Ekigambo kya Yakuwa Tekiremererwa
“Tewali kigambo kimu ekitatuuse mu birungi byonna Mukama Katonda wammwe bye yaboogerako; byonna bibatuukidde.”—YOSWA 23:14.
1. Yoswa yali ani, era kiki kye yakola ng’anaatera okufa?
YALI muduumizi w’amagye ow’amaanyi era atatya, era ng’alina okukkiriza okw’amaanyi n’obwesigwa. Yayitanga ne Musa era Yakuwa kennyini gwe yalonda okuggya Abaisiraeri mu ddungu ery’entiisa okubatuusa mu nsi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki. Ng’anaatera okufa, omusajja ono, Yoswa, eyali assibwamu ennyo ekitiibwa, yayogera eri abakadde ba Isiraeri ebigambo ebyabatuuka ku mitima. Awatali kubuusabuusa, ebigambo bye byanyweza nnyo okukkiriza kw’abo abaamuwuliriza. Naawe biyinza okukunyweza mu ngeri y’emu.
2, 3. Yoswa we yayogerera n’abakadde ba Isiraeri, embeera mu Isiraeri yali etya, era Yoswa yayogera ki?
2 Kuba akafaananyi ku ekyo Baibuli ky’egamba: “Ennaku nnyingi bwe zaayita Mukama bwe yawummuza Abaisiraeri mu balabe baabwe bonna abaabeetooloola, era Yoswa ng’akaddiye ng’amaze emyaka mingi; Yoswa n’alyoka abayita Abaisiraeri bonna, abakadde baabwe n’emitwe gyabwe, n’abalamuzi baabwe n’abaami baabwe, n’abagamba nti Nze nkaddiye, mmaze emyaka mingi.”—Yoswa 23:1, 2.
3 Yoswa eyali anaatera okuweza emyaka 110, yaliwo mu kimu ku biseera ebyasingayo okuba eby’ebyafaayo mu bantu ba Katonda. Yali yeerabirako n’agage ku bikolwa bya Katonda eby’amaanyi, era yali alabye bingi ku bisuubizo bya Yakuwa nga bituukirira. N’olwekyo, yali mukakafu ku ekyo kye yali ayogerako bwe yagamba nti: “Nammwe mumanyi mu mitima gyammwe gyonna ne mu mmeeme zammwe zonna, nga tewali kigambo kimu ekitatuuse mu birungi byonna Mukama Katonda wammwe bye yaboogerako; byonna bibatuukidde, tewali na kimu mu ebyo kitatuuse.”—Yoswa 23:14.
4. Bintu ki Yakuwa bye yasuubiza Abaisiraeri?
4 Bigambo ki Yakuwa bye yayogera ebyali bituukiridde mu kiseera ky’obulamu bwa Yoswa? Tugenda kwetegerezaayo ebintu bisatu Yakuwa bye yasuubiza Abaisiraeri. Ekisooka, Katonda yali wa kubanunula okuva mu buddu. Eky’okubiri, yandibakuumye. Eky’okusatu, yandibalabiridde. Yakuwa asuubizza abantu be ab’omu kiseera kyaffe ebintu bye bimu, era tubirabye nga bituukirira. Kyokka nga tetunnaba kwekenneenya ebyo Yakuwa by’akoze mu kiseera kyaffe, ka tusooke tulabe ebyo bye yakola mu kiseera kya Yoswa.
Yakuwa Anunula Abantu Be
5, 6. Yakuwa yanunula atya Abaisiraeri okuva e Misiri, era ekyo kyalaga ki?
5 Abaisiraeri bwe baakaabira Katonda olw’okunyigirizibwa kwe baalimu mu buddu e Misiri, Yakuwa yawulira okukaaba kwabwe. (Okuva 2:23-25) Mu kisaka ekyali kyaka omuliro, Yakuwa yagamba Musa nti: “Nzise [okuwonya abantu bange] mu mukono ogw’Abamisiri, okubalinnyisa okuva mu nsi eri bayingire mu nsi ennene engazi, mu nsi ejjudde amata n’omubisi gw’enjuki.” (Okuva 3:8) Nga kiteekwa okuba nga kyali kya ssanyu okulaba nga Yakuwa atuukiriza ekyo! Falaawo bwe yagaana Abaisiraeri okuva mu Misiri, Musa yamugamba nti Katonda yandifudde amazzi g’Omugga Kiyira omusaayi. Ekigambo kya Yakuwa tekyalemererwa. Amazzi g’Omugga Kiyira gaafuuka omusaayi. Ebyennyanja byafa, era kyali tekisoboka kunywa mazzi ga mugga ogwo. (Okuva 7:14-21) Kyokka, Falaawo yasigala mukakanyavu. Yakuwa yaleeta ebibonyoobonyo ebirala mwenda, ng’asooka kunnyonnyola buli kimu bwe kyandibadde. (Okuva, essuula 8-12) Oluvannyuma lw’ekibonyoobonyo eky’ekkumi okutta abaana ababereberye n’ebibereberye eby’ebisolo mu Misiri, Falaawo yalagira Abaisiraeri bagende—era bwe kityo bwe kyali!—Okuva 12:29-32.
6 Yakuwa bwe yamala okununula Abaisiraeri, yabafuula eggwanga lye eddonde. Kino kyagulumiza Yakuwa ng’Oyo Atuukiriza ebisuubizo bye. Kyalaga nti Yakuwa asukkiridde nnyo ku bakatonda b’amawanga. Okusoma ku ebyo ebikwata ku kununulibwa okwo, kunyweza okukkiriza kwaffe. Teeberezaamu bwe wandiwulidde singa waliyo! Yoswa yakiraba nti mazima ddala Yakuwa ‘ali Waggulu Ennyo ng’afuga nsi yonna.’—Zabbuli 83:18.
Yakuwa Akuuma Abantu Be
7. Yakuwa yakuuma atya Abaisiraeri eri eggye lya Falaawo?
7 Ate kiri kitya ku kisuubizo eky’okubiri nti Yakuwa yandikuumye abantu be? Kino kyali kizingirwa mu kisuubizo kya Yakuwa nti yandibanunudde okuva mu Misiri era n’abayingiza mu Nsi Ensuubize. Jjukira nti Falaawo mu busungu obungi yawondera Abaisiraeri n’eggye lye ery’amaanyi, nga lirina ebikumi n’ebikumi by’amagaali. Ng’omusajja oyo ow’amalala ateekwa okuba nga yali mukakafu nti Abaisiraeri tebaalina buddukiro, naddala bwe baalabika ng’abaali bazingiziddwa wakati w’ensozi n’ennyanja! Kyokka, mu kaseera ako Katonda yateekawo ekire okukugira Abamisiri okukola akabi ku bantu be. Ku ludda lw’Abamisiri waaliyo kizikiza; ate ku lw’Abaisiraeri waaliyo kitangaala. Ng’ekizikiza kiremesezza Abamisiri okweyongera mu maaso, Musa yagolola omugo gwe ku Nnyanja Emmyufu amazzi ne geeyawulamu, ne kisobozesa Abaisiraeri okusomoka ate bo Abamisiri ne gababuutikira. Yakuwa yazikiririza ddala eggye lya Falaawo ery’amaanyi, n’akuuma abantu Be obutasaanyizibwawo.—Okuva 14:19-28.
8. Bukuumi ki Abaisiraeri bwe baafuna (a) nga bali mu ddungu era (b) ne bwe baali nga bayingidde mu Nsi Ensuubize?
8 Oluvannyuma lw’okusomoka Ennyanja Emmyufu, Abaisiraeri baatambula mu nsi eyogerwako ‘ng’eddungu eddene era ery’entiisa, omwali emisota n’enjaba eby’obusagwa, n’ettaka eryali lirumwa ennyonta awataali mazzi.’ (Ekyamateeka 8:15) Ne bwe baali mu ddungu Yakuwa yabakuuma. Ate kyali kitya nga baayingidde mu Nsi Ensuubize? Amaggye g’Abakanani ag’amaanyi gaabaziyiza. Kyokka, Yakuwa yagamba Yoswa nti: “Golokoka, osomoke omugga guno Yoludaani, ggwe, n’abantu bano bonna, muyingire mu nsi gye mbawa bo, abaana ba Isiraeri. Tewalibeera muntu yenna aliyinza okuyimirira mu maaso go ennaku zonna ez’obulamu bwo: nga bwe nnabeeranga ne Musa, bwe ntyo bwe nnaabeeranga naawe: siikwabulirenga so siikulekenga.” (Yoswa 1:2, 5) Ebigambo bya Yakuwa ebyo tebyalemererwa. Mu myaka nga mukaaga, Yoswa yawangula bakabaka 31 era n’awamba ekitundu kinene eky’Ensi Ensuubize. (Yoswa 12:7-24) Ekyo tekyandisobose awatali buyambi bwa Yakuwa.
Yakuwa Alabirira Abantu Be
9, 10. Yakuwa yalabirira atya abantu be mu ddungu?
9 Kati lowooza ku kisuubizo eky’okusatu nti Yakuwa yandirabiridde abantu be. Amangu ddala nga baakanunulibwa okuva e Misiri, Katonda yasuubiza Abaisiraeri nti: “Nditonnyesa emmere okuva mu ggulu ku lwammwe; n’abantu balifuluma okukuŋŋaanya ekitundu eky’olunaku buli lunaku.” Nga bwe yasuubiza, Katonda yabawa ‘emmere eyo okuva mu ggulu.’ “Abaana ba Isiraeri bwe baakiraba ne bagambagana bokka na bokka nti Kiki kino?” Yali mmaanu, emmere Yakuwa gye yali abasuubiza.—Okuva 16:4, 13-15.
10 Yakuwa yalabirira Abaisiraeri mu ddungu okumala emyaka 40, ng’abawa emmere n’amazzi. Era yakakasa nti ebyambalo byabwe tebiyulika era n’ebigere byabwe tebizimba. (Ekyamateeka 8:3, 4) Bino byonna Yoswa yabirabako. Yakuwa yanunula, yakuuma, era n’alabirira abantu be, nga bwe yali asuubizza.
Okununulibwa mu Kiseera Kyaffe
11. Kiki akyaliwo mu Brooklyn, New York, mu 1914, era kiseera ki ekyali kituuse?
11 Ate kiri kitya mu kiseera kyaffe? Ku lw’Okutaano ku makya, nga Okitobba 2, 1914, Charles Taze Russell, mu kiseera ekyo eyali atwala obukulembeze mu Bayizi ba Baibuli, yayingira mu kisenge omuliirwanga emmere ku Beseri mu Brooklyn, New York. Nga yenna musanyufu yagamba nti: “Mwasuze mutya nno.” Nga tannatuula yalangirira n’essanyu nti: “Ebiseera by’Ab’amawanga biweddeko; obufuzi bwa bakabaka baabwe bukomye.” Nate ekiseera kyali kituuse Yakuwa, Omufuzi w’obutonde bwonna, okuyamba abantu be. Era bw’atyo bwe yakola!
12. Kununulibwa ki okwaliwo mu 1919, era kwavaamu birungi ki?
12 Oluvannyuma lw’emyaka etaano gyokka, Yakuwa yanunula abantu be okuva mu ‘Babulooni Ekinene,’ amadiini ag’obulimba mu nsi yonna. (Okubikkulirwa 18:2) Batono ku ffe abaalaba ku kununulibwa okwo okwali okw’essanyu. Naye, tulaba bulungi ebyavaamu. Yakuwa yazzaawo okusinza okulongoofu era n’agatta wamu abo abaali baagala ennyo okumusinza. Kino kyali kyalagulwa okuyitira mu nnabbi Isaaya nti: “Olulituuka mu nnaku ez’oluvannyuma, olusozi olw’ennyumba ya Mukama lulinywezebwa ku ntikko y’ensozi era luligulumizibwa okukira ensozi; era amawanga gonna galikulukutira ku lwo.”—Isaaya 2:2.
13. Kweyongerayongera ki kw’olabye mu bantu ba Yakuwa?
13 Ebigambo bya Isaaya byatuukirira. Mu 1919 ensigalira y’abaafukibwako amafuta baatandika kaweefube ow’okuwa obujulirwa mu nsi yonna ekintu ekyagulumiza okusinza kwa Katonda ow’amazima. Mu myaka gya 1930, kyeyoleka bulungi nti ‘ab’endiga endala’ baali bakuŋŋaanyizibwa okwenyigira mu kusinza okulongoofu. (Yokaana 10:16) Baasooka kuba mu nkumi, mitwalo, naye kati bali bukadde abawagira okusinza okulongoofu! Mu kwolesebwa okwaweebwa omutume Yokaana, boogerwako ‘ng’ekibiina kinene, omuntu yenna ky’atayinza kubala, okuva mu buli ggwanga n’ebika n’abantu n’ennimi.’ (Okubikkulirwa 7:9) Kiki ky’olabye mu kiseera kyo? Abajulirwa ba Yakuwa baali bameka mu nsi yonna we watandikira okuyiga amazima? Leero, abo abaweereza Yakuwa basukka mu 6,700,000. Bwe yanunula abantu be okuva mu Babulooni Ekinene, Yakuwa yasobozesa abasinza be okweyongera obungi mu nsi yonna.
14. Kununulibwa ki okujja okubaawo?
14 Ate era wajja kubaawo okununulibwa okulala—nga kuno kujja kukwata ku buli omu ku nsi. Ng’ayoleka amaanyi ag’ensusso, Yakuwa ajja kuggyawo bonna abamuwakanya, era anunule abantu be abatuuse mu nsi empya obutuukirivu mwe bulituula. Nga kiriba kya ssanyu nnyo okulaba obubi nga buweddewo era ng’omulembe ogukyasinzeeyo obulungi mu byafaayo by’omuntu byonna gutandika!—Okubikkulirwa 21:1-4.
Obukuumi bwa Yakuwa mu Kiseera Kyaffe
15. Lwaki obukuumi bwa Yakuwa bwetaagisa mu kiseera kyaffe?
15 Nga bwe tulabye, Abaisiraeri mu kiseera kya Yoswa baali beetaaga obukuumi bwa Yakuwa. Abaweereza ba Yakuwa ab’omu kiseera kyaffe bo ba njawulo? N’akatono! Yesu yalabula abagoberezi be: “[Abantu] balibawaayo mmwe mubonyebonyezebwe, balibatta: nammwe mulikyayibwa amawanga gonna okubalanga erinnya lyange.” (Matayo 24:9) Okumala emyaka, Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi nnyingi bagumidde okuziyizibwa n’okuyigganyizibwa okw’amaanyi. Naye, kyeyoleka bulungi nti Yakuwa abadde wamu n’abantu be. (Abaruumi 8:31) Ekigambo kye kitukakasa nti tewali na kimu—‘newakubadde eky’okulwanyisa kye baliweesa okulwana naffe’—ekijja okuyimiriza omulimu gwaffe ogw’okubuulira Obwakabaka n’okuyigiriza abalala.—Isaaya 54:17.
16. Bukakafu ki bw’olina obulaga nti Yakuwa akuuma bantu be?
16 Wadde ng’ensi ebakyaye ennyo, abantu ba Yakuwa beeyongedde kukulaakulana. Omuwendo gw’Abajulirwa ba Yakuwa gweyongera bweyongezi kulinnya mu nsi 236—ekikakasa nti ddala Yakuwa ali wamu naffe okutukuuma eri abo abaagala okutusaanyawo oba okutulemesa okubuulira. Ojjukirayo amannya g’abafuzi ab’amaanyi oba abakulu b’amadiini ab’omu kiseera kyo abaaziyiza ennyo abantu ba Katonda? Kiki ekyabatuukako? Kati bali ludda wa? Okufaananako Falaawo mu kiseera kya Musa ne Yoswa, abasinga bavuddewo. Naye kiri kitya eri abaweereza ba Katonda ab’omu kiseera kyaffe abafudde nga beesigwa? Yakuwa abakuumira mu birowoozo bye. Teri kifo kya bukuumi kisinga ekyo. Kya lwatu, Yakuwa atuukirizza ekisuubizo kye eky’okukuuma abantu be.
Yakuwa Alabirira Abantu Be Leero
17. Yakuwa yasuubiza ki ku bikwata ku mmere ey’eby’omwoyo?
17 Yakuwa yalabirira abantu be mu ddungu, era abalabirira leero. ‘Omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ atuliisa mu by’omwoyo. (Matayo 24:45) Tufuna okumanya okutuufu okukwata ku Katonda okwali kwakwekebwa okumala ebyasa by’emyaka. Malayika yagamba Danyeri nti: “Bikka ku bigambo, osse akabonero ku kitabo, okutuusa ekiseera eky’enkomerero: bangi abaliddiŋŋana embiro, n’okumanya kulyeyongera.”—Danyeri 12:4.
18. Lwaki kiyinza okugambibwa nti okumanya okutuufu kweyongedde nnyo leero?
18 Kaakano tuli mu kiseera eky’enkomerero, era mazima ddala okumanya okutuufu kweyongedde nnyo. Okwetooloola ensi, omwoyo omutukuvu guyambye abo abaagala amazima okumanya Katonda ow’amazima n’ebigendererwa bye. Baibuli n’ebitabo ebiyamba abantu okuteegera amazima ag’omuwendo agagirimu weebiri mu bungi mu nsi. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku biri mu katabo Kiki Ddala Baibuli ky’Eyigiriza?a Ezimu ku ssuula ezirimu ze zino: “Amazima Agakwata ku Katonda ge Galuwa?,” “Abafu Bali Ludda Wa?,” “Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?,” ne “Lwaki Katonda Aleseewo Okubonaabona?” Abantu babadde beebuuza ebibuuzo ng’ebyo okumala enkumi z’emyaka. Naye kati basobola okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo. Wadde ng’okumala ebyasa by’emyaka wabaddewo enjigiriza za bakyewaggula ba Kristendomu era ng’abantu babadde mu butamanya, Ekigambo kya Katonda kisobodde okuyamba abo bonna abaagala ennyo okuweereza Yakuwa okumumanya.
19. Bisuubizo ki by’olabye nga bituukirira, era ekyo kikuleetedde kugamba ki?
19 Mazima ddala okusinziira ku bye tulabye n’amaaso gaffe, tuyinza okugamba nti: “Tewali kigambo kimu ekitatuuse mu birungi byonna Mukama Katonda wammwe bye yaboogerako; byonna bibatuukidde, tewali na kimu mu ebyo kitatuuse.” (Yoswa 23:14) Yakuwa anunula, akuuma, era alabirira abaweereza be. Oyinza okunokolayo ekisuubizo kye kyonna ekyalema okutuukirira mu kiseera kye ekigereke? Tosobola n’akatono. Kya magezi okwesiga Ekigambo kya Katonda.
20. Lwaki tusobola okwesunga ebiseera eby’omu maaso?
20 Kiri kitya ku biseera eby’omu maaso? Yakuwa atusuubiza nti abasinga obungi ku ffe tujja kubeera mu nsi efuuliddwa olusuku lwa Katonda olusanyusa. Abamu ku ffe balina essuubi ery’okufugira awamu ne Kristo mu ggulu. Naye ka tube nga tulina ssuubi ki, tulina ensonga entuufu okukuuma okukkiriza kwaffe nga kunywevu nga Yoswa. Olunaku lujja kutuuka essuubi lyaffe lituukirire. Olwo nno tulijjukira ebisuubizo bya Yakuwa byonna, ne tugamba nti: ‘Byonna bituukiridde.’
[Obugambo obuli wansi]
a Kaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
Osobola Okunnyonnyola?
• Bisuubizo ki ebya Yakuwa Yoswa bye yalaba nga bituukirira?
• Bisuubizo ki ebya Katonda by’olabye nga bituukirira?
• Tuli bakakafu ku ki ku bikwata ku kigambo kya Katonda?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]
Yakuwa yanunula abantu be
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]
Yakuwa yakuuma atya abantu be nga batuuse ku Nnyanja Emmyufu?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]
Yakuwa yalabirira atya abantu be mu ddungu?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 25]
Yakuwa alabirira abantu be leero