LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • ijwbq ekitundu 171
  • Sitaani Afaanana Atya?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Sitaani Afaanana Atya?
  • Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Bayibuli ky’egamba
  • Bayibuli ennyonnyola etya Sitaani?
  • Muziyizenga Setaani, Naye Anaabaddukanga!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • ‘Ziyiza Omulyolyomi’ nga Yesu Bwe Yakola
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2016
See More
Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
ijwbq ekitundu 171

Sitaani Afaanana Atya?

Bayibuli ky’egamba

Sitaani kitonde eky’omwoyo ekitalabika, ekitegeeza nti talina mubiri gwa nnyama gwe tusobola okulaba.—Abeefeso 6:11, 12.

Ekifaananyi ekimanyiddwa ennyo ekiraga Sitaani ng’akutte wuma ennene. Alinga ekitonde ekifaanana ng’embuzi ekirina amayembe n’omukira.

Abasiizi b’ebifaananyi bangi basiiga Sitaani ng’alinga ekitonde ekifaanana ng’embuzi ekirina amayembe, omukira, era nga kikutte wuma ennene. Abantu abamu bagamba nti ebifaananyi ng’ebyo byasooka kusiigibwa abasiizi b’ebifaananyi abaaliwo emyaka 1000 emabega abaali baatwalirizibwa obulombolombo n’enfumo ez’edda.

  • Bayibuli ennyonnyola etya Sitaani?

  • Ebyawandiikibwa ebyogera ku Sitaani

Bayibuli ennyonnyola etya Sitaani?

Bayibuli ennyonnyola Sitaani mu ngeri ez’enjawulo. Engeri ezo zituyamba okutegeera engeri za Sitaani so si endabika ye. Ezimu ku ngeri ezo ze zino:

  • Malayika ow’ekitangaala. Yeefuula okuba nti alina ebirungi by’agaba ng’agezaako okuleetera abantu okugoberera enjigiriza ze mu kifo ky’okugoberera eza Katonda.—2 Abakkolinso 11:14.

  • Empologoma ewuluguma. Alumba abaweereza ba Katonda mu ngeri ey’obukambwe.—1 Peetero 5:8.

  • Ogusota ogunene. Atiisa, wa maanyi, era aleeta ebizibu bingi.—Okubikkulirwa 12:9.

Ebyawandiikibwa ebyogera ku Sitaani

  • 2 Abakkolinso 11:14: “Sitaani kennyini yeefuula malayika ow’ekitangaala.”

    Kye kitegeeza: Sitaani akozesa ebintu ebisikiriza okubuzaabuza abantu basobole okugoberera enjigiriza ze mu kifo ky’okugoberera eza Katonda.

  • Abeefeso 6:11: “Mwambale eby’okulwanyisa byonna ebiva eri Katonda musobole okuba abanywevu nga muziyiza enkwe z’Omulyolyomi.”

    Kye kitegeeza: Sitaani akozesa obukodyo obutali bumu okuleetera abantu okujeemera Katonda.

  • Yakobo 4:7: “Mugonderenga Katonda; naye muziyizenga Omulyolyomi naye anaabaddukanga.”

    Kye kitegeeza: Omuntu asobola okuwangula Sitaani, bw’agondera Katonda mu kifo kya Sitaani.

  • 1 Peetero 5:8: “Omulabe wammwe Omulyolyomi atambulatambula ng’empologoma ewuluguma, ng’anoonya gw’anaalya.”

    Kye kitegeeza: Sitaani akyayira ddala abantu abagondera Katonda era ayagala nnyo okwonoona enkolagana yaabwe ne Katonda.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share