ESSOMO 28
Ng’Olinga Anyumya
OKUTWALIRA awamu, abantu baba bakkakkamu nga banyumya ne mikwano gyabwe. Tebasooka kuteekateeka bye bagenda kwogera. Abamu baba bakyamufu; abalala tebaba bakyamufu nga boogera. Wadde kiri kityo, kiba kirungi omuntu bw’ayogera mu ngeri ye eya bulijjo.
Kyokka, bw’oba oyogera n’omuntu gw’otomanyi, toyogera naye nga bwe wandyogedde n’omuntu gw’omanyidde ddala. Mu bitundu ebimu waliwo engeri omuntu gy’ateekeddwa okutandikamu emboozi n’omuntu gw’atamanyi. Bw’aba amaze okutandika emboozi mu ngeri eyo, aba asobola okweyongera okunyumya naye mu ngeri eya bulijjo.
Ne bw’oba oli ku pulatifoomu, oteekwa okwegendereza engeri gy’oyogeramu. Olina okwogera mu ngeri eraga nti enkuŋŋaana ozissaamu ekitiibwa by’oyogera bwe biba eby’okutwalibwa nga bikulu. Mu nnimi ezimu, waliwo ebigambo ebirina okukozesebwa ng’oyogera n’omuntu akusinga obukulu, omusomesa, omukungu, oba omuzadde. (Weetegereze ebigambo ebyakozesebwa mu Ebikolwa by’Abatume 7:2 ne 13:16.) Waliwo ebigambo ebiyinza okukozesebwa ng’oyogera ne munno mu bufumbo oba ne mukwano gwo ow’oku lusegere. Wadde nga tusaanidde okwogera ng’abanyumya nga tuli ku pulatifoomu, tetwandikiyitirizza ne tutuuka n’obutawa balala kitiibwa.
Kyokka, waliwo ebintu ebiyinza okulemesa omuntu okwogera ng’anyumya. Ekimu ku ebyo ye ngeri gy’asengekamu ebigambo. Singa omwogezi agezaako okukozesa ebigambo byennyini nga bwe biwandiikiddwa, tajja kusobola kwogera ng’anyumya. Engeri ebigambo gye biwandiikibwamu eyawukana ku ngeri gye byogerwamu. Kyo kituufu nti bwe tuba tutegeka emboozi, tweyambisa ebintu ebiri mu buwandiike. Oboolyawo tukozesa ekiwandiiko okuli ensonga enkulu. Bw’oba owa emboozi n’oyogera ebigambo nga bwe biwandiikiddwa ku lupapula, tojja kusobola kwogera ng’anyumya. Okusobola okuwa emboozi yo ng’olinga anyumya, yogera ebiri ku lupapula mu bigambo byo era weewale okukozesa ebigambo ebingi ennyo ng’olina ensonga gy’onnyonnyola.
Ekintu ekirala kikwata ku kukyusakyusa mu sipiidi gy’oyogererako. Omuntu okulemererwa okwogera ng’anyumya kiyinza okuva ku butakyusakyusa mu sipiidi gy’ayogererako. Bulijjo bwe tuba tunyumya, tukyusakyusa mu sipiidi gye twogererako era tusiriikiriramu we kiba kyetaagisa.
Kya lwatu, bw’oba oyogera ng’anyumya eri ekibiina ky’abantu, olina okwogera mu ddoboozi ery’omwanguka, era n’okwoleka ebbugumu abakuwuliriza basobole okugoberera obulungi by’oyogera.
Okusobola okwogera ng’anyumya ng’obuulira, weemanyiize okwogera obulungi buli lunaku. Kino tekitegeeza nti olina kuba muyivu nnyo. Naye kiba kirungi okuyiga okwogera mu ngeri eneereetera abalala okussa ekitiibwa mu by’oyogera. Ng’olina ekyo mu birowoozo, weekebere obanga weetaaga okukola ku nsonga zino wammanga ng’onyumya n’abantu.
Weewale okukozesa ebigambo ebikontana n’amateeka agafuga olulimi oba ebiyinza okuleetera abalala okukuteeka mu ttuluba ly’abantu abeeyisa mu ngeri etyoboola emisingi gya Katonda. Ng’ogoberera okubuulirira okuli mu Abakkolosaayi 3:8, weewale okukozesa enjogera embi. Ku luuyi olulala, oli wa ddembe okwogera nga bw’oyogera bulijjo.
Weewale okukozesa ebigambo bye bimu buli lw’oba olina ensonga gy’oyogerako. Yiga okukozesa ebigambo ebiggyayo obulungi amakulu g’oyagala.
Osobola okwewala okuddamu bye waakamala okwogera singa otegeera bulungi ky’oyagala okwogerako; oluvannyuma lw’ekyo n’olyoka otandika okwogera.
Weewale okulandagga. Weemanyiize okukozesa ebigambo ebitonotono ng’onnyonnyola ensonga gy’oyogala ejjukirwe.
Yogera mu ngeri eraga nti owa abalala ekitiibwa.