EKITUNDU EKY’OKUSOMA 37
OLUYIMBA 114 “Mugumiikirize”
Ky’Osaanidde Okukola ng’Oyisiddwa mu Ngeri Etali ya Bwenkanya
“Yali asuubira bwenkanya, naye laba! waaliwo butali bwenkanya.”—IS. 5:7.
EKIGENDERERWA
Tugenda kulaba ekyo Yesu kye yakola nga waliwo abayisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya n’engeri gye tusobola okumukoppamu.
1-2. Abantu bangi bayisibwa batya olw’obutali bwenkanya obuliwo, era kiki kye tuyinza okuba nga twebuuza?
TULI mu nsi ejjudde obutali bwenkanya. Abantu bayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya olw’ebintu ebitali bimu gamba nga ekikula kyabwe, langi yaabwe, obuwangwa bwabwe, oba olw’okuba nti baavu. Bannabyabusuubuzi ne bannabyabufuzi boonoona obutonde nga beenoonyeza eby’obugagga ne kiviirako abantu okubonaabona olw’ebizibu ebiva mu kwonoona obutonde. Mu ngeri emu oba endala, obutali bwenkanya ng’obwo buviirako abantu bonna okubonaabona.
2 Tekyewuunyisa nti abantu bangi banyiivu olw’obutali bwenkanya bwe balaba mu nsi leero. Ffenna twagala okubeera mu nsi erimu obukuumi era nga tuyisibwa mu ngeri ey’obwenkanya. Abamu bagezaako okwegonjoolera ebizibu bye balaba mu bitundu byabwe. Bateeka emikono ku biwandiiko ebiwakanya gavumenti oba amateeka gaayo, beekalakaasa, era bawagira bannabyabufuzi ababasuubiza okumalawo obutali bwenkanya. Naye ffe Abakristaayo tetuli “ba nsi” era tulindirira Obwakabaka bwa Katonda okumalirawo ddala obutali bwenkanya. (Yok. 17:16) Wadde kiri kityo, naffe tuwulira bubi, era oluusi tuwulira obusungu bwe tulaba omuntu ng’ayisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya. Tuyinza okwebuuza: ‘Waliwo kye nnyinza okukolawo okugonjoola obutali bwenkanya buno? Okuddamu ekibuuzo ekyo, ka tusooke tulabe engeri Yakuwa ne Yesu gye bawuliramu bwe balaba abantu nga bayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya.
YAKUWA NE YESU BAKYAWA OBUTALI BWENKANYA
3. Lwaki tuyisibwa bubi bwe wabaawo obutali bwenkanya? (Isaaya 5:7)
3 Bayibuli eraga ensonga lwaki abantu tebaagala kuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya. Eraga nti Yakuwa yatutonda mu kifaananyi kye era nti “ayagala obutuukirivu n’obwenkanya.” (Zab. 33:5; Lub. 1:26) Takola bintu bitali bya bwenkanya era tayagala muntu n’omu abikola! (Ma. 32:3, 4; Mi. 6:8; Zek. 7:9) Ng’ekyokulabirako, mu kiseera kya nnabbi Isaaya, Yakuwa yawulira abantu be abaali ‘batema emiranga olw’ennaku’ olwa Bayisirayiri bannaabwe abaali babayisa mu ngeri etali ya bwenkanya. (Soma Isaaya 5:7.) Yakuwa yabangako ky’akolawo ng’abonereza abo abaamenyanga Amateeka ge, ne bayisa abalala mu ngeri etali ya bwenkanya.—Is. 5:5, 13.
4. Yesu awulira atya bw’alaba ng’omuntu ayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya? Waayo ekyokulabirako. (Laba n’ekifaananyi.)
4 Okufaananako Yakuwa, Yesu naye ayagala obwenkanya era akyawa obutali bwenkanya. Lumu Yesu yalaba omusajja eyalina omukono ogwagongobala. Yesu yakwatirwa omusajja oyo ekisa n’amuwonya naye ekyo kyanyiiza abakulembeze b’eddiini. Mu kifo ky’okuba abasanyufu nti Yesu yali awonyezza omusajja oyo, baagamba nti Yesu yali amenye etteeka lya Ssabbiiti. Yesu yawulira atya? Bayibuli egamba nti yali “munyiivu era nga munakuwavu nnyo olw’emitima gyabwe emikakanyavu.”—Mak. 3:1-6.
Abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya tebaalumirirwanga bantu, naye ye Yesu yabalumirirwanga (Laba akatundu 4)
5. Kiki kye tusaanidde okujjukira bwe tuba basunguwavu olw’obutali bwenkanya?
5 Bwe kiba nti Yakuwa ne Yesu bawulira bubi olw’obutali bwenkanya, si kikyamu naffe okuwulira bwe tutyo. (Bef. 4:26) Kyokka tusaanidde okukijjukira nti bwe tusunguwala, ka kibe nti tulina ensonga ennungi etuleetera okusunguwala, obusungu tebujja kumalawo butali bwenkanya. Mu butuufu, bwe tumala ekiseera ekiwanvu nga tusunguwadde oba ne tutafuga busungu, kisobola okutukosa mu birowoozo ne mu mubiri. (Zab. 37:1, 8; Yak. 1:20) Kati olwo kiki kye tusaanidde okukola bwe tuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya? Waliwo bingi bye tusobola okuyigira ku Yesu.
YESU YAKOLA KI NG’ALABYE OBUTALI BWENKANYA?
6. Yesu we yabeerera ku nsi, abantu baayisibwanga batya mu ngeri etali ya bwenkanya? (Laba n’ekifaananyi.)
6 Yesu bwe yali ku nsi, yalaba abantu bangi nga bayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya. Ng’ekyokulabirako, yalaba engeri abakulembeze b’amadiini gye baanyigirizangamu abantu aba bulijjo. (Mat. 23:2-4) Ate era yalabanga engeri embi abafuzi Abaruumi gye baayisangamu abantu. Abayudaaya bangi baali baagala okwekutula ku bufuzi bw’Abaruumi. Abamu baakola n’obubinja okulwanyisa Abaruumi. Naye Yesu talina kabinja ke yeegattako okulwanyisa obufuzi bw’Abaruumi. Yesu bwe yakimanya nti abantu baali baagala kumufuula kabaka, yabaviira.—Yok. 6:15.
Abantu bwe baali baagala okufuula Yesu kabaka, yabaviira (Laba akatundu 6)
7-8. Lwaki Yesu bwe yali ku nsi teyagezaako kumalawo butali bwenkanya? (Yok. 18:36)
7 Yesu bwe yali ku nsi teyeeyingiza mu bya bufuzi okusobola okumalawo obutali bwenkanya. Lwaki? Yali akimanyi nti abantu tebaatondebwa kwefuga era tebalina busobozi kukikola. (Zab. 146:3; Yer. 10:23) Ate era abantu tebasobola kuggyawo ekyo ekiviirako obutali bwenkanya. Ensi efugibwa Sitaani Omulyolyomi, era olw’okuba mukambwe, akubiriza abantu okuyisa abalala mu ngeri etali ya bwenkanya. (Yok. 8:44; Bef. 2:2) N’abantu abalina ebigendererwa ebirungi tebasobola kumalawo butali bwenkanya kubanga tebatuukiridde.—Mub. 7:20.
8 Yesu yali akimanyi nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obujja okumalawo obutali bwenkanya n’ekyo ekibuleeta. Bwe kityo yakozesa ebiseera bye n’amaanyi ge ‘okubuulira n’okulangirira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda.’ (Luk. 8:1) Mu kukola bw’atyo, yabudaabuda abo “abalumwa enjala n’ennyonta ey’eby’obutuukirivu” ng’abakakasa nti ekiseera kijja kutuuka obutali bwenkanya bumalibwewo. (Mat. 5:6; Luk. 18:7, 8) Abantu ne bwe bafuba batya, tebasobola kumalawo butali bwenkanya. Obwakabaka bwa Katonda bwokka bwe bugenda okumalirawo ddala obutali bwenkanya, era ng’Obwakabaka obwo “si bwa mu nsi muno.”—Soma Yokaana 18:36.
KOPPA YESU NGA WALIWO OBUTALI BWENKANYA
9. Lwaki oli mukakafu nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obujja okumalirawo ddala obutali bwenkanya bwonna?
9 Leero tulaba ebikolwa eby’obutali bwenkanya bingi okusinga ebyo Yesu bye yalaba ng’akyali ku nsi. N’okutuusa leero, mu “nnaku ez’enkomerero,” Sitaani n’abantu abatatuukiridde b’afuga ye nsibuko y’obutali bwenkanya obuliwo. (2 Tim. 3:1-5, 13; Kub. 12:12) Okufaananako Yesu, naffe tukimanyi nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obugenda okuggirawo ddala ekyo ekiviirako obutali bwenkanya. Olw’okuba tuwagira Obwakabaka bwa Katonda mu bujjuvu, tetwekalakaasa, era tetwesiga gavumenti z’abantu okumalawo obutali bwenkanya. Lowooza ku mwannyinaffe Stacy.a Bwe yali tannayiga mazima, yeegattanga ku abo abaabanga beekalakaasa okumalawo obutali bwenkanya. Naye oluvannyuma yatandika okubuusabuusa ekyo kye yali akola. Agamba nti: “Bwe twabanga twekalakaasa, nneebuuzanga obanga ndi ku ludda lutuufu. Okuva bwe kiri nti kati mpagira Bwakabaka bwa Katonda, nkimanyi nti Yakuwa ajja kumalirawo ddala obutali bwenkanya, ekintu nze kye sisobola kukola.”—Zab. 72:1, 4.
10. Okusinziira ku Matayo 5:43-48, lwaki tetugezaako kukyusa mateeka oba gavumenti? (Laba n’ekifaananyi.)
10 Leero abantu bangi beegatta ku bibiina ebigezaako okukyusa amateeka oba gavumenti. Naye bangi ku bo bafuuka bakambwe, bamenya amateeka, era batuusa obulabe ku balala. Ekyo kikontana n’ekyo Yesu kye yatuyigiriza. (Bef. 4:31) Ow’oluganda Jeffrey yagamba nti: “Nkimanyi nti okwekalakaasa okulabika ng’okw’emirembe, mu kaseera katono kuyinza okuvaamu ebikolwa eby’obukambwe n’okunyaga ebintu.” Kyokka Yesu atuyigiriza nti tusaanidde okulaga abantu bonna okwagala nga mw’otwalidde n’abo abatakkiriziganya naffe oba abatuyigganya. (Soma Matayo 5:43-48.) Ng’Abakristaayo, tukola kyonna ekisoboka okukoppa Yesu.
Kitwetaagisa okuba abamalirivu okusigala nga tetuliiko ludda lwe tuwagira mu nsonga z’ensi (Laba akatundu 10)
11. Lwaki oluusi kiyinza okutuzibuwalira okukoppa Yesu?
11 Wadde nga tukimanyi nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bujja okumalirawo ddala obutali bwenkanya, oluusi kiyinza okutuzibuwalira okukoppa Yesu nga tuyisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya. Lowooza ku ekyo ekyatuuka ku mwanyinaffe Janiya, eyali asosolwa olwa langi ye. Agamba nti: “Ebintu abantu bye banjogerangako byannyiizanga nnyo, era nnali njagala babonerezebwe. Oluvannyuma nnasalawo okweyunga ku kibiina ekimu ekyali kirwanyisa obusosoze mu langi. Nnali ndowooza nti ekyo kyandinnyambye okufuna obuweerero.” Naye oluvannyuma lw’ekiseera, Janiya yakiraba nti yali yeetaaga okukyusa endowooza ye. Agamba nti: “Nnali ndese abalala okukyusa endowooza yange mbeere nga nneesiga bantu so si Yakuwa. Bwe kityo nnasalawo okwekutula ku kibiina ekyo.” Ne bwe kiba nti tuli batuufu okunyiiga, tusaanidde okwefuga ne tutakkiriza busungu bwe tulina olw’okuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya, kutuleetera kwekkiriranya ne tubaako oludda lwe tuwagira mu bintu by’ensi eno.—Yok. 15:19.
12. Lwaki kya magezi okwegendereza ebyo bye tulaba oba bye tusoma?
12 Kiki ekisobola okutuyamba okusigala nga tuli bakkakkamu nga waliwo obutali bwenkanya? Bangi bakizudde nti kirungi okulonda mu ebyo bye basoma, bye bawuliriza, oba bye balaba. Emikutu emigattabantu egimu gijjudde obubaka obukubiriza abantu okuwakanya obutali bwenkanya n’okwegugunga. Emirundi mingi, emikutu gy’amawulire giwa amawulire agalimu kyekubiira. Ne bwe kiba nti ebintu ebitali bya bwenkanya bye tuwulidde bituufu, tekirina kye kituyamba bwe tweyongera okubirowoozaako. Bwe tumala obudde bungi nga tusoma oba nga tuwuliriza amawulire agakwata ku bintu ebitali bya bwenkanya, kisobola okutweraliikiriza n’okutumalamu amaanyi. (Nge. 24:10) N’ekisinga obubi tuyinza okwerabira nti Obwakabaka bwa Katonda bwokka bwe bujja okumalirawo ddala obutali bwenkanya bwonna.
13. Okuba n’enteekateeka ennungi ey’okwesomesa Bayibuli, kituyamba kitya okuba n’endowooza ennuŋŋamu bwe wabaawo obutali bwenkanya?
13 Okuba n’enteekateeka ennungi ey’okwesomesa Bayibuli n’okufumiitiriza kisobola okutuyamba bwe wabaawo obutali bwenkanya. Mwannyinaffe Alia yawuliranga bubi olw’engeri embi abantu b’omu kitundu kye gye baayisibwangamu. Kyamuyisanga bubi okulaba ng’abo abaayisanga abalala obubi baali tebabonerezebwa. Agamba nti: “Nnatuula wansi ne nneebuuza nti, ‘Ddala nzikiriza nti Yakuwa y’ajja okumalawo ebizibu by’abantu?’ Mu kiseera ekyo nnasoma Yobu 34:22-29. Ennyiriri ezo zanzijukiza nti Yakuwa alaba buli kimu ekigenda mu maaso. Yakuwa yekka y’amanyi engeri entuufu ey’okulamulamu abantu, era mu kiseera ekituufu y’ajja okumalawo ebizibu by’abantu byonna.” Nga bwe tulindirira Obwakabaka bwa Katonda okuleeta obwenkanya obwa nnamaddala, kiki kye tusaanidde okukola mu kiseera kino?
KYE TUSAANIDDE OKUKOLA NGA BWE TULINDIRIRA OBWAKABAKA BWA KATONDA
14. Wadde nga waliwo obutali bwenkanya, kiki ffe kye tusobola okukola? (Abakkolosaayi 3:10, 11)
14 Tetusobola kuggyawo bikolwa bya butali bwenkanya, naye tusobola okuyisa abalala obulungi. Nga bwe tuyize, tukoppa Yesu nga tulaga abalala okwagala. Okwagala okwo kutukubiriza okussa ekitiibwa mu balala, nga mw’otwalidde n’abo abakola ebikolwa ebitali bya bwenkanya. (Mat. 7:12; Bar. 12:17) Yakuwa asanyuka nnyo bwe tuyisa abalala mu ngeri ey’ekisa era ey’obwenkanya.—Soma Abakkolosaayi 3:10, 11.
15. Kiki ekisobola okubaawo bwe tuyigiriza abantu amazima agali mu Bayibuli?
15 Ekintu ekisingayo obulungi kye tusobola okukola okuyamba abantu nga waliwo obutali bwenkanya, kwe kubayigiriza ebikwata ku Yakuwa. Lwaki tugamba bwe tutyo? Kubanga okumanya Yakuwa kisobola okukyusa omuntu eyali omukambwe ennyo n’afuuka omuntu ow’ekisa, alaga abalala okwagala, era ow’emirembe. (Is. 11:6, 7, 9) Jemal bwe yali tannayiga mazima, yeegatta ku kibinja ky’abayeekera abaali balwanyisa gavumenti gye baali balowooza nti enyigiriza abantu. Agamba nti: “Tosobola kukaka bantu kukyuka. Nze tebankaka kukyuka. Amazima ge nnayiga mu Bayibuli ge gannyamba okukyuka.” Ebyo Jemal bye yayiga byamuleetera okweyawula ku kibinja ky’abayeekera n’alekera awo okulwana. N’olwekyo bwe tuyigiriza abantu amazima agali mu Bayibuli, kisobola okubayamba okulekera awo okukola ebintu ebitali bya bwenkanya.
16. Lwaki tubuulira abalala ku Bwakabaka bwa Katonda?
16 Okufaananako Yesu, naffe tuli bamalirivu okubuulira abantu nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obugenda okumalirawo ddala obutali bwenkanya. Bwe tukola bwe tutyo tusobola okuzzaamu amaanyi abo abayisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya. (Yer. 29:11) Stacy eyayogeddwako waggulu agamba nti: “Ebyo bye nnayiga mu Bayibuli binnyambye okugumira ebintu ebitali bya bwenkanya bye mpiseemu ne bye ndabye. Yakuwa akozesa obubaka obuli mu Bayibuli okutubudaabuda.” Tusaanidde okuba abeeteefuteefu okubudaabuda abalala nga tubabuulira amazima agali mu Bayibuli. Gy’okoma okuba omukakafu nti ebyo Bayibuli by’eyogera bye tulabye mu kitundu kino bituufu, gye kijja okukoma okukwanguyira okubuulira bakozi banno oba abo b’osoma nabo, ensonga lwaki waliwo obutali bwenkanya n’engeri Katonda gy’anaabumalawo.b
17. Yakuwa atuyamba atya okugumira obutali bwenkanya obuliwo?
17 Tukimanyi nti ebikolwa eby’obutali bwenkanya bijja kweyongera, Sitaani bw’anaaba nga y’akyali “omufuzi w’ensi eno.” Yakuwa alina by’akozeewo okutuyamba nga bwe tulindirira ekiseera lw’anaazikiriza Sitaani era n’amalirawo ddala ebintu ebibi byonna. (Yok. 12:31) Okuyitira mu Byawandiikibwa, Yakuwa atulaze ensonga lwaki waliwo obutali bwenkanya bungi, era atulaze n’engeri gy’awuliramu bw’alaba abantu nga babonaabona olw’obutali bwenkanya obwo. (Zab. 34:17-19) Okuyitira mu Mwana we, Yakuwa atuyigiriza engeri gye tusaanidde okweyisaamu nga waliwo obutali bwenkanya, era atubuulidde engeri Obwakabaka bwe gye bugenda okumalirawo ddala obutali bwenkanya bwonna. (2 Peet. 3:13) Ka tweyongere okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda n’obunyiikivu nga bwe tulindirira ekiseera ensi yonna lw’erijjula ‘obwenkanya n’obutuukirivu.’—Is. 9:7.
OLUYIMBA 158 ‘Terujja Kulwa’
a Amanya agamu gakyusiddwa.
b Laba n’ebyongerezeddwako A ensonga 24-27 mu katabo Yoleka Okwagala—Ng’Ofuula Abantu Abayigirizwa.