EBYONGEREZEDDWAKO
Obutundutundu bw’Omusaayi n’Enkola Ezikozesebwa mu Kulongoosa
Obutundutundu bw’omusaayi. Obutundutundu buno buggibwa mu bitundu by’omusaayi ebina ebikulu—obutoffaali obumyufu, obutoffaali obweru, platelets, ne plasma. Ng’ekyokulabirako, obutoffaali obumyufu bulimu obutundutundu bw’omusaayi obuyitibwa hemoglobin (obutambuza oxygen mu mubiri). Eddagala erikolebwa okuva mu butundutundu buno obuggibwa mu musaayi gw’abantu oba ogw’ebisolo likozesebwa okujjanjaba abalwadde abatalina musaayi oba abo ababa bavuddemu omusaayi omungi.
Ekitundu ky’omusaayi ekiyitibwa plasma, ng’ebitundu byakyo 90 ku buli kikumi mazzi, kitambuza hormones (obutundutundu obuwa omubiri ebiragiro okukola ebintu eby’enjawulo), omunnyo, enzymes (obutundutundu obwongera sipiidi mu ngeri omubiri gye gukolamu emirimu gyagwo), n’ebiriisa, nga mw’otwalidde sukaali n’ebintu ebirala. Ate era, ekitundu kino kitambuza obutundutundu obusobozesa omusaayi okwekwata omuntu n’atavaamu musaayi mungi, obwo obulwanyisa endwadde, awamu n’obwo obuyitibwa albumin. Abasawo bayinza okusalawo okugema omuntu nga bamukuba empiso za gamma globulin aba aggiddwa mu plasma gwe baba baggye mu musaayi gw’abantu abalina emibiri egirina obusobozi obw’amaanyi obw’okulwanyisa endwadde. Obutoffaali obweru busobola okuggibwamu obutundutundu obuyitibwa interferons ne interleukins obweyambisibwa mu kujjanjaba kookolo awamu n’endwadde ezireetebwa obuwuka obuyitibwa vayirasi.
Omukristaayo yandikkirizza okuweebwa eddagala eririmu obutundutundu bw’omusaayi? Bayibuli teyogera butereevu ku nsonga eno, n’olwekyo, buli omu asaanidde okwesalirawo ng’asinziira ku muntu we ow’omunda. Abamu bayinza okugaana obutundutundu bw’omusaayi bwonna nga bagamba nti Amateeka Katonda ge yawa Abayisirayiri gaali gabeetaaza ‘okuyiwa ku ttaka’ omusaayi ogwaggibwanga mu bisolo. (Ekyamateeka 12:22-24) Ate abalala bayinza okugaana okuteekebwamu omusaayi oba ebitundu byagwo ebikulu, kyokka ne bakkiriza obumu ku butundutundu bwagwo. Bayinza okukitwala nti obutundutundu obuba buggiddwa mu musaayi buba tebukyakiikirira bulamu bwa kitonde omusaayi ogwo mwe guba guggiddwa.
Bw’oba osalawo obanga onokkiriza obutundutundu bw’omusaayi oba nedda, osaanidde okulowooza ku bibuuzo bino wammanga: Nkimanyi bulungi nti okugaana obutundutundu bw’omusaayi bwonna kitegeeza nti sijja kukkiriza ddagala lirimu butundutundu bwagwo obulwanyisa endwadde oba obuyamba omuntu obutavaamu musaayi mungi? Nsobola okunnyonnyola omusawo ensonga lwaki ŋŋaana oba nzikiriza obumu ku butundutundu bw’omusaayi?
Enkola Ezikozesebwa mu Kulongoosa. Zino zizingiramu hemodilution ne cell salvage. Mu nkola eyitibwa hemodilution, ogumu ku musaayi gw’oyo alongoosebwa guyisibwa mu bupiira ne gubaako we gukuumirwa, era ogwo oguba gumusigaddemu ne bagusaabulula nga bamussaako eccupa z’amazzi. Oluvannyuma, omusaayi ogwo baguta ne gukomawo mu mubiri gwe. Mu nkola eyitibwa cell salvage, omusaayi oguva mu muntu alongoosebwa guggibwamu obukyafu, era ne gumuzzibwamu. Olw’okuba omusawo omu ayinza okukozesa enkola zino mu ngeri eyawukana ku y’omusawo omulala, Omukristaayo asaanidde okusaba omusawo we amunnyonnyole engeri gy’agenda okukozesaamu enkola ezo.
Bw’oba oyagala okukozesa emu ku nkola zino, weebuuze: ‘Singa ogumu ku musaayi gwange guyisibwa mu bupiira ne gubaako we gukuumirwa, oluvannyuma ne bagunzizaamu, omuntu wange ow’omunda ananzikiriza okugutwala ng’ogukyali ekitundu ky’omubiri gwange, ne kiba nti tegulina ‘kuyiibwa ku ttaka’? (Ekyamateeka 12:23, 24) ‘Omuntu wange ow’omunda anannumiriza singa ogumu ku musaayi gwange gunzigibwamu, ne gulongoosebwamu, n’oluvannyuma ne guzzibwa mu mubiri gwange? Nkimanyi nti bwe ŋŋaana obujjanjabi bwonna obuzingiramu okukozesa omusaayi gwange kiba kitegeeza nti era mba sirina kwekebeza musaayi wadde okukkiriza bujjanjabi nga hemodialysis awamu n’okukozesa ekyuma ekikola ng’omutima oba amawuggwe?’
Omukristaayo alina okwesalirawo ku ngeri omusaayi gwe gye gunaakozesebwamu ng’alongoosebwa. Era alina okwesalirawo obanga anakkiriza okukozesa eddagala awamu n’enzijanjaba ezizingiramu okuggibwako omusaayi omutonotono, oboolyawo ne gulongoosebwamu, ate oluvannyuma ne gumuzzibwamu.