LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w01 9/1 lup. 3-5
  • Omulyolyomi Muntu wa Ddala

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Omulyolyomi Muntu wa Ddala
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Yesu Yalina Ndowooza Ki?
  • Bamalayika Abajeemu
  • Omulyolyomi Mulabe Muzibu Okuwangula
  • Muziyizenga Setaani, Naye Anaabaddukanga!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Temuwanga Mulyolyomi Bbanga
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • ‘Ziyiza Omulyolyomi’ nga Yesu Bwe Yakola
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2016
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
w01 9/1 lup. 3-5

Omulyolyomi Muntu wa Ddala

“Endagaano Empya yonna eyogera ku kukontana okw’amaanyi ennyo okuli wakati w’amaanyi ga Katonda n’engeri ze ennungi, n’amaanyi amabi agakubirizibwa Setaani. Eyo si ndowooza ya muwandiisi wa Baibuli omu oba babiri, wabula ndowooza ya bawandiisi bonna awamu. . . . Obujulizi obuli mu Ndagaano Empya butegeerekeka bulungi. N’olwekyo, Setaani muntu wa ddala era mubi nnyo, wa bulabe eri Katonda n’abantu be.”​—“The New Bible Dictionary.”

KATI olwo, lwaki abantu bangi abeeyita Abakristaayo era abeetwala okuba abakkiririza mu Baibuli, tebakkiriza nti Omulyolyomi ddala waali? Kubanga tebakkiriza nti Baibuli kye Kigambo kya Katonda. (Yeremiya 8:9) Bagamba nti abawandiisi ba Baibuli beesigama ku bufirosoofo bw’ab’amawanga agaali gabeetoolodde era nti tebaawandiika mazima gennyini agaava eri Katonda. Ng’ekyokulabirako, Omukatuliki omukugu mu by’eddini Hans Küng yawandiika: “Enfumo ezikwata ku Setaani ne badayimooni be . . . zaayingira mu ddiini y’Ekiyudaaya eyasooka nga ziva mu nfumo z’Abababulooni era eyo gye zaava ne ziyingira mu Ndagaano Empya.”​—On Being a Christian.

Naye Baibuli si kigambo bugambo kya bantu. Mu butuufu, kye Kigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa. N’olwekyo, kiba ky’amagezi okutwala ky’eyogera ku Mulyolyomi ng’ekikulu.​—2 Timoseewo 3:14-17; 2 Peetero 1:20, 21.

Yesu Yalina Ndowooza Ki?

Yesu Kristo yakkiriza nti Omulyolyomi muntu wa ddala. Yesu teyakemebwa bubi obwali buli munda ye. Yakemebwa omuntu owa ddala oluvannyuma gwe yayita ‘Omufuzi w’ensi .’ (Yokaana 14:30; Matayo 4:1-11) Era yakkiriza nti ebitonde ebirala eby’omwoyo byawagira Setaani mu bikolwa bye ebibi. Yawonya abantu ‘abaaliko dayimooni.’ (Matayo 12:22-28) N’ekitabo ky’abo abatakkiririza mu Katonda ekiyitibwa Rationalist Encyclopædia kyogera bwe kiti ku nsonga eyo: “N’abakugu mu by’eddiini kibeewunyisa nnyo nti Yesu ayogerwako mu njiri, akkiriza nti emyoyo emibi we giri.” Yesu bwe yayogera ku Mulyolyomi ne badayimooni be, yali teyesigama ku nfumo z’Abababulooni. Yali amanyi nti ddala weebali.

Tuyiga bingi ebikwata ku Mulyolyomi bwe twekenneenya ebigambo bya Yesu eri abasomesa b’eddiini abaaliwo mu kiseera kye: “Mmwe muli ba kitammwe Setaani, era mwagala okukola okwegomba kwa kitammwe. Oyo okuva ku lubereberye ye mussi, so teyanywerera mu mazima, kubanga amazima tegaali mu ye. Bw’ayogera obulimba, ayogera ekiva mu bibye; kubanga ye mulimba era kitaawe w’obulimba.”​—Yokaana 8:44.

Okusinziira ku ebyo, Omulyolyomi, erinnya eritegeeza “omuwaayiriza,” yali ‘mulimba era kitaawe w’obulimba.’ Kye kitonde ekyasooka okwogera eby’obulimba ku Katonda, era ekyo yakikolera mu lusuku Adeni. Yakuwa yali agambye nti bakadde baffe abaasooka ‘tebandiremye kufa’ bwe bandiridde ku muti ogw’okumanya obulungi n’obubi. Okuyitira mu musota, Setaani yagamba nti ebigambo ebyo tebyali bituufu. (Olubereberye 2:17; 3:4) N’olwekyo, mu ngeri etuukirawo, ayitibwa “omusota ogw’edda, oguyitibwa Omulyolyomi era Setaani.”​—Okubikkulirwa 12:9.

Omulyolyomi yayogera eby’obulimba ebikwata ku muti ogw’okumanya obulungi n’obubi. Yagamba nti tekyali kya bwenkanya okubagaana okulya ku muti ogwo era nti okwo kwali kukozesa bubi buyinza. Yagamba nti Adamu ne Kaawa ‘bandibadde nga Katonda’ nga beesalirawo ekirungi n’ekibi. Setaani yagamba nti okuva Adamu ne Kaawa bwe baalina eddembe ery’okwesalirawo, bandibadde beemalirira. (Olubereberye 3:1-5) Obulumbaganyi obwo obwakolebwa ku ngeri Katonda gy’afugamu, bwaleetawo ensonga enkulu ennyo. N’olwekyo, Yakuwa aleseewo ekiseera ensonga ezo zigonjoolebwe. Ekyo kitegeeza nti Setaani alekeddwa okubaawo okumala akaseera. Akaseera akatono k’alina kati keyongeredde ddala okuyimpawala. (Okubikkulirwa 12:12) Kyokka, akyaggya abantu ku Katonda okuyitira mu bulimba, ng’akozesa abantu abalinga abawandiisi n’Abafalisaayo abaaliwo mu kiseera kya Yesu okubunyisa enjigiriza ze.​—Matayo 23:13, 15.

Yesu era yagamba nti Omulyolyomi ‘okuva ku lubereberye ye mussi’ era nti ‘teyanywerera mu mazima.’ Ekyo tekitegeeza nti Yakuwa yatonda Omulyolyomi nga “mussi.” Baibuli teyigiriza nti Omulyolyomi yatondebwa okuba ng’ekisolo ekitiisa ekikulira ekifo omuli omuliro era abantu abawakanya Katonda gye batulugunyizibwa. Era teyigiriza nti waliwo ekifo ng’ekyo. Baibuli eraga nti abafu bali mu ntaana so si mu kifo omuli omuliro oba Setaani gy’abeera.​—Bikolwa 2:25-27; Okubikkulirwa 20:13, 14.

Mu kusooka, Omulyolyomi yali “mu mazima.” Yaliko omu ku b’omu maka ga Yakuwa ag’omu ggulu ng’ekitonde eky’omwoyo ekituukiridde era omwana wa Katonda. Naye “teyanywerera mu mazima.” Yayagala okugoberera emitindo gye ku bubwe egyali gyesigamye ku bulimba. ‘Okuva ku lubereberye,’ so si okuva lwe yatondebwa nga malayika era omwana wa Katonda, naye lwe yajeemera Yakuwa era n’alimba Adamu ne Kaawa. Omulyolyomi alinga abantu abaajeemera Yakuwa mu kiseera kya Musa. Ku bibakwatako tusoma: “Baakolanga ebitali bya butuukirivu eri ye, si baana be, lye bbala lyabwe.” (Ekyamateeka 32:5) Ekintu kye kimu kiyinza okwogerwa ku Setaani. Yafuuka “omussi” bwe yajeema era n’aleetera Adamu ne Kaawa okufa era mu butuufu n’olulyo lw’abantu lwonna.​—Abaruumi 5:12.

Bamalayika Abajeemu

Bamalayika abalala beegatta ku Setaani mu bujeemu bwe. (Lukka 11:14, 15) Bamalayika abo “baaleka ebifo byabwe bennyini” ne beeyambaza emibiri ng’egy’abantu basobole okwetaba ‘n’abawala b’abantu’ mu kiseera kya Nuuwa. (Yuda 6; Olubereberye 6:1-4; 1 Peetero 3:19, 20) “Ekitundu eky’okusatu eky’emmunyeenye ez’omu ggulu,” oba omuwendo omutono ennyo ogw’ebitonde eby’omu ggulu baagoberera Setaani.​—Okubikkulirwa 12:4.

Ekitabo eky’Okubikkulirwa ekirimu obubonero obungi ennyo, kyogera ku Mulyolyomi nga “ogusota ogumyufu ogunene.” (Okubikkulirwa 12:3) Lwaki? Si lwa kuba nti alina omubiri ogulabika obubi ennyo. Mazima ddala, tetumanyi mubiri gwa ngeri ki ebitonde eby’omwoyo gwe birina, naye kirabika Setaani tayawukana ku bitonde birala eby’omwoyo. Kyokka okumuyita “ogusota ogumyufu ogunene” kituukana bulungi n’engeri za Setaani ezitiisa, ez’amaanyi era ezireeta okuzikirira.

Setaani ne badayimooni be kati bakugirwa nnyo. Tebakyasobola kweyambaza mibiri gy’abantu nga bwe baakolanga. Amangu ddala ng’Obwakabaka bwa Katonda bumaze okuteekebwa mu buyinza bwa Kristo mu 1914, baasuulibwa ku nsi.​—Okubikkulirwa 12:7-9.

Omulyolyomi Mulabe Muzibu Okuwangula

Wadde kiri bwe kityo, Omulyolyomi akyali mulabe omuzibu okuwangula. “Atambulatambula, ng’empologoma ewuluguma, ng’anoonya gw’anaalya.” (1 Peetero 5:8) Omulyolyomi si bwe bubi obuli mu mibiri gyaffe egitatuukiridde. Kyo kituufu nti buli lunaku tulwanagana n’engeri z’ekibi. (Abaruumi 7:18-20) Naye olutalo lwennyini luli “n’abafuga ensi ab’omu kizikiza kino, n’emyoyo egy’obubi mu bifo ebya waggulu.”​—Abaefeso 6:12.

Obuyinza bw’Omulyolyomi bukoma wa? Omutume Yokaana yagamba ‘Ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi.’ (1 Yokaana 5:19) Kya lwatu, tetwagala kwemalira ku Mulyolyomi oba kumutya ekisukkiridde. Kyokka kiba ky’amagezi bwe tubeera obulindaala eri enkwe ze ez’okutulemesa okufuna amazima era n’okufuba kwe okumenya obugolokofu bwaffe eri Katonda.​—Yobu 2:3-5; 2 Abakkolinso 4:3, 4.

Omulyolyomi buli kiseera takozesa ngeri za bukambwe okulumba abo abaagala okukola Katonda by’ayagala. Ebiseera ebimu “yeefaananya nga malayika ow’omusana.” Omutume Pawulo yalabula Abakristaayo ku kabi ako bwe yawandiika: “Naye ntidde, ng’omusota bwe gwalimbalimba Kaawa mu bukuusa bwagwo, mpozzi ebirowoozo byammwe okwonoonebwanga mu kulaba wamu ne mu bulongoofu ebiri eri Kristo.”​—2 Abakkolinso 11:3, 14.

N’olwekyo, twetaaga okuba n’amagezi, okutunulanga era n’okumuziyiza nga tuli banywevu mu kukkiriza.’ (1 Peetero 5:8, 9; 2 Abakkolinso 2:11) Weewale okulimbibwalimbibwa Setaani nga tewenyigira mu kintu kyonna ekirina akakwate n’eby’obulogo. (Ekyamateeka 18:10-12) Beera omuyizi omunyiikivu ow’Ekigambo kya Katonda, ng’ojjukira nti Yesu Kristo yajulizanga mu Kigambo kya Katonda Omulyolyomi bwe yali amukema. (Matayo 4:4, 7, 10) Saba Katonda akuwe omwoyo gwe. Ebibala byagwo biyinza okukuyamba okwewala ebikolwa eby’omubiri, Setaani bye yeeyambisa ennyo. (Abaggalatiya 5:16-24) Era, nyiikira okusaba Yakuwa singa owulira nga waliwo okupikirizibwa kwonna okuva eri Omulyolyomi ne badayimooni be.​—Abafiripi 4:6, 7.

Tekikwetaagisa kutya Mulyolyomi. Yakuwa asuubizza okutukuuma okuva ku kintu kyonna Setaani ky’ayinza okukola. (Zabbuli 91:1-4; Engero 18:10; Yakobo 4:7, 8) Omutume Pawulo yagamba “mubenga n’amaanyi mu Mukama waffe ne mu buyinza obw’amaanyi ge,” mulyoke ‘muyinzenga okuyimirira eri enkwe z’Omulyolyomi.’​—Abaefeso 6:10, 11.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 3]

Yesu yamanya nti Omulyolyomi yali muntu wa ddala

[Ebifaananyi eBiri ku lupapula 5]

Ziyiza Omulyolyomi nga weeyigiriza Ekigambo kya Katonda n’okusaba obutayosa

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share