EBYONGEREZEDDWAKO
Bayibuli Eyogera Ki ku Kugattululwa n’Okwawukana?
Yakuwa asuubira abafumbo okutuukiriza obweyamo bwe baakola nga bafumbiriganwa. Bwe yali agatta omusajja n’omukazi abaasooka, Yakuwa yagamba nti: ‘Omusajja anaanywerera ku mukazi we era banaabanga omubiri gumu.’ Oluvannyuma, Yesu Kristo yayogera ebigambo bye bimu era n’agattako nti: “N’olwekyo, Katonda ky’agasse awamu, omuntu yenna takyawulangamu.” (Olubereberye 2:24; Matayo 19:3-6) Bwe kityo, Yakuwa ne Yesu batwala obufumbo okuba enteekateeka ey’olubeerera era ekoma ng’omu ku bafumbo afudde. (1 Abakkolinso 7:39) Okuva bwe kiri nti obufumbo butukuvu, abafumbo tebalina kumala gagattululwa. Mu butuufu, Yakuwa akyawa okugattululwa kwonna okukontana n’Ebyawandiikibwa.—Malaki 2:15, 16.
Okusinziira ku Bayibuli, kiki ekiyinza okuviirako abafumbo okugattululwa? Tukimanyi bulungi nti Yakuwa akyayira ddala obwenzi n’ebikolwa eby’obugwenyufu. (Olubereberye 39:9; 2 Samwiri 11:26, 27; Zabbuli 51:4) Mu butuufu, ebikolwa eby’obugwenyufu Yakuwa abitwala nga bibi nnyo. Era singa omu ku bafumbo abyenyigiramu, akkiriza abafumbo okugattululwa. (Okusobola okumanya ebyo ebizingirwa mu bigambo “bikolwa eby’obugwenyufu,” laba Essuula 9, akatundu 7.) Oyo aba talina musango, Yakuwa amuwa eddembe okugattululwa n’oyo aba ayenze oba okusigala naye. (Matayo 19:9) N’olwekyo, oyo aba talina musango bw’asalawo okugattululwa n’oyo aba ayenze, aba takoze kibi mu maaso ga Yakuwa. Kyokka, ekibiina Ekikristaayo tekikubiriza muntu yenna kugattululwa. Mu butuufu, waliwo embeera ezimu eziyinza okuleetera oyo atalina musango okusigala ne munne aba ayenze, naddala singa aba yeenenyezza mu bwesimbu. Wadde kiri kityo, oyo aba tayenze y’alina okwesalirawo ku nsonga eno era n’aba mwetegefu okugumira byonna ebiyinza okuva mu ekyo ky’aba asazeewo.—Abaggalatiya 6:5.
Kyokka, waliwo embeera enzibu ennyo eziviiriddeko Abakristaayo abamu okusalawo okwawukana oba okugattululwa ne bannaabwe mu bufumbo wadde nga baba tebeenyigidde mu bwenzi. Mu mbeera ng’ezo, Bayibuli ekubiriza oyo aba asazeewo okwawukana ‘obutayingira bufumbo, oba si ekyo addiŋŋane’ ne munne mu bufumbo. (1 Abakkolinso 7:11) Omukristaayo ng’oyo aba talina ddembe lya kuddamu kuwasa oba kufumbirwa muntu mulala. (Matayo 5:32) Embeera zino wammanga ze zimu ku ezo abamu kwe basinzidde okwawukana ne bannaabwe mu bufumbo.
Okugaana okulabirira ab’omu maka mu bugenderevu. Omwami ayinza okugaana okulabirira ab’omu maka ge wadde ng’alina obusobozi, ne kiviirako omukyala n’abaana okuba nga tebalina buyambi. Bayibuli egamba nti: ‘Singa omuntu yenna talabirira ba mu maka ge, aba yeegaanye okukkiriza era aba mubi n’okusinga omuntu atalina kukkiriza.’ (1 Timoseewo 5:8) Omusajja ng’oyo bw’ateddako, omukyala ayinza okusalawo okwawukana naye mu mateeka asobole okutaasa obulamu bwe n’obw’abaana be. Kya lwatu, abakadde mu kibiina basaanidde okukakasa nti Omukristaayo agaanyi bugaanyi okulabirira ab’omu maka ge. Omuntu bw’agaana okulabirira ab’omu maka ge, kiyinza okumuviirako okugobebwa mu kibiina.
Okutulugunyizibwa ennyo. Omu ku bafumbo ayinza okuba ng’atulugunyizibwa nnyo munne ne kiba nti obulamu bwe buli mu kabi. Bwe kiba nti oyo atulugunya munne Mukristaayo, abakadde mu kibiina basaanidde okunoonyereza ku nsonga eno. Obusungu n’ebikolwa eby’obukambwe biyinza kuviirako omuntu okugobebwa mu kibiina.—Abaggalatiya 5:19-21.
Embeera y’omuntu ey’eby’omwoyo bw’eba mu katyabaga. Omu ku bafumbo ayinza okuba ng’aziyiza nnyo munne ne kiba nti tasobola kusinza Yakuwa, oba ayinza n’okuba ng’agezaako okumuwaliriza okumenya amateeka ga Katonda. Mu mbeera ng’eyo, oyo gwe baziyiza ayinza okukiraba nti okusobola “okuwulira Katonda okusinga abantu,” kimwetaagisa okwawukana ne munne mu bufumbo mu mateeka.—Ebikolwa 5:29.
Mu mbeera ezo zonna ezoogeddwako waggulu, tewali n’omu asaanidde kupikiriza oyo aba taliiko musango okwawukana ne munne mu bufumbo oba okusigala naye. Wadde ng’abakadde mu kibiina n’Abakristaayo abakulu mu by’omwoyo bayinza okuyamba Omukristaayo ali mu mbeera ng’eyo era ne bamuwa amagezi ageesigamiziddwa ku Byawandiikibwa, tebasobola kumanyira ddala mbeera eriwo wakati we ne munne mu bufumbo. Yakuwa yekka y’asobola okutegeera embeera yaabwe mu bujjuvu. Kya lwatu, singa omukyala oba omwami Omukristaayo akuliriza ebizibu by’alina mu bufumbo olw’okuba ayagala ayawukane ne munne, aba talaga nti assa ekitiibwa mu Katonda ne mu nteekateeka y’obufumbo. Wadde ng’omuntu ayinza okugezaako okukwekerera ensonga emuleetera okwagala okwawukana ne munne mu bufumbo, Yakuwa aba alaba byonna. Mu butuufu, “ebintu byonna byeruliddwa era birabibwa oyo gwe tugenda okunnyonnyola bye twakola.” (Abebbulaniya 4:13) Kyokka, singa embeera yeeyongera okuba embi ennyo ne kireetera Omukristaayo okusalawo okwawukana ne munne mu bufumbo, tewali n’omu asaanidde kumuvumirira okuva bwe kiri nti “ffenna tujja kuyimirira mu maaso g’entebe ya Katonda ey’okusalirako emisango.”—Abaruumi 14:10-12.