ESSUULA 9
Tulina Okuziyiza Ebikemo
WALIWO omuntu yenna eyali akugambye okukola ekintu ekikyamu?— Yakusoomooza? Oba yakugamba nti si kikyamu era nti ojja kunyumirwa ng’okikoze?— Omuntu bw’atugamba bw’atyo, aba atukema.
Twandikoze ki nga tukemeddwa? Twandikkiriza ne tukola ekikyamu?— Ekyo tekyandisanyusizza Yakuwa Katonda. Naye omanyi eyandisanyuse?— Yee, Sitaani Omulyolyomi.
Sitaani mulabe wa Katonda, era mulabe waffe. Tetusobola kumulaba kubanga muntu wa mwoyo. Naye ye asobola okutulaba. Lumu, Omulyolyomi yayogera ne Yesu, Omuyigirizwa Omukulu, era n’agezaako okumukema. Ka tulabe ekyo Yesu kye yakola. Awo tujja kumanya ekintu ekituufu kye tusaanidde okukola nga tukemeddwa.
Kiki Yesu ky’ayinza okuba nga yajjukira bwe yabatizibwa?
Yesu yayagalanga okukola Katonda by’ayagala. Kino yakiraga mu lwatu ng’abatizibwa mu Mugga Yoludaani. Yesu bwe yamala okubatizibwa, Sitaani yagezaako okumukema. Bayibuli egamba nti ‘eggulu ne libikkukira’ Yesu. (Matayo 3:16) Kino kiyinza okuba nga kitegeeza nti Yesu yali atandise okujjukira ebyo byonna ebikwata ku bulamu bwe obw’omu ggulu ng’ali wamu ne Katonda.
Yesu bwe yamala okubatizibwa, yagenda mu ddungu okufumiitiriza ku ebyo bye yali atandise okujjukira. Yabeerayo okumala ennaku amakumi ana emisana n’ekiro. Okumala ennaku ezo zonna Yesu teyalya kintu kyonna, n’olwekyo enjala yali emuluma nnyo. Mu kaseera ako kennyini Sitaani yagezaako okukema Yesu.
Omulyolyomi yakozesa atya amayinja okukema Yesu?
Omulyolyomi yagamba nti: “Bw’oba oli mwana wa Katonda, gamba amayinja gano gafuuke emmere.” Ng’emmere eyo yandibadde ewooma nnyo! Naye Yesu yandisobodde okufuula amayinja ago emmere?— Yee, yandisobodde. Lwaki? Kubanga Yesu, Omwana wa Katonda, yalina amaanyi ag’enjawulo.
Wandifudde amayinja emmere singa Omulyolyomi yali akugambye okukikola?— Yesu enjala yali emuluma. Olowooza kyandibadde kikyamu okukikola waakiri omulundi ogumu gwokka?— Yesu yali akimanyi nti kikyamu okukozesa amaanyi ge mu ngeri eyo. Yakuwa yali amuwadde amaanyi ago okuyamba abantu okudda eri Katonda, so si okugakozesa ku bibye.
Mu kifo ky’okukozesa amaanyi ago mu ngeri eyo, Yesu yajuliza ebyawandiikibwa n’agamba Sitaani nti: “Omuntu taba mulamu na mmere yokka, naye na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Yakuwa.” Yesu yali akimanyi nti okukola ekisanyusa Katonda kikulu nnyo okusinga okuba n’emmere ey’okulya.
Era Omulyolyomi yaddamu okumukema. Yatwala Yesu e Yerusaalemi n’amuyimiriza waggulu ku Yeekaalu. Awo Sitaani n’amugamba nti: ‘Bw’oba oli mwana wa Katonda, weesuule wansi. Kubanga kyawandiikibwa nti bamalayika ba Katonda balikuwanirira n’olema okutuukibwako akabi.’
Lwaki Sitaani yayogera ebigambo ebyo?— Yali ayagala okukema Yesu akole ekintu ekyanditadde obulamu bwe mu kabi. Naye era Yesu teyawuliriza Sitaani. Yagamba Sitaani nti: “Kyawandiikibwa nti, ‘Tokemanga Yakuwa Katonda wo.’” Yesu yali akimanyi nti kikyamu okukema Yakuwa ng’ateeka obulamu bwe mu kabi.
Kyokka Sitaani teyakoma awo. Yatwala Yesu ku lusozi oluwanvu ennyo. Nga bali eyo, yamulaga obwakabaka bwonna, oba gavumenti z’ensi zonna n’ekitiibwa kyazo. Oluvannyuma Sitaani yagamba Yesu nti: “Ebintu bino byonna nja kubikuwa singa ovunnama n’onsinza.”
Lowooza ku ekyo Omulyolyomi kye yali asuubiza okuwa Yesu. Ddala obwakabaka obwo bwonna oba gavumenti z’abantu ezo zaali za Sitaani?— Yesu teyawakana nti zaali za Sitaani. Ekyo kye yandikoze singa tezaali za Sitaani. Mazima ddala, Sitaani ye mufuzi w’ensi yonna. Era Bayibuli emuyita “omufuzi w’ensi eno.”—Yokaana 12:31.
Lwaki Sitaani yali asobola okuwa Yesu obwakabaka buno bwonna?
Wandikoze ki singa Omulyolyomi abaako ky’akusuubiza okukuwa ng’omusinzizza?— Yesu yali akimanyi nti kikyamu okusinza Omulyolyomi ka kibe ki kye yandimuwadde. N’olwekyo Yesu yagamba nti: “Genda Sitaani! Kubanga kyawandiikibwa nti, Yakuwa Katonda wo gw’olina okusinza, era ye yekka gw’olina okuweereza.”—Matayo 4:1-10; Lukka 4:1-13.
Kiki ky’onookola ng’okemeddwa?
Naffe tufuna ebikemo. Waliwo ebimu ku byo by’omanyi?— Lowooza ku kino. Maama wo ayinza okufumba keeki ewooma, n’akugaana okugiryaako okutuusa ng’ekiseera eky’okulya emmere kituuse. Kyokka enjala ekuluma nnyo, era owulira ng’okemebwa okugiryaako. Onoogondera maama wo?— Sitaani ayagala omujeemere.
Jjukira ekyatuuka ku Yesu. Naye enjala yali emuluma nnyo. Kyokka yali akimanyi nti kikulu nnyo okusanyusa Katonda okusinga okulya emmere. Bw’okola ekyo maama wo ky’akugamba, obeera olaga nti okoppa Yesu.
Wayinza okubaawo abaana abakugamba okunywa enjaga. Bayinza okugamba nti ojja kuwulira bulungi ng’oginywedde. Naye eyinza okukulwaza oba okukutta. Oba wayinza okubaawo akuwa sigala n’akusendasenda okumunywa. Onookola ki?—
Jjukira ekyokulabirako kya Yesu. Sitaani yagezaako okusendasenda Yesu ateeke obulamu bwe mu kabi ng’amugamba okubuuka okuva waggulu ku Yeekaalu. Naye ekyo Yesu teyakikola. Kiki ky’onookola ng’omuntu akusendasenda okukola ekintu eky’akabi?— Yesu teyawuliriza Sitaani. Naawe tosaanidde kuwuliriza muntu yenna agezaako okukusendasenda okukola ebintu ebikyamu.
Lwaki kikyamu okukozesa ebifaananyi mu kusinza?
Lumu, bayinza okukugamba okusinza ekifaananyi, ekintu Bayibuli ky’etugaana okukola. (Okuva 20:4, 5) Ekyo kiyinza okubaawo nga waliwo omukolo ku ssomero. Bayinza n’okukugamba nti ojja kugobebwa ku ssomero singa ogaana okukisinza. Onookola ki?—
Kiba kyangu okukola ekituufu nga n’abalala bakikola. Naye kiyinza okukubeerera ekizibu okukola ekituufu ng’abalala bakupikiriza okukola ekikyamu. Bayinza okugamba nti ekyo kye bakola si kibi. Naye ekibuuzo ekikulu kiri nti, ekyo Katonda akyogerako ki? Katonda amanyi ekisinga obulungi.
N’olwekyo, ka kibe ki abalala kye bagamba, tetusaanidde kukola bintu Katonda by’agamba nti bikyamu. Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kusanyusa Katonda so si Omulyolyomi.
Ebirala ebikwata ku ngeri gye tuyinza okuziyizaamu ebikemo biri mu Zabbuli 1:1, 2; Engero 1:10, 11; Matayo 26:41; and 2 Timoseewo 2:22.