LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • cl sul. 6 lup. 67-78
  • Amaanyi Agazikiriza—“Yakuwa Mulwanyi Muzira”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Amaanyi Agazikiriza—“Yakuwa Mulwanyi Muzira”
  • Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Entalo za Katonda bw’Ozigeraageranya n’ez’Abantu
  • Ensonga Lwaki Katonda ow’Emirembe Asalawo Okulwana
  • Katonda Abaako ky’Akola Okumalawo Ebintu Ebibi
  • Okulwanirira Erinnya Lye
  • Okulwanirira Abantu Be
  • Funa Enkolagana Ennungi ‘n’Omulwanyi Omuzira’
  • Katonda ow’Amazima y’Ani?
    Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo
  • Okutegeera Amakubo ga Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Katonda Alina Erinnya
    Yigira ku Muyigiriza Omukulu
  • Ekigambo kya Yakuwa Tekiremererwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
See More
Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
cl sul. 6 lup. 67-78
Falaawo n’eggye lya Misiri nga bazikirira mu Nnyanja Emmyufu.

ESSUULA 6

Amaanyi Agazikiriza—“Yakuwa Mulwanyi Muzira”

1-3. (a) Abayisirayiri baali boolekaganye na kabi ki? (b) Yakuwa yalwanirira atya abantu be?

ABAYISIRAYIRI tebaalina wa kuddukira. Ku njuyi zaabwe zombi waaliyo ensozi engulumivu ng’ate mu maaso gaabwe waliyo ennyanja. Eggye ly’Abamisiri, ery’amaanyi ennyo lyali libawondera, nga limaliridde okubazikiriza.a Wadde kyali kityo, Musa yakubiriza abantu ba Katonda obutaggwaamu ssuubi. Yabazzaamu amaanyi ng’abagamba nti: “Yakuwa kennyini ajja kubalwanirira.”—Okuva 14:14.

2 Wadde kyali kityo, Musa yakaabirira Yakuwa, era Yakuwa n’amuddamu ng’agamba nti: “Lwaki onkaabirira? . . . kwata omuggo gwo ogolole omukono gwo ku nnyanja ogyawulemu.” (Okuva 14:15, 16) Kuba akafaananyi ng’olaba ebyaliwo. Yakuwa atuma malayika, era empagi y’ekire eyimirira emabega w’Abayisirayiri, oboolyawo ng’eringa ekisenge ekiziyiza Abamisiri okubalumba. (Okuva 14:19, 20; Zabbuli 105:39) Musa agolola omukono gwe. Embuyaga ey’amaanyi ekunta n’eyawulamu ennyanja. Amazzi geetuuma ne gayimirira ng’ebisenge eruuyi n’eruuyi, ne kisobozesa eggwanga lyonna okusomoka!—Okuva 14:21; 15:8.

3 Falaawo bwe yandirabye ekikolwa ekyo eky’amaanyi, yandibadde alagira amagye ge obutalumba. Naye mu kifo ky’ekyo, Falaawo ow’amalala alagira eggye lye okulumba. (Okuva 14:23) Abamisiri bawondera Abayisirayiri mu nnyanja, era wabaawo akavuyo ka maanyi nga nnamuziga ziva ku magaali g’Abamisiri. Ng’Abayisirayiri bamaze okutuuka emitala w’ennyanja, Yakuwa agamba Musa nti: “Golola omukono gwo ku nnyanja, amazzi gadde gabuutikire Abamisiri, n’amagaali gaabwe ag’olutalo, n’abasirikale baabwe abeebagala embalaasi.” Amazzi gakomawo ne gazikiriza Falaawo n’eggye lye.—Okuva 14:24-28; Zabbuli 136:15. 

4. (a) Yakuwa yeeraga kubeera ki ku Nnyanja Emmyufu? (b) Abamu bayinza kulowooza batya ku Yakuwa ng’ayitiddwa omulwanyi omuzira?

4 Okununulibwa kw’eggwanga lya Isirayiri ku Nnyanja Emmyufu kyali kintu kikulu nnyo mu byafaayo ku bikwata ku ngeri Katonda gye yakolaganamu n’abantu. Yakuwa yeeraga nga bw’ali ‘omulwanyi omuzira.’ (Okuva 15:3) Yakuwa okuyitibwa omulwanyi omuzira kikuleetera kumulowoozaako otya? Kyo kituufu nti, entalo zireetedde abantu obulumi n’obuyinike. Kyandiba nti engeri Katonda gy’akozesaamu amaanyi ge okuzikiriza ekutiisa butiisa mu kifo ky’okwagala okumufuula mukwano gwo?

Ku Nnyanja Emmyufu, Yakuwa yakiraga nti “Mulwanyi Muzira”

Entalo za Katonda bw’Ozigeraageranya n’ez’Abantu

5, 6. (a) Lwaki Katonda ayitibwa ‘Yakuwa ow’eggye’? (b) Entalo za Katonda zaawukana zitya ku z’abantu?

5 Emirundi nga 260 mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, ate era emirundi ebiri mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani, Katonda ayitibwa ‘Yakuwa ow’eggye.’ (1 Samwiri 1:11) Ng’Omufuzi w’Obutonde Bwonna, Yakuwa alina eggye eddene erya bamalayika. (Yoswa 5:13-15; 1 Bassekabaka 22:19) Eggye eryo lya maanyi nnyo. (Isaaya 37:36) Abantu bwe bazikirizibwa tekituleetera ssanyu. Kyokka kikulu okukijjukira nti entalo za Katonda teziringa za bantu. Bannabyabufuzi n’abakulu mu magye bayinza okubaako bye beekwasa nga batandikawo entalo. Naye entalo z’abantu zisibuka ku mululu n’okwerowoozaako.

6 Okwawukana ku ekyo, Yakuwa tamala gakola bintu awatali nsonga ntuufu. Ekyamateeka 32:4, lugamba nti: “Olwazi, by’akola bituukiridde, amakubo ge gonna ga bwenkanya. Katonda omwesigwa ataliimu butali bwenkanya; mutuukirivu era mwenkanya.” Ekigambo kya Katonda kivumirira obusungu, obukambwe, n’ettemu. (Olubereberye 49:7; Zabbuli 11:5) N’olwekyo, Yakuwa aba n’ensonga ku buli kimu ky’akola. Tamala gakozesa maanyi ge kuzikiriza, era bw’aba agakozesezza, aba talina kirala kyonna kya kukola okugonjoola ensonga. Okuyitira mu nnabbi Ezeekyeri, yagamba nti: “‘Ddala nsanyukira okufa kw’omubi?’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna. ‘Kye njagala si kwe kuba nti aleka ebikolwa bye asigale nga mulamu?’”—Ezeekyeri 18:23.

7, 8. (a) Kiki Yobu kye yali alowooza nti kye kyali kimuviiriddeko okubonaabona? (b) Eriku yatereeza atya endowooza ya Yobu? (c) Ebyo ebyatuuka ku Yobu bituyigiriza ki?

7 Kati olwo, lwaki Yakuwa akozesa amaanyi ge okuzikiriza? Nga tetunnaddamu kibuuzo ekyo, ka tulowooze ku Yobu, omusajja eyali omutuukirivu. Sitaani yagamba nti Yobu oba omuntu omulala yenna teyandisigadde nga mwesigwa eri Katonda ng’agezesebwa. Yakuwa yakkiriza Sitaani okugezesa obwesigwa bwa Yobu. N’ekyavaamu, Yobu yalwala, yafiirwa eby’obugagga bye, era n’abaana be. (Yobu 1:1–2:8) Olw’obutamanya nsonga zonna zizingirwamu, Yobu yalowooza nti Katonda yali amubonereza mu ngeri etali ya bwenkanya. Yabuuza Katonda ensonga lwaki yali ‘amubonereza,’ oba lwaki amutwala ‘ng’omulabe’ we.—Yobu 7:20; 13:24.

8 Omuvubuka eyali ayitibwa Eriku, yalaga nti endowooza ya Yobu yali nkyamu. Yabuuza Yobu nti: “Oli mukakafu ddala nti oli mutuufu n’otuuka n’okugamba nti, ‘Ndi mutuukirivu okusinga Katonda’?” (Yobu 35:2) Mazima ddala si kya magezi okulowooza nti ffe tusinga Katonda okumanya, oba nti alina ky’akoze ekitali kya bwenkanya. Eriku yagamba nti: “Tekiyinzika Katonda ow’amazima okukola ebintu ebibi, Omuyinza w’Ebintu Byonna okukola ekikyamu!” Ate era yagamba nti: “Omuyinza w’Ebintu Byonna tetuyinza kumutegeera, alina amaanyi mangi, byonna by’akola bulijjo biba bya bwenkanya era bya butuukirivu.” (Yobu 34:10; 36:22, 23; 37:23) Tuli bakakafu nti Katonda bw’alwana, aba n’ensonga ennungi. Nga tulina ekyo mu birowoozo, ka tulabe ensonga lwaki Katonda ow’emirembe emirundi egimu kimwetaagisa okulwana.—1 Abakkolinso 14:33.

Ensonga Lwaki Katonda ow’Emirembe Asalawo Okulwana

9. Lwaki Katonda omutukuvu alwana?

9 Oluvannyuma lw’okutendereza Katonda ‘ng’omulwanyi omuzira,’ Musa yagamba nti: “Ai Yakuwa, katonda ki alinga ggwe? Ani alinga ggwe asingayo obutukuvu?” (Okuva 15:11) Mu ngeri y’emu, nnabbi Kaabakuuku yagamba nti: “Amaaso go malongoofu nnyo, tegasobola kutunuulira bintu bibi, era tosobola kugumiikiriza bintu bibi.” (Kaabakuuku 1:13) Yakuwa, Katonda wa kwagala, ate era mutukuvu, mutuukirivu, era wa bwenkanya. Emirundi egimu, engeri ze ezo zimuwaliriza okukozesa amaanyi ge okuzikiriza. (Isaaya 59:15-19; Lukka 18:7) N’olwekyo, Katonda aba tasudde muguluka butukuvu bwe bw’alwana. Wabula, alwana kubanga mutukuvu.—Okuva 39:30.

10. Obulabe obwayogerwako mu Olubereberye 3:15 bulikoma ddi, era abantu abatuukirivu baliganyulwa batya?

10 Lowooza ku kyaliwo oluvannyuma lw’abantu ababiri abaasooka, Adamu ne Kaawa, okujeemera Katonda. (Olubereberye 3:1-6) Singa Yakuwa yabuusa amaaso obutali butuukirivu bwabwe, yandifeebezza ekifo kye ng’Omufuzi w’Obutonde Bwonna. Olw’okuba Katonda mutuukirivu, yalina okubasalira ogw’okufa. (Abaruumi 6:23) Mu bunnabbi bwa Bayibuli obwasooka, yalagula nti wandibaddewo obulabe wakati w’abaweereza be n’abagoberezi ‘b’omusota,’ Sitaani. (Okubikkulirwa 12:9; Olubereberye 3:15) Obulabe obwo bwandikomye nga Sitaani azikiriziddwa. (Abaruumi 16:20) Ekikolwa ekyo eky’okuzikiriza Sitaani kijja kuleetera abantu abatuukirivu emikisa mingi, Sitaani aggibwewo awamu n’ensi ye embi, era waddewo Olusuku lwa Katonda. (Matayo 19:28) Nga Sitaani tannaggibwawo, abo abamwegattako bajja kweyongera okuba ab’obulabe eri abantu ba Katonda mu by’omubiri ne mu by’omwoyo. Emirundi egimu, kiba kyetaagisa Yakuwa okuyingira mu nsonga z’abantu.

Katonda Abaako ky’Akola Okumalawo Ebintu Ebibi

11. Lwaki Katonda kyali kimwetaagisa okuleeta amataba?

11 Amataba g’omu kiseera kya Nuuwa kyakulabirako ekimu ekiraga nti Katonda ayingira mu nsonga z’abantu. Olubereberye 6:11, 12 wagamba nti: “Ensi yali eyonoonese mu maaso ga Katonda ow’amazima era ng’ejjudde ebikolwa eby’obukambwe. Katonda n’atunuulira ensi n’alaba ng’eyonoonese, kubanga abantu baali boonoonye nnyo ku nsi.” Katonda yandirese ababi okwonoonera ddala empisa z’abantu ku nsi? Nedda. Yakuwa yalaba nga kyali kyetaagisa okuleeta amataba mu nsi yonna okuzikiriza abo abaali benyigidde mu bikolwa eby’obukambwe n’eby’obugwenyufu.

12. (a) Yakuwa yalagula ki ku bikwata ku ‘zzadde’ lya Ibulayimu? (b) Lwaki Abaamoli baali bagenda kuzikirizibwa?

12 Era bwe kityo bwe kyali Yakuwa bwe yasalira Abakanani omusango. Yalaga nti mu Ibulayimu mwe mwandiyitidde ezzadde, era okuyitira mu zzadde eryo abantu bonna ku nsi bandiweereddwa omukisa. Okusobola okutuukiriza ekigendererwa ekyo, Katonda yagamba nti ezzadde lya Ibulayimu lyandiweereddwa ensi ya Kanani, ensi eyalimu abantu abayitibwa Abaamoli. Katonda yandibadde mutuufu okuggya abantu bano mu nsi yaabwe? Yakuwa yalagula nti okuggya abantu abo mu nsi yaabwe kyandibaddewo oluvannyuma lw’emyaka 400, ‘ng’okwonoona kw’Abaamoli ‘ kumaze ‘okutuuka ku kigero ekijjuvu.’b (Olubereberye 12:1-3; 13:14, 15; 15:13, 16; 22:18) Mu kiseera ekyo, empisa z’Abaamoli zeeyongera okwonooneka. Kanani yafuuka ensi omujjudde okusinza ebifaananyi, okuyiwa omusaayi, era n’ebikolwa eby’obugwenyufu. (Okuva 23:24; 34:12, 13; Okubala 33:52) Abantu b’omu nsi eyo baawangayo n’abaana baabwe nga ssaddaaka. Katonda omutukuvu yanditutte abantu be okubeera mu mbeera embi bw’etyo? Nedda! Yagamba nti: “Ensi efuuse etali nnongoofu, era nja kugibonereza olw’ensobi zaayo, era ejja kusesema abo abagibeeramu.” (Eby’Abaleevi 18:21-25) Kyokka Yakuwa teyamala gatta bantu. Abakanani ab’emitima emirungi, gamba nga Lakabu n’Abagibiyoni baawonyezebwawo.—Yoswa 6:25; 9:3-27.

Okulwanirira Erinnya Lye

13, 14. (a) Lwaki Yakuwa yalina okutukuza erinnya lye? (b) Yakuwa yaggya atya ekivume ku linnya lye?

13 Okuva Yakuwa bw’ali omutukuvu, n’erinnya lye ttukuvu. (Eby’Abaleevi 22:32) Yesu yayigiriza abagoberezi be okusaba nti: “Erinnya lyo litukuzibwe.” (Matayo 6:9) Obujeemu obwaliwo mu Edeni bwasiiga enziro erinnya lya Katonda, ne kireetawo okubuusabuusa ku ngeri gy’afugamu. Yakuwa yali tayinza n’akamu kubuusa maaso bulimba n’obujeemu obwo. Yalina okuggya ekivume ku linnya lye.—Isaaya 48:11.

14 Ate era lowooza ku Bayisirayiri. Bwe bandisigadde nga baddu mu Misiri, ekyo Katonda kye yasuubiza Ibulayimu nti okuyitira mu zzadde lye amawanga gonna gandiweereddwa omukisa, tekyandibadde na makulu. Naye Yakuwa bwe yabanunula n’abafuula eggwanga, yaggya ekivume ku linnya lye. Nnabbi Danyeri yasaba Katonda we ng’agamba nti: “Ai Yakuwa Katonda waffe, ggwe eyaggya abantu bo mu nsi ya Misiri n’omukono ogw’amaanyi ne weekolera erinnya.”—Danyeri 9:15.

15. Lwaki Yakuwa yanunula Abayudaaya abaali mu buddu mu Babulooni?

15 Danyeri yasaba bw’atyo mu kiseera Abayudaaya bwe baali beetaaga Yakuwa okubaako ky’akolawo omulundi omulala ku lw’erinnya lye. Abayudaaya abajeemu baali mu buddu, ku luno mu Babulooni. Yerusaalemi ekibuga kyabwe ekikulu, kyali matongo. Danyeri yali akimanyi nti okuzzaayo Abayudaaya ku butaka kyandigulumizza erinnya lya Yakuwa. N’olwekyo, Danyeri yasaba nti: “Ai Yakuwa. Tuwulire era otuyambe, Ai Yakuwa! Ai Katonda wange, tolwa ku lw’erinnya lyo, kubanga ekibuga kyo n’abantu bo biyitibwa erinnya lyo.”—Danyeri 9:18, 19.

Okulwanirira Abantu Be

16. Nnyonnyola ensonga lwaki Yakuwa bw’alwanirira erinnya lye kiba tekitegeeza nti yeefaako yekka.

16 Yakuwa okwagala okuggya ekivume ku linnya lye kitegeeza nti yeerowoozaako yekka? Nedda. Kiraga nti akuuma abantu bw’akola ebintu ebituukagana n’obutukuvu bwe era n’obwenkanya bwe. Lowooza ku Olubereberye essuula 14. Mu ssuula eyo tusoma ku bakabaka bana abaawamba Lutti, omwana wa muganda wa Ibulayimu, awamu n’ab’omu maka ga Lutti. Ng’ayambibwako Katonda, Ibulayimu yawangula eggye eryo eryali ery’amaanyi ennyo! Obuwanguzi buno kirabika bwe bwasooka okuwandiikibwa mu ‘kitabo ky’Entalo za Yakuwa,’ era kirabika ekitabo ekyo kyalimu entalo ezimu ezitaayogerwako mu Bayibuli. (Okubala 21:14) Obuwanguzi obulala bungi bwandiddiridde.

17. Kiki ekiraga nti Yakuwa yalwanirira Abayisirayiri oluvannyuma lw’okuyingira mu nsi ya Kanani? Waayo ebyokulabirako.

17 Ng’Abayisirayiri banaatera okuyingira mu Kanani, Musa yabagamba nti: “Yakuwa Katonda wammwe ajja kubakulembera, era ajja kubalwanirira nga bwe yakola e Misiri nga mulaba.” (Ekyamateeka 1:30; 20:1) Mazima ddala okuva mu kiseera kya Yoswa, eyaddira Musa mu bigere, n’okweyongerayo mu biseera by’Abalamuzi ne bakabaka ba Yuda abeesigwa, Yakuwa yalwanirira abantu be n’abasobozesa okuwangula abalabe baabwe bangi.—Yoswa 10:1-14; Ekyabalamuzi 4:12-17; 2 Samwiri 5:17-21.

18. (a) Lwaki twandisanyuse nti Yakuwa takyukakyuka? (b) Kiki ekinaabaawo ng’obulabe obwogerwako mu Olubereberye 3:15 butuuse ku ntikko yaabwo?

18 Yakuwa takyukanga era n’ekigendererwa kye eky’okufuula ensi eno olusuku lwe tekikyukanga. (Olubereberye 1:27, 28) Ate era Katonda akyawa ebintu ebibi. Mu kiseera kye kimu, ayagala nnyo abantu be era mangu ddala ajja kubaako ky’akolawo ku lwabwe. (Zabbuli 11:7) Mu butuufu, obulabe obwogerwako mu Olubereberye 3:15 busuubirwa okutuuka ku ntikko yaabwo mu maaso awo. Okusobola okutukuza erinnya lye n’okukuuma abantu be, Yakuwa ajja kuddamu okubeera ‘omulwanyi omuzira’!—Zekkaliya 14:3; Okubikkulirwa 16:14, 16.

19. (a) Waayo ekyokulabirako ekiraga nti Katonda okukozesa amaanyi ge ag’okuzikiriza kituleetera okweyongera okumwagala. (b) Okuba nti Katonda mwetegefu okutulwanirira kyandituleetedde kuwulira tutya?

19 Lowooza ku kyokulabirako kino: Teeberezaamu ng’amaka g’omusajja omu galumbiddwa ensolo enkambwe era omusajja oyo n’alwanyisa ensolo eyo n’agitta. Olowooza nti mukyala we n’abaana bandyesisiwadde olw’ekikolwa ekyo? Nedda, basanyuka nnyo olw’ekikolwa ekyo eky’okwagala. Mu ngeri y’emu, naffe tetwandyesisiwadde olw’engeri Katonda gy’akozesaamu amaanyi ge okuzikiriza. Okuba nti mwetegefu okutulwanirira kyandituleetedde okweyongera okumwagala, era ne tweyongera okumussaamu ekitiibwa olw’amaanyi ge agatakoma. Mu ngeri eyo, tuyinza “okuweereza Katonda mu buweereza obutukuvu, nga tumutya era nga tumuwa ekitiibwa.”—Abebbulaniya 12:28.

Funa Enkolagana Ennungi ‘n’Omulwanyi Omuzira’

20. Bwe tusoma ebikwata ku ntalo za Yakuwa mu Bayibuli naye ne tutabitegeera mu bujjuvu, twandikoze ki, era lwaki?

20 Kya lwatu, Bayibuli tennyonnyola kalonda yenna akwata ku ntalo za Yakuwa. Naye tulina okubeera bakakafu ku nsonga eno: Yakuwa takozesa maanyi ge okuzikiriza mu ngeri etali ya bwenkanya, ey’ettima, oba ey’obukambwe. Emirundi mingi, bwe twekenneenya byonna ebikwata ku nsonga emu eyogerwako mu Bayibuli, kituyamba okufuna ekifaananyi ekituufu. (Engero 18:13) Ne bwe tuba nga tetumanyi kalonda yenna agikwatako, okumanya ebisingawo ku Yakuwa n’okufumiitiriza ku ngeri ze ez’ekitalo kiyinza okutuyamba okuvvuunuka okubuusabuusa kwonna okuyinza okujjawo. Bwe tukola bwe tutyo, tukiraba nti tulina ensonga nnyingi nnyo okwesiga Katonda waffe, Yakuwa.—Yobu 34:12.

21. Wadde ng’ebiseera ebimu Yakuwa aba ‘mulwanyi omuzira,’ ekyo tekitegeeza ki?

21 Wadde nga Yakuwa abeera ‘mulwanyi muzira’ we kyetaagisiza, ekyo tekitegeeza nti awakula entalo. Mu kwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna okukwata ku ggaali ery’omu ggulu, Yakuwa ayogerwako ng’omwetegefu okulwanyisa abalabe be. Ate era Ezeekyeri yalaba Katonda nga yeetooloddwa musoke, akabonero akooleka emirembe. (Olubereberye 9:13; Ezeekyeri 1:28; Okubikkulirwa 4:3) N’olwekyo, Yakuwa mukkakkamu era wa mirembe. “Katonda kwagala,” bw’atyo omutume Yokaana bwe yawandiika. (1 Yokaana 4:8) Yakuwa ayolesa engeri ze zonna wamu awatali kugwa lubege. Nga tulina enkizo ya maanyi okufuna enkolagana ennungi ne Katonda ng’oyo ow’amaanyi, ate ng’alina okwagala!

a Okusinziira ku Josephus, munnabyafaayo Omuyudaaya, Abebbulaniya “baawonderwa amagaali g’entalo 600, abeebagazi b’embalaasi 50,000 awamu n’abaserikale abatambuza ebigere abawerera ddala 200,000.”—Jewish Antiquities, II, 324 [xv, 3].

b Wano ekigambo “Abaamoli” kirabika kizingiramu abantu bonna ab’omu Kanani.—Ekyamateeka 1:6-8, 19-21, 27; Yoswa 24:15, 18.

Ebibuuzo eby’Okufumiitirizaako

  • 2 Bassekabaka 6:8-17 Okuba nti Katonda ayitibwa ‘Yakuwa ow’eggye,’ kituzzaamu kitya amaanyi nga tuli mu buyinike?

  • Ezeekyeri 33:10-20 Nga tannasalawo kukozesa maanyi ge okuzikiriza, mukisa ki Yakuwa gw’awa abo abamenya amateeka ge?

  • 2 Abassessalonika 1:6-10 Okuzikirizibwa kw’abantu ababi okw’omu biseera eby’omu maaso, kunaaleetera kutya abaweereza ba Katonda obuweerero?

  • 2 Peetero 2:4-13 Kiki ekireetera Yakuwa okukozesa amaanyi ge okuzikiriza, era ekyo abantu bonna bayinza kukiyigirako ki?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share