ESSUULA 12
“Katonda Si Mwenkanya?”
1. Ebikolwa ebitali bya bwenkanya bituyisa bitya?
SSENTE zonna nnamwandu akaddiye z’azze atereka bazikumpanyizza. Maama asuula omwana we omuwere. Omusajja asibibwa olw’omusango gw’atazza. Ebintu ng’ebyo obitwala otya? Kyandiba nti buli kimu kikuyisa bubi, era ekyo tekyewuunyisa. Ffe abantu twagala okulaba ng’ekituufu kikolebwa. Bwe wabaawo ekikolwa ekitali kya bwenkanya, tuwulira bubi. Tuba twagala azziddwako omusango aliyirirwe, ate azizza omusango abonerezebwe. Kino bwe kitabaawo tuyinza okwebuuza nti: ‘Katonda alaba ekigenda mu maaso? Lwaki talina ky’akolawo?’
2. Kaabakuuku yakola ki bwe yalaba obutali bwenkanya, era lwaki Yakuwa teyamunenya?
2 Mu byafaayo byonna, abaweereza ba Yakuwa abeesigwa babuuzizza ebibuuzo ebifaananako n’ebyo. Ng’ekyokulabirako, nnabbi Kaabakuuku yabuuza Katonda nti: “Lwaki ondeka okulaba obutali bwenkanya ng’obwo? Lwaki okkiriza ebikolwa eby’obukambwe, obumenyi bw’amateeka, n’ettemu okubuna buli wamu?” (Kaabakuuku 1:3, Contemporary English Version) Yakuwa teyanenya Kaabakuuku olw’okubuuza ebibuuzo ebyo, kubanga ye yatonda abantu nga baagala obwenkanya. Mu butuufu, Yakuwa yatuwa obusobozi bw’okwoleka obwenkanya ku kigero ekisaamusaamu.
Yakuwa Akyawa Obutali Bwenkanya
3. Lwaki kiyinza okugambibwa nti Yakuwa amanyi ebikwata ku bintu ebitali bya bwenkanya okutusinga?
3 Yakuwa alaba ebintu ebitali bya bwenkanya abantu bye bakola. Bayibuli eyogera bw’eti ku kiseera kya Nuuwa: “Yakuwa n’alaba ng’ebikolwa by’omuntu ebibi biyitiridde mu nsi era nga n’ebirowoozo byonna eby’omu mutima gwe bibi ekiseera kyonna.” (Olubereberye 6:5) Lowooza ku makulu g’ebigambo ebyo. Emirundi mingi, engeri gye tutunuuliramu obutali bwenkanya eba yeesigamye ku bintu ebimu ebitonotono bye tuba tuwulidde oba ebiba bitutuuseeko. Okwawukana ku ekyo, Yakuwa amanyi obutali bwenkanya obuliwo mu nsi yonna. Bwonna abulaba! Ate era amanyi ebiri mu mutima, kwe kugamba, ebirowoozo ebibi ebiri emabega w’ebikolwa byonna ebitali bya bwenkanya.—Yeremiya 17:10.
4, 5. (a) Bayibuli eraga etya nti Yakuwa afaayo ku abo abayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya? (b) Yakuwa kennyini ayisiddwa atya mu ngeri etali ya bwenkanya?
4 Yakuwa takoma ku kulaba bulabi butali bwenkanya. Afaayo ku abo ababonaabona olw’obutali bwenkanya obwo. Abantu be bwe baayisibwa obubi amawanga agaali gabeetoolodde, Yakuwa yanakuwala ‘olw’okusinda kwabwe olw’abo abaabanga bababonyaabonya n’abo abaabanga babakijjanya.’ (Ekyabalamuzi 2:18) Oboolyawo okyetegerezza nti abantu abamu gye bakoma okulaba obutali bwenkanya, gye bakoma n’okubutwala ng’ekintu ekya bulijjo. Si bwe kiri eri Yakuwa! Alabye obutali bwenkanya okumala emyaka nga 6,000, kyokka n’okutuusa kati abukyawa. Era Bayibuli eraga nti akyayira ddala ebintu nga “olulimi olulimba,” “emikono egiyiwa omusaayi ogutaliiko musango,” ne “omujulizi omulimba ayogera eby’obulimba.”—Engero 6:16-19.
5 Ate era lowooza ku ngeri Yakuwa gye yavumiriramu abakulembeze ba Isirayiri abataali benkanya. Yaluŋŋamya nnabbi we okubabuuza nti: “Temusaanidde kumanya bwenkanya?” Oluvannyuma lw’okulaga engeri gye baakozesaamu obubi obuyinza bwabwe, Yakuwa yalagula ebyandituuse ku basajja bano ababi. Yagamba nti: “Mulikoowoola Yakuwa abayambe, naye talibaddamu. Mu kiseera ekyo alibakweka obwenyi bwe, olw’ebintu ebibi bye mukola.” (Mikka 3:1-4) Mazima ddala Yakuwa akyawa nnyo obutali bwenkanya! Era kijjukire nti naye kennyini ayisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya! Okumala emyaka nkumi na nkumi, Sitaani azze amwogerako eby’obulimba. (Engero 27:11) Ate era Yakuwa yawulira bubi nnyo, Omwana we ‘ataakola kibi kyonna’ bwe yattibwa ng’omumenyi w’amateeka. (1 Peetero 2:22; Isaaya 53:9) Kya lwatu, Yakuwa alumirirwa abo abayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya era abafaako nnyo.
6. Tuwulira tutya bwe tuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya, era lwaki?
6 Kyokka, bwe tulaba obutali bwenkanya oba ffe kennyini bwe tuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya, kya mu butonde okuwulira obubi. Twatondebwa mu kifaananyi kya Katonda era obutali bwenkanya bukontana n’ekyo ky’ali. (Olubereberye 1:27) Kati olwo, lwaki Katonda aleka obutali bwenkanya okubaawo?
Ensonga Enkulu
7. Nnyonnyola engeri erinnya lya Yakuwa gye lyasiigibwa enziro era n’engeri obufuzi bwe gye bwabuusibwabuusibwamu.
7 Eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo kikwatagana n’ensonga enkulu eyajjawo. Nga bwe twalaba, Omutonzi alina obwannannyini okufuga ensi ne bonna abagiriko. (Zabbuli 24:1; Okubikkulirwa 4:11) Kyokka, ku ntandikwa y’ebyafaayo by’omuntu, erinnya lya Yakuwa lyasiigibwa enziro era n’obufuzi bwe ne bubuusibwabuusibwa. Ekyo kyajjawo kitya? Yakuwa yalagira Adamu, omusajja eyasooka, obutalya ku muti ogumu ogwali mu Lusuku Edeni mwe yali abeera. Kiki ekyandibaddewo bwe yandijeemye? Katonda yamugamba nti: “Tolirema kufa.” (Olubereberye 2:17) Etteeka lya Katonda teryali zzibu era Adamu ne mukyala we Kaawa, bandisobodde okulingondera. Wadde kyali kityo, Sitaani yamatiza Kaawa nti etteeka lya Katonda lyali libakugira nnyo. Kiki ekyandivuddemu ng’alidde ku muti? Sitaani yagamba Kaawa nti: “Okufa temujja kufa. Kubanga Katonda amanyi nti olunaku lwe muligulyako, amaaso gammwe galizibuka ne muba nga Katonda, nga mumanyi ekirungi n’ekibi.”—Olubereberye 3:1-5.
8. (a) Ebigambo Sitaani bye yagamba Kaawa byayoleka ki? (b) Kiki Sitaani kye yayogera ku bikwata ku linnya lya Katonda n’obufuzi bwe?
8 Mu kwogera ebigambo ebyo, Sitaani teyakyoleka bwolesi nti Yakuwa yalina ekintu ekikulu kye yali akwese Kaawa, naye era yalaga nti Yakuwa yali alimbye Kaawa. Yaleetera Kaawa okubuusabuusa oba nga ddala Yakuwa mulungi. Mu ngeri eyo, Sitaani yaleeta ekivume ku linnya lya Katonda. Ate era yaleetawo okubuusabuusa obanga ddala Yakuwa afuga mu ngeri ennungi. Sitaani teyabuusabuusa obanga Katonda ye mufuzi ali ku ntikko. Wabula yabuusabuusa obanga obufuzi bwa Katonda bwali butuufu, busaanira, era obanga bwa butuukirivu. Mu ngeri endala, yagamba nti Yakuwa yali tafuga mu ngeri nnungi eganyula abantu be.
9. (a) Kiki ekyavaamu Adamu ne Kaawa bwe baajeema, era bibuuzo ki ebikulu ebyajjawo? (b) Lwaki Yakuwa teyazikiririzaawo bajeemu abo?
9 N’ekyavaamu, Adamu ne Kaawa baajeemera Yakuwa ne balya ku muti gwe yabagaana. Olw’obujeemu obwo, baalina okufa nga Katonda bwe yali agambye. Eby’obulimba Sitaani bye yayogera byaleetawo ebibuuzo bino ebikulu: Ddala Yakuwa y’asaanidde okufuga abantu oba abantu be bandyefuze? Yakuwa afuga mu ngeri esingayo obulungi? Yakuwa yandibadde asobola okukozesa amaanyi ge n’azikiririzaawo abajeemu abo. Naye okubuusabuusa okwali kuzzeewo kwali tekukwata ku maanyi ge, wabula kwali kukwata ku linnya lye, erizingiramu n’engeri gy’afugamu. N’olwekyo, okuzikiriza Adamu, Kaawa, ne Sitaani tekyandikakasizza nti Katonda y’agwanidde okufuga. Wabula, kyandireetedde obufuzi bwa Katonda okweyongera okubuusibwabuusibwa. Engeri yokka eyali ey’okukakasaamu obanga abantu bandisobodde okwefuga awatali bulagirizi bwa Katonda, kwali kuleka kiseera okuyitawo.
10. Ebyafaayo biraze ki ku bikwata ku bufuzi bw’abantu?
10 Oluvannyuma lw’ekiseera okuyitawo biki ebivuddemu? Mu kiseera ekiwanvu ekiyiseewo, abantu bagezezzaako obufuzi obw’enjawulo nga mw’otwalidde obwa demokulasiya, nnaakyemalira, komunizimu, nnaakalyako ani, n’obulala. Ebizivuddemu biraga obutuufu bw’ebigambo bino ebiri mu Bayibuli: “Omuntu [abadde] n’obuyinza ku munne n’amuyisa bubi.” (Omubuulizi 8:9) Ebigambo nnabbi Yeremiya bye yayogera ddala bituufu. Yagamba nti: “Nkimanyi bulungi, Ai Yakuwa, nti omuntu talina buyinza kweruŋŋamya. Omuntu talina buyinza kuluŋŋamya bigere bye.”—Yeremiya 10:23.
11. Lwaki Yakuwa yaleka abantu okubonaabona?
11 Okuviira ddala ku ntandikwa, Yakuwa yali akimanyi nti abantu okwefuga kyandivuddemu okubonaabona kungi. Ekyo kiraga nti Yakuwa teyali mwenkanya okuleka embeera eyo embi okubaawo? N’akatono! Ng’ekyokulabirako, ka tugambe nti olina omwana eyeetaaga okulongoosebwa okusobola okujjanjaba obulwadde bwe. Okimanyi nti okumulongoosa kijja kumuleetera obulumi bungi, era kino kikunakuwaza nnyo. Naye okimanyi nti okulongoosa omwana wo kijja kumusobozesa okubeera omulamu obulungi mu biseera eby’omu maaso. Mu ngeri y’emu, Katonda yali akimanyi nti okulekawo obufuzi bw’abantu kyandireeseewo obulumi n’okubonaabona. (Olubereberye 3:16-19) Naye era yali akimanyi nti abantu bandisobodde okufuna obuweerero obw’olubeerera singa balaba akabi akava mu kwefuga bokka awatali Katonda. Mu ngeri eno, ensonga ekwata ku kubuusabuusa obufuzi bwa Katonda yandigonjooleddwa ddala, emirembe gyonna.
Ensonga Ekwata ku Bwesigwa bw’Omuntu
12. Ebyo Sitaani bye yayogera ku Yobu, biraga bulimba ki bwe yayogera ku bantu bonna?
12 Waliwo n’ensonga endala. Sitaani teyakoma ku kwogera bya bulimba ku bufuzi bwa Yakuwa ne ku linnya lye, naye era yayogera eby’obulimba ku bwesigwa bw’abaweereza ba Katonda. Ng’ekyokulabirako, weetegereze ekyo Sitaani kye yayogera ku Yobu, omusajja eyali omutuukirivu. Yagamba Yakuwa nti: “Tomutaddeeko lukomera okumwetooloola ye n’ennyumba ye, ne byonna by’alina? Omulimu gw’emikono gye oguwadde omukisa, era n’ebisolo bye byaze mu nsi. Kale golola omukono gwo omuggyeko byonna by’alina, olabe obanga taakwegaanire mu maaso go.”—Yobu 1:10, 11.
13. Sitaani bye yayogera ku Yobu byali byoleka ki, era ekyo kizingiramu kitya abantu bonna?
13 Sitaani yagamba nti Yobu yali aweereza Yakuwa olw’ebintu Yakuwa bye yamuwa. Ekyo kyali kitegeeza nti Yobu teyali mwesimbu, kwe kugamba, yasinzanga Katonda olw’okuba yali alina by’afuna. Sitaani yagamba nti singa Yobu yandiggiddwako ebintu ebyo, yandikolimidde Omutonzi we. Sitaani yali akimanyi nti Yobu yali “musajja mwesigwa era mugolokofu, atya Katonda, era yeewala ebibi.”a Singa Sitaani yaleetera Yobu obutaba mwesigwa eri Yakuwa, kyandibadde kitegeeza nti yandisobodde n’okuleetera abantu abalala bonna obutaba beesigwa. Bwe kityo, Sitaani yali abuusabuusa obwesigwa bw’abo bonna abaagala okuweereza Katonda. Mu butuufu, ng’ayogera ku bantu bonna, Sitaani yagamba Yakuwa nti: “Omuntu anaawaayo byonna by’alina olw’obulamu bwe.”—Yobu 1:8; 2:4.
14. Ebyafaayo biraze ki ku ebyo Sitaani bye yayogera ku bantu?
14 Ebyafaayo biraze nti, okufaananako Yobu, abantu bangi basigadde beesigwa eri Yakuwa wadde nga bagezesebwa, era ekyo kyawukanira ddala ku ebyo Sitaani bye yayogera. Basanyusizza omutima gwa Yakuwa olw’okusigala nga beesigwa. Ekyo kisobozesezza Yakuwa okulaga Sitaani nti bye yayogera tebyali bituufu bwe yagamba nti abantu bajja kulekera awo okuweereza Katonda nga bafunye ebizibu. (Abebbulaniya 11:4-38) Mu butuufu, abantu abaagala Katonda bamunywereddeko. Ne mu mbeera enzibu ennyo, beeyongedde okusaba Yakuwa okubawa amaanyi okusobola okugumiikiriza.—2 Abakkolinso 4:7-10.
15. Kibuuzo ki ekijjawo ku bikwata ku misango Katonda gye yasala era ne gy’anaasala mu biseera eby’omu maaso?
15 Kyokka obwenkanya bwa Yakuwa tebukoma ku nsonga ekwata ku bufuzi bwe n’obwesigwa bw’abantu. Bayibuli etulaga engeri Yakuwa gye yasaliramu omusango abantu kinnoomu era n’amawanga. Era erimu obunnabbi obulaga emisango gy’alisala mu biseera eby’omu maaso. Lwaki tuli bakakafu nti Yakuwa abadde asala emisango mu butuukirivu, era nti ajja kukola kye kimu ne mu biseera eby’omu maaso?
Ensonga Lwaki Obwenkanya bwa Katonda Bwe Businga
Yakuwa tayinza ‘kuzikiriza batuukirivu wamu n’ababi’
16, 17. Byakulabirako ki ebiraga nti endaba y’abantu eriko ekkomo bwe kituuka ku bwenkanya?
16 Bayibuli egamba nti: “Amakubo [ga Yakuwa] gonna ga bwenkanya.” (Ekyamateeka 32:4) Tewali n’omu ku ffe ayinza kweyogerako bw’atyo, kubanga olw’okuba tetutuukiridde emirungi mingi tulemererwa okumanya ekituufu. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku Ibulayimu. Yeegayirira Yakuwa ku bikwata ku kuzikirizibwa kwa Sodomu, wadde ng’ebintu ebibi bya byeyongedde nnyo mu kibuga ekyo. Yabuuza Yakuwa nti: “Ddala onoozikiriza abatuukirivu awamu n’ababi?” (Olubereberye 18:23-33) Kya lwatu, eky’okuddamu kyali nti nedda. Lutti omutuukirivu awamu ne bawala be bwe baamala okutuuka mu kibuga Zowaali, Yakuwa ‘yatonnyesa amayinja agookya n’omuliro ku Sodomu.’ (Olubereberye 19:22-24) Ku luuyi olulala, Yona “yasunguwala nnyo” Katonda bwe yasaasira abantu b’e Nineeve. Olw’okuba Yona yali amaze okulangirira okuzikirizibwa kw’abantu abo, yandibadde mumativu okulaba nga bazikirizibwa, wadde nga bandibadde beenenyezza.—Yona 3:10–4:1.
17 Yakuwa yakakasa Ibulayimu nti olw’okuba mwenkanya takoma ku kuzikiriza babi, naye era awonyawo abatuukirivu. Ku luuyi olulala, Yona yalina okuyiga nti Yakuwa musaasizi. Ababi bwe bakyusa amakubo gaabwe, aba ‘mwetegefu okubasonyiwa.’ (Zabbuli 86:5) Obutafaananako bantu, Yakuwa tabonereza okusobola okulaga nti alina amaanyi, era talema kusaasira bantu ng’atya nti bajja kumutwala ng’omunafu. Bulijjo aba mwetegefu okulaga obusaasizi buli lwe kiba kyetaagisa.—Isaaya 55:7; Ezeekyeri 18:23.
18. Byakulabirako ki okuva mu Bayibuli ebiraga nti Yakuwa bw’aba asala emisango tasinziira ku nneewulira yokka.
18 Kyokka Yakuwa tamala galaga busaasizi. Abaysirayiri bwe beenyigira mu kusinza ebifaananyi, Yakuwa yagamba nti: “[Nja kukusalira] omusango okusinziira ku makubo go, era nkuvunaane olw’ebintu byonna eby’omuzizo bye wakola. Eriiso lyange terijja kukukwatirwa kisa, era sijja kukusaasira, wabula nja kukusasula okusinziira ku makubo go.” (Ezeekyeri 7:3, 4) Bwe kityo, abantu bwe bagugubira ku bikolwa byabwe ebibi, Yakuwa abasalira omusango ng’ebikolwa byabwe bwe biri. Kyokka asala omusango ng’asinziira ku bujulizi obwesigika. Eyo ye nsonga lwaki bwe yawulira okukaaba olw’ebintu ebibi ebyali bikolebwa Sodomu ne Ggomola, yagamba nti: “Nja kugendayo ndabe obanga ddala bakola ng’okwemulugunya okutuuse gye ndi bwe kuli.” (Olubereberye 18:20, 21) Nga tuli basanyufu nnyo nti Yakuwa talinga bantu abanguyiriza okusalawo nga tebannategeera kalonda yenna akwata ku nsonga! Mazima ddala, Yakuwa atuukana n’ekyo Bayibuli ky’emwogerako, nti ye “Katonda omwesigwa ataliimu butali bwenkanya.”—Ekyamateeka 32:4.
Weesige Yakuwa nti Mwenkanya
19. Kiki kye tuyinza okukola singa tuba n’ebintu bye tutategeera ku ngeri Yakuwa gy’ayolekamu obwenkanya?
19 Bayibuli teddamu buli kibuuzo ekikwata ku ebyo Yakuwa bye yakola mu biseera ebyayita; era tewa kalonda yenna akwata ku ngeri Yakuwa gy’anaasaliramu omusango abantu kinnoomu oba ebibiina by’abantu mu biseera eby’omu maaso. Bwe tutategeera bulungi bunnabbi obumu oba ebintu ebimu ebiri mu Bayibuli, tusaanidde okuba nga nnabbi Mikka eyagamba nti: “Nnaalindiriranga n’obugumiikiriza Katonda ow’obulokozi bwange.”—Mikka 7:7.
20, 21. Lwaki tuli bakakafu nti bulijjo Yakuwa ajja kukola ekituufu?
20 Tuli bakakafu nti bulijjo Yakuwa ajja kukolanga ekituufu. Wadde ng’abantu tebafaayo ku bikolwa ebitali bya bwenkanya, Yakuwa asuubiza nti: “Okuwoolera eggwanga kwange; nze ndisasula.” (Abaruumi 12:19) Bwe tuba n’omwoyo ogulindirira, tujja kuba tukkiriziganya n’ebigambo by’omutume Pawulo eyagamba nti: “Katonda si mwenkanya? N’akatono!”—Abaruumi 9:14.
21 Ebiseera bye tulimu bizibu ennyo. (2 Timoseewo 3:1) Obutali bwenkanya ‘n’ebikolwa eby’okunyigiriza abalala’ biviiriddeko abantu bangi okuyisibwa obubi. (Omubuulizi 4:1) Kyokka Yakuwa takyukanga. Na buli kati akyawa obutali bwenkanya, era afaayo nnyo ku abo abayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya. Singa tusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa era ne tuwagira obufuzi bwe, ajja kutuwa amaanyi okugumiikiriza okutuusa mu kiseera lw’ajja okumalawo obutali bwenkanya bwonna wansi w’obufuzi bw’Obwakabaka.—1 Peetero 5:6, 7.