LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lfb essomo 75 lup. 178-lup. 179 kat. 4
  • Sitaani Akema Yesu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Sitaani Akema Yesu
  • Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Similar Material
  • Tulina Okuziyiza Ebikemo
    Yigira ku Muyigiriza Omukulu
  • ‘Ziyiza Omulyolyomi’ nga Yesu Bwe Yakola
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Yigira ku Ngeri Yesu Gye Yaziyizaamu Ebikemo
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Omulyolyomi Muntu wa Ddala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
See More
Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
lfb essomo 75 lup. 178-lup. 179 kat. 4
Yesu agaana okubuuka okuva ku kisenge kya yeekaalu ekisingayo okuba waggulu

ESSOMO 75

Sitaani Akema Yesu

Yesu agaana okufuula amayinja emmere

Yesu bwe yamala okubatizibwa, omwoyo omutukuvu gwamutwala mu ddungu. Yesu teyalya kintu kyonna okumala ennaku 40, era enjala yamuluma nnyo. Sitaani Omulyolyomi yajja n’akema Yesu ng’agamba nti: “Bw’oba oli Mwana wa Katonda, gamba amayinja gano gafuuke emmere.” Naye Yesu yamuddamu ng’akozesa Ebyawandiikibwa, n’amugamba nti: ‘Kyawandiikibwa nti omuntu taba mulamu lwa mmere yokka, naye alina okuwuliriza buli kigambo Yakuwa ky’ayogera.’

Oluvannyuma Sitaani yagamba Yesu nti: ‘Bw’oba oli Mwana wa Katonda, buuka okuva ku kisenge kya yeekaalu, awasingayo okuba waggulu. Kubanga kyawandiikibwa nti Katonda ajja kutuma bamalayika bakusitulire mu mikono gyabwe.’ Naye era Yesu yamuddamu ng’akozesa Ebyawandiikibwa n’amugamba nti: ‘Kyawandiikibwa nti togezesanga Yakuwa.’

Yesu agaana okukkiriza obwakabaka bwonna obw’ensi Sitaani bwe yali asuubizza okumuwa

Oluvannyuma, Sitaani yalaga Yesu obwakabaka bwonna obw’omu nsi n’ekitiibwa kyabwo era n’amugamba nti: ‘Nja kukuwa obwakabaka obwo bwonna n’ekitiibwa kyabwo singa ovunnama n’onsinza omulundi gumu gwokka.’ Naye Yesu yamuddamu nti: ‘Vaawo genda Sitaani! Kyawandiikibwa nti Yakuwa yekka gw’olina okusinza.’

Awo Sitaani yaleka Yesu era bamalayika ne bajja ne bawa Yesu emmere. Oluvannyuma Yesu yatandika okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Ogwo gwe mulimu Yakuwa gwe yali amutumye okukola ku nsi. Abantu baayagala nnyo Yesu bye yayigirizanga era baamugobereranga yonna gye yagendanga.

“[Omulyolyomi] bw’ayogera obulimba aba ayogera ekituukagana n’ekyo ky’ali, kubanga mulimba era ye kitaawe w’obulimba.”​—Yokaana 8:44

Ebibuuzo: Bikemo ki ebisatu Sitaani bye yaleetera Yesu? Yesu yaddamu atya Sitaani?

Matayo 4:1-11; Makko 1:12, 13; Lukka 4:1-15; Ekyamateeka 6:13, 16; 8:3; Yakobo 4:7

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share