Ssa Ekitiibwa mu Ekyo “Katonda ky’Agasse Awamu”
“Katonda ky’agasse awamu, omuntu yenna takyawulangamu.”—MAK. 10:9.
1, 2. Ebigambo ebiri mu Abebbulaniya 13:4 bitukubiriza kukola ki?
OYAGALA okuwa Yakuwa ekitiibwa? Mu butuufu Yakuwa agwanidde okuweebwa ekitiibwa, era bw’okimuwa naye asuubiza okukuwa ekitiibwa. (1 Sam. 2:30; Nge. 3:9; Kub. 4:11) Ate era Yakuwa ayagala owe bantu banno ekitiibwa, gamba ng’ab’obuyinza. (Bar. 12:10; 13:7) Naye era waliwo n’ekintu ekirala Katonda ky’ayagala owe ekitiibwa, nga buno bwe bufumbo.
2 Omutume Pawulo yawandiika nti: “Obufumbo bubeerenga bwa kitiibwa eri bonna, era ekitanda ky’abafumbo kibeerenga kirongoofu.” (Beb. 13:4) Mu kuwandiika ebigambo ebyo Pawulo yali akubiriza buli Mukristaayo okussa ekitiibwa mu bufumbo n’okubutwala nga bwa muwendo. Bw’otyo bw’otwala obufumbo, naddala obufumbo bwo, bw’oba ng’oli mufumbo?
3. Magezi ki amalungi agakwata ku bufumbo Yesu ge yawa? (Laba ekifaananyi waggulu.)
3 Bw’ossa ekitiibwa mu bufumbo oba okoppa Yesu. Yesu assa ekitiibwa mu bufumbo. Abafalisaayo bwe baamubuuza ebikwata ku kugattululwa, Yesu yajuliza ebigambo Katonda bye yayogera oluvannyuma lw’okugatta abafumbo abaasooka. Yagamba nti: “Omusajja kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina, era ababiri abo banaabanga omubiri gumu.” Yesu era yagamba nti: “Katonda ky’agasse awamu, omuntu yenna takyawulangamu.”—Soma Makko 10:2-12; Lub. 2:24.
4. Mutindo ki Katonda gwe yassaawo ng’atandikawo obufumbo?
4 N’olwekyo, Yesu yakiraga nti Katonda ye yatandikawo obufumbo era n’akyoleka nti bulina kuba bwa lubeerera. Katonda teyagamba Adamu ne Kaawa nti baali basobola okugattululwa. Katonda bwe yali atandikawo obufumbo, omusajja yamuwa omukazi omu n’omukazi yamuwa omusajja omu, era ng’ogwo gwe mutindo ogukwata ku bufumbo gwe yassaawo. “Ababiri” baalina kubeera wamu lubeerera.
EBINTU EBYALEETAWO ENKYUKAKYUKA EZITALI ZA LUBEERERA MU BUFUMBO
5. Okufa kukwata kutya ku bufumbo?
5 Ekibi kya Adamu kyaleetawo enkyukakyuka ez’amaanyi. Emu ku zo kwe kufa, era ekyo kyandikutte ku bufumbo. Ekyo tukirabirako ku ebyo omutume Pawulo bye yawandiika bwe yali alaga nti Abakristaayo tebali wansi w’Amateeka ga Musa. Yalaga nti omu ku bafumbo bw’afa obufumbo obwo buba bukomye era nti oyo aba asigaddewo asobola okuddamu okuwasa oba okufumbirwa.—Bar. 7:1-3.
6. Amateeka ga Musa gaalaga gatya endowooza Katonda gy’alina ku bufumbo?
6 Mu Mateeka Katonda ge yawa eggwanga lya Isirayiri mwalimu agakwata ku bufumbo. Gakkiriza omusajja okuba n’omukazi asukka mu omu, naye obufumbo ng’obwo bwali bwatandikawo dda nga ne Katonda tannawa Bayisirayiri Mateeka. Kyokka Amateeka ago gaalimu obulagirizi obwali buyamba abo abaali mu bufumbo ng’obwo obutanyigirizibwa. Ng’ekyokulabirako, singa omusajja Omuyisirayiri yabanga awasizza omuddu ate oluvannyuma n’awasa omukazi ow’okubiri, yali talina kulekayo kuwa mukyala we eyasooka mmere n’eby’okwambala, era yalinanga okumusasula ekyo ekimugwanira mu bufumbo. Katonda yali yeetaagisa omusajja oyo okukuuma omukazi oyo n’okumulabirira. (Kuv. 21:9, 10) Tetuli wansi w’Amateeka, naye Amateeka ago gatuyamba okulaba engeri Yakuwa gy’atwalamu obufumbo. Ekyo tekikuleetera kutwala bufumbo nga bwa muwendo?
7, 8. (a) Okusinziira ku Ekyamateeka 24:1, bulagirizi ki obukwata ku kugattululwa obwali mu Mateeka? (b) Yakuwa alina ndowooza ki ku kugattululwa?
7 Ate Amateeka gaayogera ki ku kugattululwa? Obufumbo Katonda yasigala ng’abutwala nga bwa muwendo nnyo, naye era waliwo embeera mwe yakkiririza abafumbo okugattululwa. (Soma Ekyamateeka 24:1.) Omusajja Omuyisirayiri yali asobola okugoba mukazi we singa yabanga “amulabyemu ekitasaana.” Amateeka tegaalaga kintu ki ekyo ekyali ‘kitasaana.’ Kiteekwa okuba nga kyali kintu kya maanyi oba ekiswaza, so si buntu obutaliimu. (Ma. 23:14) Eky’ennaku, mu kiseera kya Yesu Abayudaaya bangi baagattululwanga “ku buli nsonga yonna.” (Mat. 19:3) Tetwagala kuba na ndowooza ng’eyo gye baalina.
8 Nnabbi Malaki yalaga endowooza Katonda gy’alina ku kugattululwa. Malaki yawandiika ku nsonga eyo mu kiseera abasajja Abayudaaya we baateranga okukuusakuusa ‘abakazi ab’omu buvubuka bwabwe’ ne bagattululwa nabo oboolyawo okusobola okuwasa abakazi abato abaali batasinza Yakuwa. Okuyitira mu Malaki, Katonda yagamba nti: “Nkyawa okugattululwa.” (Mal. 2:14-16) Ekyo kikwatagana bulungi n’ebigambo bino Katonda bye yayogera oluvannyuma lw’okugatta abafumbo abaasooka: ‘Omusajja anaanywereranga ku mukazi we era banaabanga omubiri gumu.’ (Lub. 2:24) Yesu yakkaatiriza endowooza Yakuwa gy’alina ku bufumbo bwe yagamba nti: “Katonda ky’agasse awamu, omuntu yenna takyawulangamu.”—Mat. 19:6.
EKINTU KIMU KYOKKA EKISOBOLA OKUSINZIIRWAKO OKUGATTULULWA
9. Ebigambo bya Yesu ebiri mu Makko 10:11, 12 bitegeeza ki?
9 Omuntu ayinza okwebuuza, ‘Waliwo ekintu kyonna Omukristaayo ky’ayinza okusinziirako okugattululwa ne munne n’addamu okuwasa oba okufumbirwa?’ Yesu yagamba nti: “Buli agoba mukazi we n’awasa omulala, aba ayenze era aba ayisizza bubi mukazi we, era n’omukazi bw’amala okuleka bba n’afumbirwa omulala, aba ayenze.” (Mak. 10:11, 12; Luk. 16:18) Kyeyoleka lwatu nti Yesu yali assa ekitiibwa mu bufumbo era ng’ayagala n’abalala babusseemu ekitiibwa. Omusajja oba omukazi eyakolanga olukujjukujju n’agattululwa ne munne omwesigwa n’awasa oba n’afumbirwa omuntu omulala yabanga ayenze. Ekyo kiri kityo kubanga okugattululwa obugattululwa ne munne kyabanga tekitegeeza nti obufumbo bwabwe bwabanga bukomye. Mu maaso ga Katonda baabanga bakyali “omubiri gumu.” Ate era Yesu yagamba nti omusajja bwe yagattululwanga ne mukazi we omwesigwa, yateekanga omukazi oyo mu mbeera eyali eyinza okumusuula mu bwenzi. Mu ngeri ki? Omukazi oyo yabanga ayinza okuwalirizibwa okuddamu okufumbirwa okusobola okufuna obuyambi mu by’ensimbi. Mu kuyingira obufumbo ng’obwo, yabanga ayenze.
10. Kiki Omukristaayo ky’ayinza okusinziirako okugattululwa ne munne n’aba ng’asobola okuddamu okuwasa oba okufumbirwa?
10 Yesu yalaga ekintu abafumbo kye bayinza okusinziirako okugattululwa. Yagamba nti: “Buli agoba mukazi we okuggyako ng’amuvunaana gwa bwenzi [oba bugwenyufu; Oluyonaani, por·neiʹa], n’awasa omulala, aba ayenze.” (Mat. 19:9) Ensonga eyo y’emu yagyogerako bwe yali abuulira ku Lusozi. (Mat. 5:31, 32) Ku mirundi egyo gyombi Yesu yakozesa ekigambo ‘obugwenyufu.’ Ekigambo ekyo kizingiramu ebikolwa ebitali bimu eby’okwegatta wabweru w’obufumbo, nga muno mwe muli: obwenzi, obwamalaaya, abantu abatali bafumbo okwegatta, okulya ebisiyaga, n’okwegatta n’ensolo. Ng’ekyokulabirako, singa omusajja omufumbo yeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, mukazi we ayinza okusalawo okugattululwa naye oba obutagattululwa naye. Singa agattululwa naye, mu maaso ga Katonda obufumbo obwo buba bukomye.
11. Kiki ekiyinza okuleetera Omukristaayo okusalawo obutagattululwa na munne wadde nga waliwo ensonga ey’omu Byawandiikibwa kw’ayinza okusinziira okugattululwa naye?
11 Yesu teyagamba nti omu ku bafumbo bwe yeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu (por·neiʹa) kya tteeka nti baba balina okugattululwa. Ng’ekyokulabirako, omukazi ayinza okusalawo okusigala n’omwami we wadde ng’omwami we aba yeenyigidde mu bikolwa eby’obugwenyufu. Ayinza okuba ng’akyayagala mwami we; nga mwetegefu okumusonyiwa era nga mwetegefu okukolera awamu naye okutereeza obufumbo bwabwe. Ekituufu kiri nti singa omukyala agattululwa n’omwami we n’ataddamu kufumbirwa, ayinza okufuna okusoomooza okutali kumu. Ayinza okusanga obuzibu mu ngeri y’okweyimirizaawo oba okubaawo nga talina musajja. Ayinza okuwulira ekiwuubaalo. Bayinza okuba nga balina abaana era ng’okugattululwa kiyinza okukifuula ekizibu okukuliza abaana abo mu mazima. (1 Kol. 7:14) Mu butuufu, omuntu atalina musango bw’agattululwa ne munne mu bufumbo ayolekagana n’okusoomooza okw’amaanyi.
12, 13. (a) Kiki ekyaliwo mu bufumbo bwa Koseya? (b) Lwaki Koseya yakomyawo Gomeri ewuwe, era ekyo kituyigiriza ki ku bufumbo?
12 Ekyokulabirako kya nnabbi Koseya kituyamba okutegeera engeri Yakuwa gy’atwalamu obufumbo. Katonda yagamba Koseya okuwasa omukazi (Gomeri), eyandikoze ‘obwamalaaya era eyandizadde abaana mu bwamalaaya.’ Gomeri ‘yazaalira Koseya omwana ow’obulenzi.’ (Kos. 1:2, 3) Oluvannyuma Gomeri yazaala omwana ow’obuwala n’ow’obulenzi era nga kirabika bano yabazaala mu bwenzi. Wadde nga Gomeri yayenda enfunda n’enfunda, Koseya teyagattululwa naye. Oluvannyuma Gomeri yaleka Koseya n’agenda n’afuuka omuddu. Wadde kyali kityo, Koseya yamugula n’amukomyawo. (Kos. 3:1, 2) Yakuwa yakozesa ekyokulabirako kya Koseya okulaga engeri gye yasonyiwamu eggwanga lya Isirayiri enfunda n’enfunda nga lyenze mu by’omwoyo. Ekyo kituyigiriza ki?
13 Singa omu ku bafumbo ayenda, munne atayenze aba alina okusalawo. Yesu yagamba nti oyo atayenze aba alina ky’asobola okusinziirako okugattululwa ne munne, n’aba wa ddembe okuddamu okuwasa oba okufumbirwa. Ku luuyi olulala, ayinza okusalawo okumusonyiwa. Ekyo tekiba kikyamu. Koseya yakomyawo Gomeri ewuwe. Gomeri bwe yamala okukomezebwawo ewa Koseya, yali talina kwegatta na musajja mulala yenna. Koseya teyeegatta na Gomeri okumala ekiseera. (Kos. 3:3) Naye nga wayise ekiseera, Koseya ayinza okuba nga yaddamu okwegatta naye, era ng’ekyo kyalaga nti ne Yakuwa yali mwetegefu okuddamu okukolagana n’abantu be. (Kos. 1:11; 3:3-5) Ekyo kituyigiriza ki ku bufumbo leero? Singa oyo ataayenda akkiriza okuddamu okwegatta ne munne mu bufumbo kiba kiraga nti amusonyiye. (1 Kol. 7:3, 5) Ekyo bwe kibaawo aba takyalina nsonga kw’asinziira kugattululwa naye. Era bombi baba balina okukolera awamu okulaba nti baba n’endowooza Katonda gy’alina ku bufumbo.
SSA EKITIIBWA MU BUFUMBO NE BWE BUBA NGA BULIMU EBIZIBU
14. Okusinziira ku 1 Abakkolinso 7:10, 11, kiki ekiyinza okubaawo mu bufumbo?
14 Abakristaayo bonna balina okussa ekitiibwa mu bufumbo nga Yakuwa ne Yesu bwe bakola. Naye olw’okuba tetutuukiridde, abamu bayinza okulemererwa okussa ekitiibwa mu bufumbo. (Bar. 7:18-23) N’olwekyo tekitwewuunyisa nti abamu ku Bakristaayo mu kyasa ekyasooka obufumbo bwabwe bwalimu ebizibu eby’amaanyi. Pawulo yagamba nti “omukyala talekanga mwami we”; naye ekyo oluusi kyabangawo.—Soma 1 Abakkolinso 7:10, 11.
Kiki ekiyinza okutaasa obufumbo obulimu ebizibu? (Laba akatundu 15)
15, 16. (a) Abafumbo ne bwe baba n’ebizibu, kiruubirirwa ki kye basaanidde okuba nakyo era lwaki? (b) Ate watya singa omu ku bafumbo si mukkiriza?
15 Pawulo teyalaga nsonga ezaaviirangako Abakristaayo abamu okwawukana. Naye obuzibu tebuyinza kuba nga bwava ku kuba nti omu ku bo yabanga ayenze, kubanga awo munne yandibadde ne ky’asinziirako okugattululwa naye n’aba ng’asobola okuddamu okuwasa oba okufumbirwa. Pawulo yagamba nti omukazi eyabanga ayawukanye n’omwami we ‘yali talina kufumbirwa oba si ekyo yalinanga okuddiŋŋana n’omwami we.’ N’olwekyo omusajja n’omukazi abo baabanga bakyali bafumbo mu maaso ga Katonda. Pawulo yalaga nti ka kibe kizibu ki ekyabanga kizzeewo kasita kiba nti kyabanga tekizingiramu bikolwa bya bugwenyufu baalinanga okufuba okuddiŋŋana. Bombi baabanga basobola okutuukirira abakadde mu kibiina babayambe. Abakadde baalinanga okubayamba nga tebalina kyekubiira era nga bakozesa Ebyawandiikibwa.
16 Naye watya singa Omukristaayo aba ne munne mu bufumbo ataweereza Yakuwa? Bwe bafuna ebizibu mu bufumbo bwabwe, basobola okwawukana? Nga bwe twalabye, Ebyawandiikibwa biraga nti obugwenyufu ye nsonga yokka omuntu kw’ayinza okusinziira okugattululwa ne munne, naye tebiraga nsonga ziyinza kusinziirwako kwawukana. Pawulo yagamba nti: “Omukyala alina omwami atali mukkiriza era ng’omwami oyo mwetegefu okuba naye, tamulekanga.” (1 Kol. 7:12, 13) Bwe kityo bwe kirina okuba ne mu kiseera kyaffe.
17, 18. Lwaki Abakristaayo abamu basazeewo okusigala mu bufumbo wadde nga bulimu ebizibu?
17 Kyo kituufu nti wabaawo embeera ezimu “omwami atali mukkiriza” mw’akiragira nti si ‘mwetegefu kuba na mukyala we.’ Omwami oyo ayinza okuba ng’ayisa bubi nnyo mukyala we n’atuuka n’okumutuusaako obulabe oba okussa obulamu bwe mu kabi. Ayinza okugaana okumulabirira awamu n’abalala abali mu maka ge oba okumugaana okuweereza Yakuwa. Mu mbeera ng’ezo Abakristaayo abamu basazeewo okwawukana ne bannaabwe kubanga bakirabye nti bannaabwe ‘si beetegefu kuba nabo.’ Naye Abakristaayo abalala abayita mu mbeera ng’ezo tebaawukanye na bannaabwe wabula bazigumidde era ne bafuba okubaako kye bakolawo okusobola okutereeza embeera. Lwaki?
18 Omusajja n’omukazi bwe baawukana basigala bakyali bafumbo. Era singa buli omu aba abeera yekka, boolekagana n’okusomooza nga bwe tulabye waggulu. Omutume Pawulo yawa ensonga endala lwaki abafumbo bandifubye okusigala nga bali wamu. Yagamba nti: “Omukyala atali mukkiriza atukuzibwa lwa wa luganda; singa tekyali bwe kityo abaana bammwe tebandibadde balongoofu, naye kaakano batukuvu.” (1 Kol. 7:14) Abakristaayo bangi abeesigwa basigadde ne bannaabwe mu bufumbo abatali bakkiriza ne mu mbeera enzibu ennyo. Mu kukola ekyo, oluusi kiviiriddeko bannaabwe okufuuka abaweereza ba Yakuwa.—Soma 1 Abakkolinso 7:16; 1 Peet. 3:1, 2.
19. Lwaki ekibiina Ekikristaayo kirimu abafumbo bangi abasanyufu?
19 Yesu yayogera ku kugattululwa ate Pawulo n’ayogera ku kwawukana. Bombi baali baagala abaweereza ba Katonda babe nga bassa ekitiibwa mu bufumbo. Leero ekibiina Ekikristaayo kirimu abafumbo bangi abasanyufu. Ekyo oyinza okuba nga naawe okiraba mu kibiina kyo. Ab’oluganda bangi baagala bakyala baabwe ne bannyinaffe bangi baagala abaami baabwe, ekiraga nti bassa ekitiibwa mu bufumbo. Kituleetera essanyu okukiraba nti bangi leero bakolera ku bigambo bya Yakuwa bino: “Omusajja kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina n’anywerera ku mukazi we, era ababiri abo banaabanga omubiri gumu.”—Bef. 5:31, 33.