LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lfb essomo 29 lup. 74-lup. 75 kat. 2
  • Yakuwa Yalonda Yoswa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yakuwa Yalonda Yoswa
  • Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Similar Material
  • Yoswa Afuuka Omukulembeze
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Yoswa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Okusomoka Omugga Yoludaani
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Ekigambo kya Yakuwa Tekiremererwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
lfb essomo 29 lup. 74-lup. 75 kat. 2
Bakabona nga bayita mu Mugga Yoludaani nga beetisse ssanduuko y’endagaano

ESSOMO 29

Yakuwa Yalonda Yoswa

Yoswa ng’asoma Amateeka

Musa yakulembera Abayisirayiri okumala emyaka mingi era kati yali anaatera okufa. Yakuwa yamugamba nti: ‘Si ggwe ajja okuyingiza Abayisirayiri mu Nsi Ensuubize. Naye nja kukukkiriza okulengera ensi eyo.’ Musa yasaba Yakuwa alonde omukulembeze omulala akulembere Abayisirayiri. Yakuwa yamugamba nti: ‘Genda eri Yoswa omugambe nti y’ajja okuyingiza Abayisirayiri mu Nsi Ensuubize.’

Musa yagamba abantu b’eggwanga lya Isirayiri nti mu kiseera ekitali kya wala yali agenda kufa era nti Yakuwa yali alonze Yoswa okubakulembera abatuuse mu Nsi Ensuubize. Era Musa yagamba Yoswa nti: ‘Totya. Yakuwa ajja kukuyamba.’ Oluvannyuma, Musa yagenda ku ntikko y’Olusozi Nebo, Yakuwa n’amulaga ensi gye yasuubiza Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo. Musa yafa nga wa myaka 120.

Musa ng’akwasa Yoswa obuvunaanyizibwa mu maaso ga bakabona n’abasajja abalala

Yakuwa yagamba Yoswa nti: ‘Musomoke Omugga Yoludaani muyingire mu nsi ya Kanani. Nja kukuyamba nga bwe nnayamba Musa. Fuba okulaba nti osoma Amateeka gange buli lunaku. Totya. Ba muvumu. Kola ebyo bye nkulagidde okukola.’

Yoswa yatuma abakessi babiri bakette ekibuga Yeriko. Mu kitundu ekiddako, tujja kulaba ebyo ebyaliwo nga bagenze okuketta. Abakessi abo bwe baakomawo, baagamba nti kyali kiseera kituufu okuyingira mu nsi ya Kanani. Ku lunaku olwaddako, Yoswa yagamba Abayisirayiri beetegeke okuyingira mu Kanani. Oluvannyuma yagamba bakabona abaali basitudde ssanduuko y’endagaano bakulemberemu Abayisirayiri nga bagenda okusomoka Omugga Yoludaani. Omugga ogwo gwali gwanjadde. Amangu ddala nga bakabona balinnye mu mazzi g’omugga ogwo, amazzi gaalekera awo okukulukuta era ne gakalira! Bakabona baatambula ne batuuka wakati w’omugga ne bayimirira awo okutuusa Abayisirayiri bonna lwe baasomoka omugga. Ekyamagero ekyo kiteekwa okuba nga kyabajjukiza ekyamagero Yakuwa kye yakola ku Nnyanja Emmyufu.

Kyaddaaki Abayisirayiri baatuuka mu Nsi Ensuubize. Kati baali basobola okuzimba amayumba n’okuzimba ebibuga. Baali basobola okulima emmere n’okusimba ebibala. Ensi eyo yali nsi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.

“Yakuwa ajja kubakulemberanga ekiseera kyonna era ajja kubakkusa ne mu nsi enkalu.”​—Isaaya 58:11

Ebibuuzo: Ani yakulembera Abayisirayiri nga Musa amaze okufa? Kiki ekyaliwo ku Mugga Yoludaani?

Okubala 27:12-23; Ekyamateeka 31:1-8; 34:1-12; Yoswa 1:1–3:17

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share