesa ebitundu byo eby’omubiri okunnyonnyola ekirina okukolebwa, obunene oba obuwanvu bw’ekintu, oba okusonga awali ky’oyogerako. Bw’oba ng’okola ku kukozesa ebitundu byo eby’omubiri n’endabika ey’oku maaso ng’owa emboozi mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda, tobikozesa mulundi gumu gwokka oba ebiri. Fuba okubikozesa obulungi mu mboozi yo yonna. Bw’oba olina obuzibu mu nsonga eno, ekiyinza okukuyamba kwe kwetegereza ebigambo ebiraga obuwanvu bw’ekintu, obunene bwakyo, oba ekifo gye kisangibwa. Ekisinga obukulu kwe kussa ebirowoozo byo ku mboozi yo, mu kifo ky’okulowooza ku ekyo abalala kye bakulowoozaako. Omuntu bw’aba yeemalidde ku by’ayogerako asobola okukozesa ebitundu bye eby’omubiri mu ngeri ennungi.
Ebitundu byo eby’omubiri bw’obikozesa okuggumiza, kikuyamba okwoleka enneewulira yo n’endowooza yo. Kirungi okukikola, naye kyetaagisa okwegendereza kubanga kiyinza okukufuukira omuze. Bw’oba ng’oyogera n’obaako ekitundu kyonna eky’omubiri ky’okozesa mu ngeri y’emu enfunda n’enfunda, ebirowoozo by’abakuwuliriza biyinza okutwalirizibwa ekyo ky’okola mu kifo ky’okubeera ku by’oyogera. Singa akubiriza essomero akutegeeza nti olina ekizibu kino, fuba okulaba nti ebitundu byo eby’omubiri obikozesa kunnyonnyola bunnyonnyozi, oluvannyuma lw’ekiseera olyoke otandike okubikozesa okuggumiza.
Ng’osalawo engeri y’okukozesaamu obulungi ebitundu eby’omubiri okuggumiza, lowooza ku nneewulira z’abakuwuliriza. Kiyinza obutabayisa bulungi singa obasongamu olunwe. Mu bitundu ebimu eby’ensi omusajja bw’akwata ku mumwa ng’alaga nti yeewuunyizza, bayinza okukitwala nti yeeyisizza ng’omukazi. Mu bitundu ebirala, omukazi bw’awuubawuuba emikono ng’ayogera, ayinza okutwalibwa ng’atalina mpisa. Mu bitundu ng’ebyo, bannyinaffe baba balina kukozesa ndabika yaabwe ey’oku maaso okuggyayo amakulu g’ebyo bye boogera. Kumpi mu bitundu byonna eby’ensi, singa omuntu ayitiriza okukozesa ebitundu bye eby’omubiri ng’aliko by’ayogera, ayinza okutwalibwa ng’akola obukozi katemba.
Bw’ogenda ofuna obumanyirivu mu kwogera eri abantu, ojja kusobola okukozesa obulungi ebitundu byo eby’omubiri okwoleka enneewulira yo n’endowooza gy’olina. By’oyogera bijja kutegeerekeka bulungi.
Endabika Yo ku Maaso. Endabika ey’oku maaso y’esingira ddala okulaga engeri omuntu gy’aba yeewuliramu. Amaaso, omumwa, n’omutwe, byoleka bulungi enneewulira. Ne bw’oba nga tolina kigambo kyonna ky’oyogedde, engeri gy’olabikamu ku maaso eyinza okulaga nti tofaayo, weetamiddwa, osobeddwa, weewuunyizza, oba nti osanyuse. Bw’oyogera eri abantu ng’olaga enneewulira yo ku maaso, by’oyogera bijja kubakwatako nnyo. Omutonzi yateeka mu bwenyi bwaffe ebinywa ebiwerera ddala amakumi asatu. Kumpi kimu kya kubiri ku byo bikozesebwa ng’omuntu amwenya.
K’obe ng’oli ku pulatifoomu oba mu buweereza bw’ennimiro, oba n’obubaka obulungi bw’oyagala okutegeeza abakuwuliriza. Bw’oyogera ng’oliko akamwenyumwenyu kiba kituukana bulungi ne by’oyogera. Ku luuyi olulala, bw’oyogera ng’endabika yo ey’oku maaso tetuukana na by’oyogera, abakuwuliriza bajja kubuusabuusa oba nga ddala oli mwesimbu mu ebyo by’oyogera.
Ate era bw’oba n’akamwenyumwenyu kiraga nti ofaayo ku b’oyogera n’abo. Kino kikulu nnyo naddala mu nnaku zino, kubanga abantu beekengera nnyo abo be batamanyi. Bw’obeera n’akamwenyumwenyu kiyamba abantu obutaba ku bunkenke era basobola okuwuliriza obulungi.