Temuwanga Mulyolyomi Bbanga
‘Temuwanga Setaani bbanga.’—ABAEFESO 4:27.
1. Lwaki abantu bangi babuusabuusa okubeerawo kw’Omulyolyomi?
OKUMALA ebyasa bingi abantu babaddenga balowooza nti Omulyolyomi kintu ekiri awo ekirina amayembe n’ebinuulo ng’eby’ente, nga kyambadde olugoye olumyufu era nga kikutte ekkabyo lye kikozesa okusuula abantu ababi mu muliro ogutazikira. Endowooza ng’ezo ziviiriddeko abantu bangi okubuusabuusa obanga ddala Omulyolyomi gyali, ate abalala ne kibaviirako okulowooza nti Omulyolyomi bwe bubi obubeera mu bantu. Kyokka, ekyo Baibuli ky’eyogera ku Mulyolyomi kya njawulo nnyo ku ekyo abantu kye balowooza.
2. Ebyawandiikibwa byogera ki ku Mulyolyomi?
2 Baibuli ewa obujulizi obwesigika obulaga nti Omulyolyomi gyali. Ng’ekyokulabirako, Yesu Kristo bwe yali mu ggulu yalaba Setaani era yayogera naye ng’ali ku nsi. (Yobu 1:6; Matayo 4:4-11) Wadde Ebyawandiikibwa tebitubuulira linnya lya kitonde ekyo eryasooka, bimuyita Omulyolyomi (ekitegeeza “Omuwaayiriza”) kubanga yayogera eby’obulimba ku Katonda. Ate era bimuyita Setaani (ekitegeeza “Omuziyiza”) kubanga aziyiza ebigendererwa bya Yakuwa. Setaani Omulyolyomi era ayitibwa “omusota ogw’edda,” kubanga yakozesa omusota okulimbalimba Kaawa. (Okubikkulirwa 12:9; 1 Timoseewo 2:14) Setaani ono era ayitibwa “omubi.”—Matayo 6:13.a
3. Kibuuzo ki kye tugenda okwekenneenya?
3 Ng’Abajulirwa ba Yakuwa tetwagala kubeera nga Setaani omulabe wa Katonda. N’olw’ensonga eyo omutume Pawulo yatukubiriza nti: ‘Temuwanga Setaani bbanga.’ (Abaefeso 4:27) Kati olwo, bikolwa ki ebibi bye tusaanidde okwewala tuleme kubeera nga Setaani?
Weewale Okubeera ng’Omuwaayiriza Kungwa
4. Biki “omubi” bye yayogera ng’awaayiriza Katonda?
4 Olw’okuba Omulyolyomi kitegeeza omuntu ayogera eby’obulimba ku mulala, kiba kituukirawo “omubi” oyo okumuyita Omulyolyomi. Katonda yali agambye Adamu nti: “Omuti ogw’okumanya obulungi n’obubi togulyangako: kubanga olunaku lw’oligulyako tolirema kufa.” (Olubereberye 2:17) Kaawa naye yali amanyi bulungi etteeka eryo. Ng’ayitira mu musota Omulyolyomi yagamba Kaawa nti: “Okufa temulifa. Kubanga Katonda amanyi nti olunaku lwe muligulyako mmwe, amaaso gammwe lwe galizibuka, nammwe muliba nga Katonda okumanyanga obulungi n’obubi.” (Olubereberye 3:4, 5) Bwe kityo, ebyo Omulyolyomi bye yayogera ku Yakuwa Katonda byali bya bulimba.
5. Lwaki Diyotuleefe yali agenda kuvunaanibwa?
5 Abaisiraeri baagambibwa nti: “Tobanga wa nnimi ng’otambulatambula mu bantu bo.” (Eby’Abaleevi 19:16) Mu biseera by’omutume Yokaana, waaliwo omuntu eyali asala ku balala ebigambo. Yokaana yawandiika nti: “Nnawandiikira ekkanisa ekigambo: naye Diyotuleefe ayagala okubeera omukulu waabwe tatukkiriza. Bwe ndijja kyendiva njijukiza abantu ebikolwa bye by’akola ng’ayogera ku ffe ebigambo ebibi ebitaliimu.” (3 Yokaana 9, 10) Diyotuleefe alina eby’obulimba bye yayogera ku Yokaana era yali agenda kuvunaanibwa olw’obulimba obwo. Mukristaayo ki eyandyagadde okuba nga Diyotuleefe eyakoppa Setaani omuwaayiriza kungwa?
6, 7. Lwaki twandyewaze okwogera eby’obulimba ku balala?
6 Abaweereza ba Yakuwa batera okwogerwako eby’obulimba. Ng’ekyokulabirako, ‘bakabona abakulu n’abawandiisi baayimirira ne baloopa’ Yesu nga bamwogerako ebintu ebitaali bituufu. (Lukka 23:10) Ate kabona Omukulu Ananiya n’abalala nabo baaloopa Pawulo nga bamwogerako ebintu ebitali bya mazima. (Ebikolwa 24:1-8) Baibuli egamba nti, Setaani “aloopa baganda baffe . . . , abaloopa mu maaso ga Katonda waffe emisana n’ekiro.” (Okubikkulirwa 12:10) Ab’oluganda abo Setaani b’aloopa be Bakristaayo abaafukibwako amafuta abakyali ku nsi mu nnaku zino ez’oluvannyuma.
7 Kyo kituufu nti teri Mukristaayo yandyagadde kuwaayiriza muganda we. Kyokka, kino kiyinza okubaawo singa Omukristaayo ayogera ku Mukristaayo munne ebintu ebitaliiko mutwe na magulu. Okusinziira ku Mateeka ga Musa, omuntu bwe yawaayirizanga munne, yaweebwanga ekibonerezo kya kuttibwa. (Okuva 20:16; Ekyamateeka 19:15-19) Ng’oggyeko ekyo, ebimu ku bintu Yakuwa by’akyawa ye ‘mujulirwa w’obulimba ayogera eby’obulimba’ ku balala. (Engero 6:16-19) Mazima ddala tetwandyagadde kuba nga Setaani omuwaayiriza kungwa.
Weewale Okubeera Omussi nga Setaani
8. Kiki Omulyolyomi kye yakola ekiraga nti “okuva ku lubereberye ye mussi”?
8 Bwe yali ayogera ku Mulyolyomi, Yesu yagamba nti: “Oyo okuva ku lubereberye ye mussi.” (Yokaana 8:44) Ekiraga nti Setaani ye mussi, kwe kuba nti yasendasenda Adamu ne Kaawa okujeemera Katonda ne kibaviirako okufa, era ne basikiza abaana baabwe ekibi n’okufa. (Abaruumi 5:12) Weetegereza nti, ekigambo ‘omussi’ kikozesebwa ku muntu so si ku bubi obubeera mu bantu.
9. Okusinziira ku 1 Yokaana 3:15, tuyinza tutya okufuuka abassi?
9 Mu Mateeka Ekkumi agaaweebwa Abaisiraeri, erimu lyali ligamba nti: “Tottanga.” (Ekyamateeka 5:17) Bwe yali awandiikira Abakristaayo, omutume Peetero yagamba nti: “Omuntu yenna ku mmwe tabonyaabonyezebwanga nga mussi.” (1 Peetero 4:15) N’olw’ensonga eyo abaweereza ba Yakuwa tebatta muntu yenna. Kyokka, singa Omukristaayo akyawa mukkiriza munne oba n’atuuka n’okumwagaliza okufa, Katonda amutwala ng’omussi. Omutume Yokaana yagamba nti: “Buli muntu yenna akyawa muganda we ye mussi.” Ate era yayongerako nti: “Mumanyi nga tewali mussi alina obulamu obutaggwaawo nga bubeera mu ye.” (1 Yokaana 3:15) Abaisiraeri baagambibwa nti: “Tokyawanga muganda wo mu mutima gwo.” (Eby’Abaleevi 19:17) N’olwekyo singa tufuna obutategeeragana ne mukkiriza munnaffe, tusaanidde okubumalawo mu bwangu Setaani aleme kutabangula bumu bwaffe.—Lukka 17:3, 4.
Ziyiza Omulimba Kungwa
10, 11. Kiki kye tusaanidde okukola okusobola okuziyiza Setaani, omulimba kungwa?
10 Ate era Yesu yalaga nti Omulyolyomi mulimba bwe yagamba nti, “bw’ayogera obulimba, [aba] ayogera ekiva mu bibye; kubanga ye mulimba era kitaawe w’obulimba.” (Yokaana 8:44) Setaani bwe yajja ku nsi yalimbalimba Kaawa, naye ate ye Yesu bwe yajja yayigiriza mazima. (Yokaana 18:37) Ng’abagoberezi ba Kristo, bwe tuba ab’okuziyiza Omulyolyomi tusaanidde okwewala obulimba. Tuteekwa ‘okwogeranga amazima.’ (Zekkaliya 8:16; Abaefeso 4:25) “Yakuwa Katonda ow’amazima” awa omukisa abo aboogera amazima, naye abo aboogera eby’obulimba tebasobola kuba Bajulirwa be.—Zabbuli 31:5, NW; 50:16; Isaaya 43:10.
11 Enjigiriza z’Ekikristaayo zonna awamu ge ‘mazima g’enjiri.’ (Abaggalatiya 2:5, 14) Singa twenyumiririza mu ky’okuba nti amazima ago gaatusumulula okuva mu bulimba bwa Setaani, tujja kunywerera ku Bukristaayo, “ekkubo ery’amazima.” (2 Peetero 2:2; Yokaana 8:32) N’olwekyo okusobola okulokolebwa, tusaanidde ‘okutambulira mu mazima’ ago—okuganywererako n’okuziyiza “kitaawe w’obulimba.”—3 Yokaana 3, 4, 8.
Ziyiza Kyewaggula
12, 13. Kiki ekiyinza okutuyamba okwewala endowooza za bakyewaggula?
12 Malayika eyafuuka Omulyolyomi okusooka yali mu mazima. Yesu yagamba nti, “teyanywerera mu mazima kubanga amazima tegaali mu ye.” (Yokaana 8:44) Kyewaggula ono abaddenga awakanya “Katonda ow’amazima.” Abakristaayo abamu ab’omu kyasa ekyasooka baatwalirizibwa obulimba ne bagwa mu “mutego gwa Setaani,” era kino kyabaviirako okuva mu mazima. N’olw’ensonga eyo, Pawulo yagamba muweereza munne Timoseewo okubabuulirira n’obuwombeefu basobole okutereera mu by’omwoyo bave mu bulimba bwa Setaani. (2 Timoseewo 2:23-26) Mazima ddala kiba kirungi okunywerera ku mazima mu kifo ky’okutwalirizibwa endowooza za bakyewaggula.
13 Abantu ababiri abaasooka baafuuka bakyewaggula olw’okuba bawuliriza Omulyolyomi. Kati olwo, twandiwulirizza bakyewaggula, okusoma ebitabo byabwe oba okwagala okumanya ebibakwatako nga tunoonyereza ku mikutu gya Internet? Bwe tuba twagala Katonda n’amazima, ekyo tetujja kukikola. Tetusaanidde kusembeza bakyewaggula mu maka gaffe wadde okubalamusa kubanga bwe tukola tutyo tuba ‘tussa kimu n’ebikolwa byabwe ebibi.’ (2 Yokaana 9-11) N’olwekyo ka twewala abayigiriza ab’obulimba abaagala ‘okuyingiza obukyamu obuzikiriza’ era abagezaako “[okutufunamu] amagoba n’ebigambo ebyagunjibwa.” Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kuba twewaze obulimba bw’Omulyolyomi obuyinza okutuviirako okuva mu ‘kkubo ery’amazima.’—2 Peetero 2:1-3.
14, 15. Kulabula ki Pawulo kwe yawa abakadde b’omu Efeso ne mukozi munne Timoseewo?
14 Pawulo yagamba bw’ati abakadde b’omu Efeso: “Mwekuumenga mmwe mwekka n’ekisibo kyonna [O]mwoyo [O]mutukuvu mwe yabateeka mmwe okuba abalabirizi, okulundanga ekkanisa ya Katonda gye yeegulira n’omusaayi gwe ye nnyini. Nze mmanyi nga bwe ndimala okuvaawo emisege emikambwe giriyingira mu mmwe, tegirisaasira kisibo; era mu mmwe mwekka muliva abantu nga boogera ebigambo ebikyamye, okuwalula abayigirizwa ennyuma waabwe.” (Ebikolwa 20:28-30) Ekiseera kyatuuka, bakyewaggula ne batandika ‘okwogera ebigambo ebikyamye.’
15 Awo nga mu 65 C.E., omutume Pawulo yakubiriza Timoseewo “[okuyigiriza obulungi] ekigambo eky’amazima.” Ate era yamugamba nti: “Naye ebigambo ebitaliimu ebitali bya ddiini obyewalanga: kubanga baliyitirira mu butatya Katonda, n’ekigambo kyabwe kirirya nga kookolo: ku abo Kumenayo ne Fireeto; kubanga baakyama mu mazima, nga boogera ng’okuzuukira kwamala okubeerawo, era waliwo abantu be baavuunikirira okukkiriza kwabwe.” Yee, obwewagguzi bwali butandise. Kyokka, Pawulo yagamba nti, “omusingi gwa Katonda [gwo gwali munywevu].”—2 Timoseewo 2:15-19.
16. Wadde nga Setaani abadde asaasaanya eby’obulimba, kiki ekitusobozesezza okusigala nga tuli beesigwa eri Katonda n’Ekigambo kye?
16 Emirundi mingi Setaani agezezzaako okukozesa bakyewaggula okwonoona okusinza okw’amazima, naye okufuba kwe kugudde butaka. Awo nga mu 1868, Charles Taze Russell yatandika okwekenneenya enjigiriza z’amakanisa ga Kristendomu era yakizuula nti gaali gataputa bubi Ebyawandiikibwa. Russell n’abalala abatonotono abaali baagala okutegeera amazima baatandika okuyigira awamu Baibuli nga bali mu kibuga Pittsburgh eky’omu Pennsylvania mu Amerika. Mu myaka nga 140 egiyise, abaweereza ba Yakuwa bategedde ebintu bingi era beeyongedde okwagala Katonda n’Ekigambo kye. Wadde nga Setaani abadde asaasaanya eby’obulimba, ekibiina ky’omuddu omwesigwa era ow’amagezi kiyambye Abakristaayo abo ab’amazima okusigala nga beesigwa eri Yakuwa n’okunywerera ku ebyo ebiri mu Kigambo kye.—Matayo 24:45.
Tokkiriza Kufugibwa Mufuzi wa Nsi Eno
17-19. Ensi eri mu buyinza bw’Omulyolyomi y’eruwa, era lwaki tetusaanidde kugyagala?
17 Akatego akalala Setaani k’akozesa, kwe kutuleetera okwagala ensi—abantu abatatya Katonda. Yesu bwe yali ayogera ku Mulyolyomi yamuyita “omufuzi w’ensi” era yagamba nti: “Omufuzi oyo tanninaako buyinza.” (Yokaana 14:30, NW) Naffe tetwandikkirizza kuba wansi wa buyinza bwa Setaani. Omulyolyomi oyo bwe yagamba Yesu okumusinza ng’amusuubiza okumuwa “ensi za bakabaka bonna,” Omwana wa Katonda oyo yagaana. (Matayo 4:8-10) Kino kyakakasa nti “ensi yonna eri mu mubi [oyo].” (1 Yokaana 5:19) Ensi eyo eri mu buyinza bwa Setaani teyagalira ddala bagoberezi ba Kristo. (Yokaana 15:18-21) N’olwekyo tekyewuunyisa nti omutume Yokaana yatukubiriza obutaagala nsi.
18 Yokaana yawandiika nti: “Temwagalanga nsi newakubadde ebiri mu nsi. Omuntu yenna bw’ayagala ensi, okwagala kwa Kitaffe tekuba mu ye. Kubanga buli ekiri mu nsi, okwegomba kw’omubiri, n’okwegomba kw’amaaso, n’okwegulumiza kw’obulamu okutaliimu, tebiva eri Kitaffe, naye biva eri ensi. Era ensi eggwaawo, n’okwegomba kwayo; naye akola Katonda by’ayagala abeerera emirembe egitaggwaawo.” (1 Yokaana 2:15-17) N’olwekyo tetuteekwa kwagala nsi kubanga ebyo byonna ebigirimu bikontana n’emitindo gya Yakuwa Katonda.
19 Ate kiri kitya singa twesanga nga twagala ebintu by’omu nsi? Mu mbeera ng’eyo, tusaanidde okusaba Katonda atuyambe tuleme kutwalirizibwa bintu ebyo. (Abaggalatiya 5:16-21) Singa tukijjukira nti “emyoyo emibi” gye ‘gifuga ensi,’ tujja kufuba okulaba nti ‘tetubaako bbala lya mu nsi’.—Yakobo 1:27, NW; Abaefeso 6:11, 12, NW; 2 Abakkolinso 4:4.
20. Lwaki kiyinza okugambibwa nti ‘tetuli ba nsi’?
20 Ku bikwata ku bayigirizwa be, Yesu yagamba nti: “Si ba nsi, nga nze bwe siri wa nsi.” (Yokaana 17:16) Abakristaayo abaafukibwako amafuta ne bannaabwe abalina essuubi ery’okubeera ku nsi bafuba okuba abayonjo mu by’omwoyo ne mu mpisa, era tebeenyigira mu bintu bya nsi. (Yokaana 15:19; 17:14; Yakobo 4:4) Ensi eno ey’abantu abatatya Katonda tetwagalira ddala kubanga tuli ba njawulo era tuli ‘babuulizi ba butuukirivu.’ (2 Peetero 2:5) Kyo kituufu nti twetooloddwa abantu ab’empisa embi gamba ng’abakaba, abenzi, abanyazi, abasinza ebifaananyi, ababbi, abalimba n’abatamiivu. (1 Abakkolinso 5:9-11; 6:9-11; Okubikkulirwa 21:8) Wadde kiri kityo, tetutwalirizibwa “mwoyo gwa nsi” kubanga twewala okukolera ku kwegomba kw’omubiri.—1 Abakkolinso 2:12.
Towa Mulyolyomi Bbanga
21, 22. Tuyinza tutya okukolera ku kubuulirira kwa Pawulo okuli mu Abaefeso 4:26, 27?
21 Mu kifo ky’okukubirizibwa ‘omwoyo gw’ensi,’ tukulemberwa omwoyo gwa Katonda ne tusobola okubala ebibala by’omwoyo ng’okwagala n’okwegendereza. (Abaggalatiya 5:22, 23) Ebibala ebyo bituyamba okusigala nga tuli banywevu singa Omulyolyomi agezesa okukkiriza kwaffe. Wadde ayagala tunyiige ‘tukole ekibi,’ omwoyo gwa Katonda gutuyamba ‘okuleka obusungu n’ekiruyi.’ (Zabbuli 37:8, NW) Wadde ng’oluusi wayinza okubaawo ebitunyiiza, Pawulo yatukubiriza nti: “Musunguwalenga so temwonoonanga: enjuba ereme okugwa ku busungu bwammwe: so temuwanga bbanga Setaani.”—Abaefeso 4:26, 27.
22 Bwe tutafuga busungu kiyinza okutuviirako okwonoona. Bwe tusiba ekiruyi, Omulyolyomi asobola okukozesa akakisa ako okutabangula emirembe gy’ekibiina oba okutuleetera okwenyigira mu bikolwa ebibi. Bwe kityo, singa tufuna obutategeeragana n’omuntu omulala tusaanidde okugonjoola ensonga mu bwangu nga tugoberera emisingi gy’Ebyawandiikibwa. (Eby’Abaleevi 19:17, 18; Matayo 5:23, 24; 18:15, 16) N’olwekyo singa omuntu aba atunyiizizza, ka tukulemberwe omwoyo gwa Katonda, twefuge era tuleme kusiba kiruyi.
23. Bibuuzo ki bye tugenda okwekenneenya mu kitundu ekiddako?
23 Kati nga tumaze okwekenneenya ebintu bye tusaanidde okwewala ebiyinza okutuleetera okufaanana ng’Omulyolyomi, abamu bayinza okwebuuza nti: Twanditidde Setaani? Lwaki ayigganya Abakristaayo? Era tuyinza tutya okusimattuka obutego bw’Omulyolyomi?
[Obugambo obuli wansi]
a Okumanya ebisingawo soma The Watchtower aka Noovemba 15, 2005 akaliko omutwe “Is the Devil Real?”
Wandizzeemu Otya?
• Lwaki tusaanidde okwewala okwogera eby’obulimba ku balala?
• Okubuulira okuli mu 1 Yokaana 3:15 kuyinza kutya okutuyamba okwewala okuba abassi?
• Twanditutte tutya bakyewaggula?
• Lwaki tetusaanidde kwagala nsi?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]
Kikafuuwe okukkiriza Omulyolyomi okutabangula emirembe gy’ekibiina
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]
Lwaki Yokaana yatukubiriza obutaagala nsi?