LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w06 2/1 lup. 8-12
  • Muziyizenga Setaani, Naye Anaabaddukanga!

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Muziyizenga Setaani, Naye Anaabaddukanga!
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Twanditidde Omulyolyomi?
  • Lwaki Setaani Atuyigganya?
  • “Otulokole eri Omubi”
  • Weewale Obutego bw’Omulyolyomi
  • Ebyokulwanyisa bya Katonda Bitukuuma
  • Mulwanyisenga Omulyolyomi, Naye Anaabaddukanga
  • ‘Ziyiza Omulyolyomi’ nga Yesu Bwe Yakola
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Omulyolyomi Muntu wa Ddala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Sitaani Afaanana Atya?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • “Muziyize Omulyolyomi”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
w06 2/1 lup. 8-12

Muziyizenga Setaani, Naye Anaabaddukanga!

“Kale mujeemulukukirenga Katonda; naye mulwanenga ne Setaani, naye anaabaddukanga.”​—YAKOBO 4:7.

1, 2. (a) Okusinziira ku Isaaya essuula 14, Omulyolyomi muntu wa ngeri ki? (b) Bibuuzo ki bye tugenda okwekenneenya?

OMULYOLYOMI ye muntu asingayo okuba n’amalala. Kino kyeyolekera bulungi mu bigambo nnabbi wa Katonda Isaaya bye yawandiika ng’ebulayo emyaka egisukka mu 100 Babulooni efuuke ensi kirimaanyi. Yawandiika nti abantu ba Yakuwa bandyatuukirizza “kabaka w’e Babulooni” nga bagamba nti: “[Wayogera] mu mutima gwo nti Ndirinnya mu ggulu, ndigulumiza entebe yange okusinga emmunyeenye za Katonda [bakabaka ab’omu lunyiriri lwa kabaka Dawudi] . . . ndifaanana oyo ali waggulu ennyo.” (Isaaya 14:3, 4, 12-15; Okubala 24:17) Okufaananako “Kabaka w’e Babulooni” oyo, ne Setaani “katonda ow’emirembe gino,” alina amalala. (2 Abakkolinso 4:4) Bwe kityo, nga bakabaka b’e Babulooni bwe baazikirizibwa olw’amalala, ne Setaani naye bw’atyo bw’ajja okuzikirizibwa.

2 Okuva bwe kiri nti Omulyolyomi akyaliwo, tusaanidde okwebuuza ebibuuzo nga bino: Twanditidde Setaani? Lwaki akubiriza abantu okuyigganya Abakristaayo? Kiki ekiyinza okutuyamba okusimattuka obutego bw’Omulyolyomi?

Twanditidde Omulyolyomi?

3, 4. Lwaki Abakristaayo abaafukibwako amafuta ne bannaabwe abalina essuubi ery’okubeera ku nsi tebatya Mulyolyomi?

3 Ebigambo bya Yesu Kristo bino bizzaamu nnyo amaanyi Abakristaayo abaafukibwako amafuta. Yagamba: “Totya by’ogenda okubonaabona: laba, omulyolyomi oyo agenda okusuula abamu mu mmwe mu kkomera, mukemebwe; era mulibonaabonera ennaku kkumi. Beeranga mwesigwa okutuusa okufa, nange ndikuwa engule ey’obulamu.” (Okubikkulirwa 2:10) Abakristaayo abo abaafukibwako amafuta ne bannaabwe abalina essuubi ery’okubeera ku nsi tebatya Mulyolyomi. Obuvumu obwo bwe balina tebaazaalibwa nabwo wabula buva ku kuba nti batya Katonda n’okuba nti ‘bali wansi w’ekisiikirize eky’ebiwaawaatiro bye.’​—Zabbuli 34:9; 36:7.

4 Olw’okuba abagoberezi ba Yesu Kristo abaasooka baali bavumu, baakuuma obwesigwa bwabwe okutuukira ddala ku kufa. Wadde nga baali bayigganyizibwa, baali bakimanyi nti Yakuwa tasobola kulekerera baweereza be abeesigwa. N’olw’ensonga eyo, tebaatya kintu kyonna Setaani Omulyolyomi kye yandibatuusizzaako. Okufaananako abagoberezi ba Yesu abo, Abakristaayo abaafukibwako amafuta ne bannaabwe abalina essuubi ery’okubeera ku nsi, bamalirivu okunywerera ku Yakuwa wadde ne mu biseera ebizibu. Kyokka, omutume Pawulo yagamba nti Omulyolyomi alina amaanyi ag’okutta. Ekyo kyandituleetedde okumutya?

5. Kya kuyiga ki ekiri mu Abaebbulaniya 2:14, 15?

5 Pawulo yagamba nti Yesu yayambazibwa omubiri gw’ennyama n’omusaayi asobole ‘okufa alyoke azikirize oyo alina amaanyi ag’okufa, ye Setaani; era alyoke abawe eddembe abo bonna abali mu buddu obulamu bwabwe bwonna olw’entiisa ey’okufa.’ (Abaebbulaniya 2:14, 15) Ng’oyo ‘alina amaanyi ag’okufa,’ Setaani yakozesa Yuda Isukalyoti okulya mu Yesu olukwe era oluvannyuma n’akozesa abakulembeze b’Abayudaaya n’Abaruumi okumutta. (Lukka 22:3; Yokaana 13:26, 27) Bwe yafa, Yesu yanunula abantu aboonoonyi okuva mu kufa okwaleetebwa Setaani era kino kyabaggulirawo ekkubo ery’okufuna obulamu obutaggwaawo.​—Yokaana 3:16.

6, 7. Wadde Setaani alina amaanyi ag’okutta, kiki ky’atasobola kukola?

6 Wadde Setaani alina amaanyi ag’okutta, kiki ky’atasobola kukola? Okuva Setaani lwe yafuuka omubi, obulimba bwe bwe buviiriddeko abantu okufa. Kino kiri bwe kityo kubanga yalimba Adamu n’ayonoona, era n’asikiza abantu bonna ekibi n’okufa. (Abaruumi 5:12) Ng’oggyeko ekyo, abawagizi ba Setaani ab’oku nsi babaddenga bayigganya abaweereza ba Yakuwa ne batuuka n’okuttako abamu nga bwe baakola Yesu Kristo.

7 Kyokka, kino tekitegeeza nti Setaani asobola okutta buli muntu yenna gw’aba ayagadde. Katonda akuuma abantu be era tasobola kukkiriza Setaani kumalawo basinza be bonna ab’amazima. (Abaruumi 14:8) Kyo kituufu nti, oluusi Yakuwa aleka Omulyolyomi n’ayigganya abantu be, oboolyawo n’atuuka n’okuttako abamu. Wadde kiri kityo, Ebyawandiikibwa bituwa essuubi nti Katonda ajja kuzuukiza abo bonna abali mu “kitabo eky’okujjukiza”​—era ekyo Omulyolyomi tasobola kukiremesa kubaawo!​—Malaki 3:16; Yokaana 5:28, 29; Ebikolwa 24:15.

Lwaki Setaani Atuyigganya?

8. Lwaki Omulyolyomi ayigganya abaweereza ba Katonda?

8 Olw’okuba tuli baweereza ba Katonda abeesigwa, mu buli ngeri yonna Omulyolyomi alina okutuyigganya. Ekigendererwa kye kwe kutulemesa okuweereza Katonda. Ayagala tufiirwe enkolagana gye tulina ne Kitaffe ow’omu ggulu. Kino tekyanditwewuunyisizza kubanga Yakuwa yagamba nti wandibaddewo obulabe wakati ‘w’omukazi’ ow’akabonero ‘n’omusota,’ era obulabe bwe bumu bwandibaddewo wakati ‘w’ezzadde’ lyabwe. (Olubereberye 3:14, 15) Ebyawandiikibwa byogera ku Mulyolyomi ‘ng’omusota ogw’edda’ era biraga nti alina obusungu bungi kubanga amanyi ng’alina akaseera katono. (Okubikkulirwa 12:9, 12) Olw’okuba ‘ezzadde ly’omusota’ lyeyongedde okukyawa ‘ezzadde ly’omukazi,’ abo abaweereza Yakuwa basuubira okuyigganyizibwa. (2 Timoseewo 3:12) Omanyi ensonga lwaki Setaani aleetawo okuyigganya okw’engeri eyo?

9, 10. Nsonga ki Omulyolyomi gye yaleetawo, era ekwata etya ku ngeri abantu gye beeyisaamu?

9 Omulyolyomi yasoomooza obufuzi bwa Katonda obw’obutonde bwonna, era n’agamba nti abantu tebasobola kuba beesigwa eri Omutonzi waabwe. Bwe kityo, yagezesa Yobu omusajja eyali omwesigwa ng’ayagala amenye obugolokofu bwe. Mu kutuukiriza ekigendererwa kye ekyo, Omulyolyomi yakozesa muka Yobu ne mikwano gye okumumalamu amaanyi. Nga bwe kiragibwa mu kitabo kya Yobu, Omulyolyomi yagamba nti teri muntu asobola kusigala nga mwesigwa eri Katonda singa okukkiriza kwe kugezesebwa. N’olwekyo Yobu bwe yakuuma obugolokofu, kyalaga nti Omulyolyomi kye yayogera kyali kya bulimba. (Yobu 1:8–2:9; 16:2; 27:5; 31:6) Ne mu kiseera kino, Omulyolyomi ayigganya Abajulirwa ba Yakuwa ng’agezaako okubaleetera okumenya obugolokofu bwabwe n’okulaga obutuufu bw’ekyo kye yayogera.

10 Bwe tumanya nti Omulyolyomi atuyigganya ng’alina ekigendererwa eky’okutuleetera okumenya obugolokofu bwaffe, kituleetera okwongera okwenyweza. (Ekyamateeka 31:6) Olw’okuba Katonda waffe ye Mufuzi w’Obutonde Bwonna, ajja kutuyamba tusobole okukuuma obugolokofu bwaffe. N’olwekyo, ka tufubenga okusanyusa omutima gwa Yakuwa nga tukuuma obugolokofu asobole okufuna eky’okuddamu eri oyo amusoomooza, Setaani Omulyolyomi.​—Engero 27:11.

“Otulokole eri Omubi”

11. Bwe tusaba nti, “Totutwala mu kukemebwa,” kiba kitegeeza ki?

11 Olw’okuba si kyangu omuntu okukuuma obugolokofu, kyetaagisa okusaba ennyo. Tusobola okusaba nga tweyambisa ebigambo ebiri mu ssaala ya Mukama waffe. Essaala eyo erimu ekitundu ekigamba nti: “Totutwala mu kukemebwa, naye tulokole eri omubi.” (Matayo 6:13) Ebigambo ebyo, tebitegeeza nti Yakuwa y’atukema. (Yakobo 1:13) Ebyawandiikibwa ebimu bwe bigamba nti y’atuleetako obubi, kiba tekitegeeza nti y’abutuleetako, wabula kiba kitegeeza nti abuleka bulesi ne bututuukako. (Luusi 1:20, 21) N’olwekyo bwe tusaba nga Yesu bwe yatugamba, tuba twegayirira Yakuwa aleme kutulekerera nga twolekaganye n’okukemebwa. Mazima ddala kino Yakuwa ajja kukikola kubanga Ebyawandiikibwa bitukakasa nti: “Siwali kukema okubakwata okutali kwa bantu: naye Katonda mwesigwa, ataabaganyenga kukemebwa okusinga bwe muyinza; naye awamu n’okukemebwa era anassangawo n’obuddukiro mulyoke muyinzenga okugumiikiriza.”​—1 Abakkolinso 10:13.

12. Lwaki tusaba Katonda nti, “Otulokole eri omubi”?

12 Ng’amaze okwogera ku kukemebwa, Yesu yagamba nti: “Otulokole eri omubi.” Enzivuunula ya Baibuli emu egamba nti: “Otulokole mu bubi.” (Baibuli ey’Obulamu) Kyokka, ekigambo ky’Oluyonaani ekikozesebwa mu Byawandiikibwa ekivvuunulwa ‘okulokola,’ kikozesebwa ku bantu bokka. Bwe kityo, mu njiri ya Matayo ebigambo “otulokole eri omubi” bisonga ku ‘Mukemi’ Setaani Omulyolyomi. (Matayo 4:3, 11) N’olwekyo kikulu nnyo okusaba Katonda atulokole eri “omubi,” Setaani Omulyolyomi. Omubi oyo ayagala nnyo tukole ekibi. (1 Abasessaloniika 3:5) Bwe tusaba Kitaffe ow’omu Ggulu nti, “Otulokole eri omubi” tuba tumusaba atuwe obulagirizi tusobole okusimattuka obutego bw’omubi oyo.

Weewale Obutego bw’Omulyolyomi

13, 14. Lwaki Abakkolinso baalina okusonyiwa omusajja eyali akoze obwenzi?

13 Pawulo bwe yali akubiriza Abakristaayo b’omu Kkolinso okusonyiwa, yagamba nti: “Gwe musonyiwa ekigambo, nange mmusonyiwa: kubanga nange kye nsonyiye, oba nga nsonyiye, nkisonyiye ku lwammwe mu maaso ga Kristo; Setaani alemenga kutwekulumbalizaako: kubanga tetuli ng’abatategeera nkwe ze.” (2 Abakkolinso 2:10, 11) Omulyolyomi alina engeri nnyingi z’akozesa okutuleetera okukola ekibi. Naye, kiki ekyaviirako Pawulo okwogera ebigambo ebyo?

14 Pawulo yanenya Abakkolinso kubanga baali balese omusajja eyali akoze obwenzi okusigala mu kibiina. Setaani ateekwa okuba yali musanyufu nnyo kubanga ekibiina kyaliko ekivume ‘olw’obwenzi bwe butyo obutaali na mu b’amawanga.’ Ekiseera kyatuuka, omusajja oyo omubi n’agobebwa mu kibiina. (1 Abakkolinso 5:1-5, 11-13) Kyokka, oluvannyuma yeenenya. Singa ab’omu kibiina ky’Ekkolinso bagaana okumusonyiwa n’okumukomyawo mu kibiina Omulyolyomi era yandibadde abakwasizza. Mu ngeri ki? Bandibadde tebalaze musajja oyo kisa nga Setaani bw’akola. Singa omusajja oyo eyali yeenenyezza ‘yamirwa olw’ennaku ennyingi’ n’ava mu mazima, okusingira ddala abakadde be bandibaddeko omusango mu maaso ga Yakuwa Katonda olw’obutamulaga kisa. (2 Abakkolinso 2:7; Yakobo 2:13; 3:1) Abakristaayo ab’amazima beewala okuyisa abalala obubi kubanga tebaagala kubeera nga Setaani.

Ebyokulwanyisa bya Katonda Bitukuuma

15. Baani be tulwana nabo, era kiki ekiyinza okutuyamba okubawangula?

15 Bwe tuba twagala okulokolebwa eri Omulyolyomi, tuteekwa okulwanyisa emyoyo emibi. Ekiyinza okutuyamba okuwangula olutalo olwo, kwe kwambala “ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda.” (Abaefeso 6:11-18) Ebyokulwanyisa ebyo bizingiramu ‘eky’omu kifuba, obutuukirivu.’ (Abaefeso 6:14) Sawulo eyali kabaka wa Isiraeri ey’edda bwe yajeemera Katonda, yafuna ebizibu olw’okuba yaggibwako omwoyo omutukuvu. (1 Samwiri 15:22, 23) N’olwekyo bwe tuba twagala Yakuwa atuwe omwoyo gwe omutukuvu era atukuume Setaani ne bamalayika be baleme kutukolako kabi, tusaanidde okukola eby’obutuukirivu n’okwambala ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda.​—Engero 18:10.

16. Kintu ki ekirala ekinaatuyamba okuziyiza emyoyo emibi?

16 Ekintu ekirala ekinaatuyamba okuziyiza emyoyo emibi, kwe kusoma Ekigambo kya Katonda obutayosa, n’okusoma ebitabo ebituweebwa “omuddu omwesigwa era ow’amagezi.” (Lukka 12:42) Ekyo bwe tunaakikola, tujja kuba tujjuza ebirowoozo byaffe n’ebintu eby’omwoyo Pawulo bye yayogerako ng’agamba nti: “Ebisigaddeyo, ab’oluganda, eby’amazima byonna, ebisaanira ekitiibwa byonna, eby’obutuukirivu byonna, ebirongoofu byonna, ebyagalibwa byonna, ebisiimibwa byonna; bwe waba nga waliwo obulungi, era oba nga waliwo ettendo, ebyo mubirowoozenga.”​—Abafiripi 4:8.

17. Kiki ekinaatuyamba okubuulira obulungi amawulire amalungi?

17 Yakuwa atuyamba ‘okunaanika mu bigere byaffe engatto,’ nga bino bye bintu bye tukozesa mu kubuulira amawulire amalungi. (Abaefeso 6:15) Bwe tunyiikirira okugenda mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo tuyigirizibwa engeri gye tusobola okubuuliramu amawulire g’Obwakabaka. Nga tufuna essanyu lingi bwe tuyamba abantu okuyiga amazima ne bava mu ddiini ez’obulimba! (Yokaana 8:32) ‘Ekitala eky’omwoyo, nga kino kye kigambo kya Katonda,’ kituyamba okumanya amazima ne tusobola okwewala enjigiriza enkyamu era kimenya “buli kintu ekigulumivu ekikulumbazibwa.” (Abaefeso 6:17; 2 Abakkolinso 10:4, 5) N’olwekyo bwe tukozesa obulungi Ekigambo kya Katonda Baibuli, tujja kusobola okuyigiriza abalala amazima era kituyambe okwewala obulimba bw’Omulyolyomi.

18. Tuyinza tutya ‘okuyimirira eri enkwe za Setaani’?

18 Pawulo bwe yali ayogera ku byokulwanyisa ebya Katonda yatandika ng’agamba nti: “Mubenga n’amaanyi mu Mukama waffe ne mu buyinza obw’amaanyi ge. Mwambalenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke muyinzenga okuyimirira eri enkwe za Setaani.” (Abaefeso 6:10, 11) Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa “okuyimirira,” kiwa ekifaananyi eky’omuserikale atatiitiira era atalekulira. Okufaananako omuserikale oyo, naffe tusigadde tuli banywevu wadde nga Setaani akozesezza obukodyo obw’enjawulo okutabangula emirembe gy’ekibiina, okwonoona enjigiriza zaffe, n’okumenya obugolokofu bwaffe. Bwe kityo, Omulyolyomi tasobodde kutuwangula​—era taliwangula!a

Mulwanyisenga Omulyolyomi, Naye Anaabaddukanga

19. Kiki ekinaatuyamba okulwanyisa Omulyolyomi?

19 Olw’okuba tusobola okuwangula Omulyolyomi ne balubaale be, tetusaanidde kubatya. Omuyigirizwa Yakobo yagamba nti: “Kale mujeemulukukirenga Katonda; naye mulwanenga ne Setaani, naye anaabaddukanga.” (Yakobo 4:7) Ekinaatuyamba okulwanyisa Setaani ne balubaale be, kwe kwewala eby’obusamize n’abo ababyenyigiramu. Ebyawandiikibwa bikyoleka kaati nti abaweereza ba Yakuwa bateekwa okwewala obulogo, okulaguza emmunyeenye, okukola eby’obufumu n’okusamira emizimu. N’olwekyo bwe tunyiikirira emirimu gy’obwakabaka era ne tuba banywevu mu by’omwoyo tetujja kutya muntu yenna atuloga.​—Okubala 23:23; Ekyamateeka 18:10-12; Isaaya 47:12-15; Ebikolwa 19:18-20.

20. Tuyinza tutya okulwanyisa Omulyolyomi?

20 Tusobola ‘okulwanyisa Setaani’ singa tunywerera ku misingi gya Baibuli n’amazima agagirimu. Ensi ekola ebyo Setaani by’ayagala kubanga ye katonda waayo. (2 Abakkolinso 4:4) N’olwekyo ka twewala ebintu ng’amalala, okwerowoozaako, obugwenyufu, ettemu, n’okwagala eby’obugagga tuleme kufaananyizibwa nsi. Yesu bwe yali mu ddungu Omulyolyomi n’ajja okumukema, yakozesa Ebyawandiikibwa ne kiviirako Omulyolyomi okumudduka. (Matayo 4:4, 7, 10, 11) Mu ngeri y’emu, naffe Setaani ajja ‘kutudduka’ singa tusaba Yakuwa okutuyamba era ne tumugondera mu buli kimu. (Abaefeso 6:18) Bwe tuba n’obuwagizi bwa Yakuwa Katonda awamu n’obw’Omwana we omwagalwa, tewali ayinza kutukolako kabi​—k’abe Mulyolyomi!​—Zabbuli 91:9-11.

[Obugambo obuli wansi]

a Okusobola okumanya ebisingawo ku byokulwanyisa ebya Katonda soma, The Watchtower, aka Maayi 15, 1992, empapula 21-3.

Osobola Okuddamu?

• Lwaki tetusaanidde kutya Setaani Omulyolyomi?

• Lwaki Setaani ayigganya Abakristaayo?

• Lwaki tusaba Katonda atulokole eri “omubi”?

• Kiki ekiyinza okutuyamba okuwangula olutalo olw’eby’omwoyo?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]

Abagoberezi ba Kristo ab’omu kyasa ekyasooka baasigala nga beesigwa okutuusiza ddala ku kufa

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]

Omulyolyomi tasobola kuziyiza Yakuwa kuzuukiza abo bajjukira

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]

Osaba Katonda akulokole eri “omubi”?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 11]

Oyambadde “ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda”?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share