LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • bt sul. 4 lup. 31-39
  • ‘Tebaali Bayigirize era Baali Bantu ba Bulijjo’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • ‘Tebaali Bayigirize era Baali Bantu ba Bulijjo’
  • ‘Okuwa Obujulirwa Obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda mu Bujjuvu’
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Si ‘lwa Maanyi Gaffe’ (Bik. 3:11-26)
  • “Tetuyinza Kulekera awo Kwogera” (Bik. 4:1-22)
  • ‘Baasabira Wamu Katonda’ (Bik. 4:23-31)
  • Baali Tebavunaanyizibwa eri Bantu Wabula eri Katonda (Bik. 4:32–5:11)
  • Yayigira ku Mukama We Okusonyiwa
    Koppa Okukkiriza Kwabwe
  • Yayigira ku Mukama We Okusonyiwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Yalwanyisa Okutya n’Okubuusabuusa
    Koppa Okukkiriza Kwabwe
  • Yanywerera ku Yesu Wadde nga Yafuna Ebigezo Bingi
    Koppa Okukkiriza Kwabwe
See More
‘Okuwa Obujulirwa Obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda mu Bujjuvu’
bt sul. 4 lup. 31-39

ESSUULA 4

‘Tebaali Bayigirize era Baali Bantu ba Bulijjo’

Abatume baayoleka obuvumu era Yakuwa yabawa emikisa

Byesigamiziddwa ku Ebikolwa 3:1–5:11

1, 2. Kyamagero ki Peetero ne Yokaana kye baakola okumpi n’omulyango gwa yeekaalu?

ABANTU bangi ab’eddiini y’Ekiyudaaya n’abagoberezi ba Kristo beekuluumulula nga bajja mu luggya lwa yeekaalu, era akasana keememula. ‘Essaawa ey’okusabiramu’a eneetera okutuuka. (Bik. 2:46; 3:1) Peetero ne Yokaana nabo bali mu bantu abo era bayita mu mulyango gwa yeekaalu oguyitibwa Omulungi. Mu maloboozi g’abantu abangi abayitawo wabaawo eddoboozi erimu eriyitamu. Eddoboozi eryo lya musajja asabiriza, eyazaalibwa nga mulema.​—Bik. 3:2; 4:22.

2 Peetero ne Yokaana bwe basembera, omusajja oyo abasaba ssente ng’enkola ye eya bulijjo bw’eri. Abatume bayimirira era omusajja abatunuulira ng’alina essuubi nti bajja kubaako kye bamuwa. Kyokka Peetero agamba nti: “Ffeeza ne zzaabu sibirina, naye kye nnina kye nkuwa. Mu linnya lya Yesu Kristo Omunnazaaleesi, tambula!” Abantu abaliwo bawuniikirira nnyo bwe balaba Peetero ng’akutte omukono gw’omusajja oyo, era omusajja oyo omulema n’ayimirira omulundi gwe ogusookedde ddala mu bulamu bwe! (Bik. 3:6, 7) Lowooza ku ngeri omusajja oyo gye yeewuliramu bw’atunuulira amagulu ge n’ebigere bye ebiwonyezeddwa, era n’atandika okutambula! Tekyewuunyisa nti atandika okubuukabuuka n’okuleekaanira waggulu ng’atendereza Katonda!

3. Kirabo ki eky’omuwendo ennyo omusajja eyali awonyezeddwa awamu n’abantu abalala kye baali bayinza okufuna?

3 Abantu abawuniikiridde ennyo bagenda awali Peetero ne Yokaana mu lukuubo lwa Sulemaani. Wano wennyini, lumu Yesu we yayimirira n’ayigiriza abantu. Peetero abategeeza amakulu g’ekyamagero ekyo ekibaddewo. (Yok. 10:23) Awa abantu abo awamu n’omusajja eyaakawonyezebwa ekirabo ekisingira ewala ffeeza ne zzaabu. Ekirabo ekyo kisingira wala okuwonyezebwa mu mubiri. Ekirabo ky’abawa ke kakisa k’okwenenya, ebibi byabwe bisangulibwe era bafuuke abagoberezi b’oyo Yakuwa gwe yalonda, “omubaka Omukulu ow’obulamu,” Yesu Kristo.​—Bik. 3:15.

4. (a) Okuwonyezebwa kw’omusajja eyali omulema kwaviirako ki? (b) Bibuuzo ki ebibiri bye tugenda okuddamu?

4 Olunaku olwo nga lwaliko ebintu ebikulu! Omuntu omu eyali omulema yawonyezebwa mu mubiri n’atandika okutambula. Ate abalala nkumi na nkumi baaweebwa akakisa okuwonyezebwa mu by’omwoyo basobole okutambula nga bwe kisaanira mu maaso ga Katonda. (Bak. 1:9, 10) Ate era ebyo ebyali bibaddewo ku lunaku olwo bye byaviirako ab’obuyinza okutandika okulemesa abagoberezi ba Kristo abeesigwa okukola omulimu Yesu gwe yabawa ogw’okubuulira obubaka bw’Obwakabaka. (Bik. 1:8) Kiki kye tuyigira ku ngeri Peetero ne Yokaana gye baawaamu abantu obujulirwab wadde nga baali batwalibwa ‘ng’abataali bayigirize era abantu aba bulijjo?’ (Bik. 4:13) Tuyinza tutya okukoppa engeri Peetero ne Yokaana, awamu n’abayigirizwa abalala gye beeyisaamu nga bayigganyizibwa?

Si ‘lwa Maanyi Gaffe’ (Bik. 3:11-26)

5. Kiki kye tuyigira ku ngeri Peetero gye yayogeramu eri ekibiina ky’abantu?

5 Peetero ne Yokaana baayimirira mu maaso g’ekibiina ky’abantu, nga bakimanyi bulungi nti abamu ku bantu abo bayinza okuba nga be bamu ku baasaakaanya nti Yesu attibwe. (Mak. 15:8-15; Bik. 3:13-15) Lowooza ku buvumu Peetero bwe yayoleka bwe yagamba nti omusajja oyo eyali omulema yali awonyezeddwa mu linnya lya Yesu. Peetero yabuulira abantu amazima. Yabagamba nti baali bavunaanyizibwa ku kufa kwa Kristo. Naye Peetero teyanyiigira bantu abo kubanga ekyo ‘baakikola mu butamanya.’ (Bik. 3:17) Bwe yali ayogera nabo, yabayita baganda be era n’abalaga omuganyulo gwe bandifunye bwe bandikkirizza obubaka bw’Obwakabaka. Bwe bandyenenyezza ne bakkiririza mu Kristo, Yakuwa yandibawadde “ekiwummulo.” (Bik. 3:19) Naffe tusaanidde okuba abavumu ne tutatya kwogera mazima nga tutegeeza abantu ku musango Katonda gwe yasala. Tusaanidde okuba n’ekisa, n’okwewala okusalira abalala omusango. Abo be tubuulira tusaanidde okubatwala ng’abasobola okufuuka baganda baffe ab’eby’omwoyo, era okufaananako Peetero, essira tusaanidde kulissa ku miganyulo abantu gye basobola okufuna nga bawulirizza obubaka bw’Obwakabaka.

6. Peetero ne Yokaana baayoleka batya obwetoowaze?

6 Abatume baali beetoowaze nnyo. Tebaagamba nti ekyamagero baali bakikoze mu maanyi gaabwe. Peetero yagamba ekibiina ky’abantu nti: “Lwaki mututunuulira nga muwuniikiridde olwa kino, nga gy’obeera nti asobodde okutambula olw’amaanyi gaffe oba olw’okuba twemalira ku Katonda?” (Bik. 3:12) Peetero n’abatume abalala baali bakimanyi nti ekintu kyonna ekirungi kye baasobola okukola mu buweereza bwabwe, baakikola olw’amaanyi ga Katonda, so si olw’obusobozi bwabwe. N’olw’ensonga eyo, mu buli kimu kye baakolanga mu buweereza bwabwe, baakiraganga nti Yakuwa ne Yesu be bagwanidde okutenderezebwa.

7, 8. (a) Kirabo ki kye tusobola okuwa abantu? (b) Ekisuubizo ekikwata ku ‘kuzza obuggya ebintu byonna’ kituukirizibwa kitya leero?

7 Naffe tusaanidde okuba abeetoowaze nga twenyigira mu mulimu gw’okubuulira amawulire g’Obwakabaka. Kyo kituufu nti leero omwoyo omutukuvu tegusobozesa Bakristaayo kuwonya bantu mu ngeri ey’ekyamagero. Wadde kiri kityo, tusobola okuyamba abantu okutandika okukkiririza mu Katonda ne Kristo, ne bafuna ekirabo kye kimu Peetero kye yategeeza abantu abaali bamuwuliriza. Ekirabo kino kwe kwenenya, ebibi byabwe bisangulibwe, Yakuwa abawe ekiwummulo. Buli mwaka abantu nkumi na nkumi bakkiriza ekirabo ekyo ne bafuuka abayigirizwa ba Kristo ababatize.

8 Mu butuufu, tuli mu biseera Peetero bye yayogerako “eby’okuzza obuggya ebintu byonna.” Obwakabaka bwa Katonda bwatandika okufuga mu ggulu mu 1914, era ng’ekyo kyatuukiriza ebyo “Katonda bye yayogera ng’ayitira mu bannabbi be abatukuvu ab’edda.” (Bik. 3:21; Zab. 110:1-3; Dan. 4:16, 17) Waayita akaseera katono, Kristo n’atandika okulabirira omulimu gw’okuzzaawo okusinza okw’amazima ku nsi. N’ekivuddemu, abantu bangi nnyo bazze mu lusuku olw’eby’omwoyo, era bafugibwa Obwakabaka bwa Katonda. Beeyambuddeko omuntu ow’edda ne bambala “omuntu omuggya eyatondebwa nga Katonda bw’ayagala.” (Bef. 4:22-24) Nga bwe kyali ku kuwonyezebwa kw’omusajja omulema eyali asabiriza, omulimu guno tetugukola mu maanyi gaffe, wabula omwoyo gwa Katonda gwe gutusobozesa okugukola. Okufaananako Peetero, tusaanidde okuba abavumu era n’okukozesa obulungi Ekigambo kya Katonda nga tuyigiriza. Abo bonna be tuyamba okufuuka abagoberezi ba Kristo tetubayamba mu maanyi gaffe, wabula omwoyo gwa Katonda gwe gutusobozesa okubayamba.

“Tetuyinza Kulekera awo Kwogera” (Bik. 4:1-22)

9-11. (a) Obubaka Peetero ne Yokaana bwe baali babuulira bwakwata butya ku bakulembeze b’Abayudaaya? (b) Kiki abatume kye baamalirira okukola?

9 Waaliwo akajagalalo olw’ebyo Peetero bye yayogera, n’olw’okuba nti omusajja eyali awonyezeddwa yali abuukabuuka era ng’ayogerera waggulu. Ekyo kyaviirako omukulu w’abakuumi ba yeekaalu eyali yassibwawo okulaba nti yeekaalu ebaamu obutebenkevu, ne bakabona abakulu, okujja okulaba ogubadde. Abasajja abo kirabika baali ba mu kabiina k’Abasaddukaayo akaali akagagga era nga ka maanyi nnyo mu by’obufuzi. Kaafubanga okulaba nti wabaawo emirembe wakati w’Abayudaaya n’Abaruumi. Abasaddukaayo baali tebakkiririza mu mateeka n’obulombolombo Abafalisaayo bye baali baagala ennyo, era baali tebakkiriza nti eriyo okuzuukira.c Nga kiteekwa okuba nga kyabayisa bubi nnyo okusanga Peetero ne Yokaana mu yeekaalu nga babuulira n’obuvumu nti Yesu yazuukira!

10 Abasajja abo abaali abanyiivu baakwata Peetero ne Yokaana ne babasiba mu kkomera, era enkeera ne babatwala mu kkooti y’Abayudaaya enkulu. Abasajja abo abaali beetwala okuba aba waggulu baali batwala Peetero ne Yokaana okuba abantu ‘abatali bayigirize era aba bulijjo,’ era nti n’olw’ensonga eyo tebaalina buyinza kuyigiriza mu yeekaalu. Peetero ne Yokaana baali tebaayigirizibwa mu masomero ga bya ddiini. Kyokka okuba nti baali boogera tebaliimu kutya kwonna era nga beekakasa, kyaleetera abo abaali babawozesa mu kkooti okubeewuunya. Lwaki Peetero ne Yokaana baali boogezi balungi? Ensonga emu eri nti “baabeeranga ne Yesu.” (Bik. 4:13) Mukama waabwe Yesu yayigirizanga ng’omuntu alina obuyinza so si ng’Abawandiisi.​—Mat. 7:28, 29.

11 Kkooti yalagira abatume okulekera awo okubuulira. Mu kiseera ekyo kkooti eyo yalina obuyinza bungi nnyo. Wiiki ntono emabega Yesu bwe yaleetebwa mu kkooti eyo, abalamuzi baayo baagamba nti yali “agwanidde okufa.” (Mat. 26:59-66) Wadde kyali kityo, Peetero ne Yokaana tebaatya. Nga Peetero ne Yokaana bayimiridde mu maaso g’abasajja abo abaali abagagga, abayivu, era abatutumufu, baayogera n’obuvumu naye mu ngeri eraga nti baali babassaamu ekitiibwa. Baabagamba nti: “Bwe kiba nga kituufu mu maaso ga Katonda okuwulira mmwe mu kifo ky’okuwulira Katonda, mwesalirewo. Naye ffe tetuyinza kulekera awo kwogera ku bintu bye twalaba ne bye twawulira.”​—Bik. 4:19, 20.

KABONA ASINGA OBUKULU NE BAKABONA ABAKULU

Kabona asinga obukulu ye yalinga akulemberamu abantu mu kusinza Katonda mu kyasa ekyasooka, era ye yali akulira Olukiiko Olukulu olw’Abayudaaya. Yalinga akolera wamu ne bakabona abakulu, nabo abaali abakulembeze b’Abayudaaya. Mu bakabona abakulu mwe mwali abo ababanga baaweerezaako nga bakabona abasinga obukulu, gamba nga Anaasi, n’abasajja abalala abakulu okuva mu nnyumba nga nnya oba ttaano, omwalondebwanga kabona asinga obukulu. Omwekenneenya ayitibwa Emil Schürer agamba nti: ‘Okuba nti kabona asinga obukulu yalondebwanga mu nnyumba zimu na zimu, kyafuulanga bakabona okuba ab’ebitiibwa.’

Ebyawandiikibwa biraga nti omuntu yaweerezanga nga kabona asinga obukulu okutuusa lwe yafanga. (Kubal. 35:25) Naye mu kiseera ebintu ebyogerwako mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume we byabeererawo, bagavana Abaruumi ne bakabaka abaafugiranga wansi wa Rooma, be baalondanga oba be baggyangako kabona asinga obukulu nga bwe baabanga baagadde. Kyokka kirabika abafuzi abo abaali batasinza Yakuwa baalondanga kabona asinga obukulu okuva mu bakabona ab’omu lunyiriri lwa Alooni.

12. Kiki ekiyinza okutuyamba okuba abavumu n’okwogera nga twekakasa?

12 Naawe osobola okwoleka obuvumu ng’obwo? Owulira otya bw’ofuna akakisa okubuulira omuntu omugagga, omuyivu, oba omututumufu abeera mu kitundu kyo? Watya singa ab’eŋŋanda zo, bayizi banno, oba bakozi banno, bakujerega olw’ebyo by’okkiririzaamu? Ekyo kyandikutiisizza? Bwe kiba kityo, oyinza okuvvuunuka okutya okwo. Yesu bwe yali ku nsi, yayigiriza abatume be engeri gye baali bayinza okunnyonnyola abalala ebyo bye baali bakkiririzaamu, ng’ekyo bakikola mu ngeri eraga nti babassaamu ekitiibwa era nga boogera beekakasa. (Mat. 10:11-18) Yesu bwe yazuukira, yasuubiza abayigirizwa be nti yandyeyongedde okuba nabo “ennaku zonna okutuusa ku mafundikira g’enteekateeka y’ebintu.” (Mat. 28:20) Ng’akolera ku bulagirizi bwa Yesu, “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” atuyigiriza engeri gye tuyinza okunnyonnyolamu abalala ebyo bye tukkiririzaamu. (Mat. 24:45-47; 1 Peet. 3:15) Ekyo akikola okuyitira mu bulagirizi obutuweebwa mu nkuŋŋaana, gamba ng’olw’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe, n’okuyitira mu bitabo ebinnyonnyola Bayibuli ne mu bitundu ebifulumira ku mukutu gwaffe jw.org, gamba ng’ekyo ekirina omutwe “Ebibuuzo Bayibuli by’Eddamu.” Ofuba okukolera ku bulagirizi obutuweebwa? Bw’oba ng’ofuba okubukolerako, ojja kweyongera okuba omuvumu n’okwogera nga weekakasa. Okufaananako abatume, tojja kukkiriza kintu kyonna kukulemesa kwogera ku mazima g’oyize.

Mwannyinaffe ng’abuulira mukozi munne mu kiseera eky’okuwummulamu.

Tokkirizanga kintu kyonna kukulemesa kwogera ku mazima g’oyize

‘Baasabira Wamu Katonda’ (Bik. 4:23-31)

13, 14. Bwe tuba nga twolekagana n’okuyigganyizibwa oba okuziyizibwa, kiki kye tusaanidde okukola, era lwaki?

13 Peetero ne Yokaana olwali okuteebwa, baagenda ne bakuŋŋaana wamu n’ab’oluganda abalala. Bonna ‘baasabira wamu Katonda’ abawe obuvumu beeyongere okubuulira. (Bik. 4:24) Peetero yali akimanyi bulungi nti kya kabi omuntu okwesigama ku busobozi bwe ng’akola omulimu gwa Katonda. Wiiki ntono emabega, yeekakasa ekisukkiridde n’agamba Yesu nti: “Wadde abalala bonna baneesittala olw’ekyo ekigenda okukutuukako, nze sijja kwesittala!” Kyokka nga Yesu bwe yali agambye, mu kiseera kitono Peetero yatya abantu ne yeegaana mukwano gwe era omuyigiriza we. Naye Peetero yayigira ku nsobi ye.​—Mat. 26:33, 34, 69-75.

14 Okuba omumalirivu kyokka si kye kijja okukuyamba okutuukiriza omulimu ogw’okuwa obujulirwa ku Kristo. Singa abalala bagezaako okunafuya okukkiriza kwo oba okukulemesa okubuulira, koppa ekyokulabirako kya Peetero ne Yokaana. Saba Yakuwa akuwe amaanyi, era noonya obuyambi mu kibiina. Buulira abakadde n’Abakristaayo abalala abakulu mu by’omwoyo obuzibu bw’oyolekagana nabwo. Essaala z’abalala zituyamba nnyo nga twolekagana n’ebitusoomooza.​—Bef. 6:18; Yak. 5:16.

15. Lwaki abo lumu abaalekera awo okubuulira olw’okutya abantu tebasaanidde kuggwaamu maanyi?

15 Bwe kiba nti waliwo lwe walekera awo okubuulira olw’okutya abantu, toggwaamu maanyi. Kijjukire nti Yesu bwe yafa, abatume bonna baalekera awo okubuulira okumala ekiseera, naye oluvannyuma bonna baddamu okukola omulimu gw’okubuulira. (Mat. 26:56; 28:10, 16-20) Mu kifo ky’okukkiriza ensobi ze wakola mu biseera eby’emabega okukumalamu amaanyi, osobola okubaako ky’oziyigirako, era ekyo ky’oziyigirako n’okikozesa okuzzaamu abalala amaanyi?

16, 17. Biki bye tuyigira ku ssaala abagoberezi ba Kristo abaali mu Yerusaalemi gye baasaba?

16 Kiki kye tusaanidde okusaba Yakuwa ng’ab’obuyinza batuyigganya? Weetegereze nti abayigirizwa tebaasaba Yakuwa abayambe baleme kugezesebwa. Baali bajjukira bulungi ebigambo bya Yesu bino: “Bwe baba nga nze banjigganyizza, nammwe bajja kubayigganya.” (Yok. 15:20) N’olwekyo, abayigirizwa abo abeesigwa baasaba Yakuwa ‘alabe okutiisatiisa’ kw’abalabe baabwe. (Bik. 4:29) Abayigirizwa abo baali bakimanyi nti okuba nti baali bayigganyizibwa, kyali kituukiriza obunnabbi. Era baali bajjukira nti Yesu yabayigiriza okusaba nti Katonda by’ayagala “bikolebwe mu nsi,” ka kibe ki abafuzi b’abantu kye bayinza okukola oba okwogera.​—Mat. 6:9, 10.

17 Okusobola okukola ekyo Katonda ky’ayagala, abayigirizwa baasaba Yakuwa nti: “Sobozesa abaddu bo okweyongera okwogera ekigambo kyo n’obuvumu.” Kiki Yakuwa kye yakola amangu ddala? Bayibuli egamba nti: “Ekifo kye baali bakuŋŋaaniddemu ne kikankana, bonna ne bajjula omwoyo omutukuvu ne boogera ekigambo kya Katonda n’obuvumu.” (Bik. 4:29-31) Tewali kiyinza kulemesa Katonda by’ayagala okukolebwa. (Is. 55:11) Ka kibe nti ekintu kirabika ng’ekitasoboka, oba abalabe baffe ka babe ba maanyi batya, bwe tusaba Katonda, tusobola okuba abakakafu nti ajja kutuwa amaanyi ge twetaaga okusobola okweyongera okubuulira ekigambo kye n’obuvumu.

Baali Tebavunaanyizibwa eri Bantu Wabula eri Katonda (Bik. 4:32–5:11)

18. Biki abo abaali mu kibiina ky’e Yerusaalemi bye baakola okusobola okuyambagana?

18 Mu kiseera kitono, ekibiina ekyali kyakatandikibwawo mu Yerusaalemi kyeyongera okukula, era omuwendo gw’abaakirimu gwali gusukka mu bantu 5,000.d Wadde ng’embeera z’abayigirizwa abo zaali za njawulo, bonna “baali bassa kimu.” Baali bumu mu ndowooza ne mu kigendererwa. (Bik. 4:32; 1 Kol. 1:10) Ng’oggyeeko okuba nti abayigirizwa abo baasaba Yakuwa awe omukisa okufuba kwabwe, waliwo ekintu ekirala kye baakola. Baayambagananga mu by’omwoyo, era we kyabanga kyetaagisa, baayambagananga ne mu by’omubiri. (1 Yok. 3:16-18) Ng’ekyokulabirako, omuyigirizwa Yusufu, abatume gwe baali baakazaako Balunabba, yatunda ekibanja kye era ssente ezaavaamu zonna n’aziwaayo ziyambe abayigirizwa abapya abaali bavudde mu bitundu eby’ewala, basobole okusigala mu Yerusaalemi beeyongere okuyigirizibwa.

19. Lwaki Yakuwa yatta Ananiya ne Safira?

19 Omusajja eyali ayitibwa Ananiya, ne mukyala we Safira nabo baatunda ekibanja ne babaako ssente ze bawaayo. Beefuula okuba nti baali bawaddeyo ssente zonna ze baali batunze mu kibanja, kyokka ng’ekituufu kyali nti ‘ssente ezimu baaziggyako ne bazitereka.’ (Bik. 5:2) Yakuwa yattirawo Ananiya ne Safira. Teyabatta lwa kuba nti ssente ze baawaayo zaali tezimala, wabula lwa kuba nti ekigendererwa kye baalina nga bawaayo ssente ezo kyali kibi, era baali balimba. Baali ‘tebalimbye bantu wabula baali balimbye Katonda.’ (Bik. 5:4) Okufaananako bannanfuusi Yesu be yavumirira, Ananiya ne Safira baali baagala nnyo abantu okubawa ekitiibwa mu kifo ky’okusiimibwa Katonda.​—Mat. 6:1-3.

20. Twandibadde na kigendererwa ki nga tubaako kye tuwaayo eri Yakuwa?

20 Okufaananako abayigirizwa ba Yesu mu kyasa ekyasooka abaali mu Yerusaalemi abaayoleka omwoyo omugabi, abaweereza ba Yakuwa bukadde na bukadde leero bawagira omulimu gw’okubuulira ogukolebwa mu nsi yonna nga babaako bye bawaayo kyeyagalire. Tewali n’omu awalirizibwa kuwaayo biseera bye oba ssente ze okuwagira omulimu guno. Mu butuufu, Yakuwa tayagala tumuweereze lwa nnaakola ntya, oba olw’okukakibwa obukakibwa. (2 Kol. 9:7) Yakuwa ky’atwala ng’ekikulu si bwe bungi bw’ekyo kye tuba tuwaddeyo, wabula ekigendererwa kye tuba nakyo nga tuwaayo. (Mak. 12:41-44) Tetwagala kuba nga Ananiya ne Safira abaali baweereza Katonda olw’okwagala okwenoonyeza ebyabwe ku bwabwe, oba olw’okwagala okwenoonyeza ebitiibwa. Okufaananako Peetero, Yokaana, ne Balunabba, ka bulijjo tuweereze Yakuwa olw’okuba tumwagala, era olw’okuba twagala ne bantu bannaffe.​—Mat. 22:37-40.

PEETERO​—EYALI OMUVUBI YAFUUKA OMUTUME OMUNYIIKIVU ENNYO

Mu Byawandiikibwa, Peetero ayitibwa amannya ataano. Amanyiddwa nga Simiyoni, erinnya ery’Olwebbulaniya, era ng’erinnya eryo mu Luyonaani ye Simooni. Ate era ayitibwa Keefa, erinnya ery’Olulamayiki, era ng’erinnya eryo mu Luyonaani ye Peetero. Ate mu byawandiikibwa ebimu ayitibwa Simooni Peetero.​—Mat. 10:2; Yok. 1:42; Bik. 15:14.

Omutume Peetero ng’asitudde ekisero ky’ebyennyanja.

Peetero yali musajja mufumbo era maama wa mukyala we awamu ne Andereya muganda we nabo baabeeranga mu maka ge. (Mak. 1: 29-31) Yali muvubi era ng’abeera Besusayida, akabuga akaali ebukiikakkono w’ennyanja y’e Ggaliraaya. (Yok. 1: 44) Oluvannyuma yagenda n’abeera okumpi ne Kaperunawumu. (Luk. 4:31, 38) Yesu bwe yali ayogera n’ekibiina ky’abantu abaali bakuŋŋaanidde ku lubalama lwe nnyanja y’e Ggaliraaya, yatuula mu lyato lya Peetero. Oluvannyuma lwa Yesu okumulagira ye ne banne okusuula obutimba bwabwe mu nnyanja, Peetero yakwasa ebyennyanja bingi nnyo mu ngeri ey’ekyamagero. Peetero yatya nnyo era n’afukamira mu maaso ga Yesu, naye Yesu yamugamba nti: “Totya. Okuva leero ojja kuvubanga bantu.” (Luk. 5:1-11) Peetero yavubiranga wamu ne muganda we Andereya, awamu ne Yakobo, ne Yokaana. Bonna abana Yesu bwe yabayita okufuuka abagoberezi be, baaleka bizineesi yaabwe ey’okuvuba n’okutunda ebyennyanja ne bamugoberera. (Mat. 4:18-22; Mak. 1:16-18) Nga wayise omwaka nga gumu, Peetero yali omu ku ‘batume 12’ Yesu be yalonda.​—Mak. 3:13-16.

Emirundi egimu Yesu yalondanga Peetero, Yakobo, ne Yokaana okutambula naye. Abasatu abo baalaba Yesu ng’afuusibwa, ng’azuukiza muwala wa Yayiro, era baali naye bwe yali mu kaseera akazibu mu nnimiro ye Gesusemane. (Mat. 17:1, 2; 26:36-46; Mak. 5:22-24, 35-42; Luk. 22:39-46) Era abasatu abo awamu ne Andereya be baabuuza Yesu ebikwata ku kabonero ak’okubeerawo kwe.​—Mak. 13:1-4.

Peetero yali muntu ateemotyamotya, omujagujagu, era oluusi eyayogeranga nga tasoose kulowooza. Kirabika emirundi mingi ye yasookanga banne okubaako ky’ayogera. Ebitabo by’Enjiri birimu ebigambo bya Peetero bingi okusinga eby’abatume 11 bonna awamu. Peetero yabuuzanga ebibuuzo nga banne basirise. (Mat. 15:15; 18:21; 19:27-29; Luk. 12:41; Yok. 13:36-38) Yesu bwe yali anaaza abatume ebigere, Peetero yasooka n’agaana okumunaaza. Naye Yesu bwe yamuwabula, yasaba Yesu amunaaze n’emikono n’omutwe!​—Yok. 13:5-10.

Olw’okuba Peetero yali ayagala nnyo Yesu era nga tayagala atuukibweko kabi, yamugamba yeesaasire aleme okubonyaabonyezebwa n’okuttibwa. Yesu yamuwabula olw’endowooza eyo etaali nnungi. (Mat. 16:21-23) Mu kiro Yesu kye yasembayo okuba n’Abatume be, Peetero yagamba nti abatume abalala bonna ne bwe bandyabulidde Yesu, ye yali tayinza kumwabulira. Abalabe ba Yesu bwe baamukwata, Peetero yayoleka obuvumu n’agezaako okulwanirira Yesu ng’akozesa ekitala, era oluvannyuma yamugoberera okutuukira ddala mu luggya lwa kabona asinga obukulu. Kyokka waayita ekiseera kitono Peetero ne yeegaana mukama we emirundi esatu, era oluvannyuma yakaaba nnyo bwe yategeera ekibi kye yali akoze.​—Mat. 26:31-35, 51, 52, 69-75.

Nga wayise ekiseera kitono nga Yesu amaze okuzuukira naye nga tannalabikira batume be mu Ggaliraaya, Peetero yagamba abatume be yali nabo nti yali agenda kuvuba era nabo baamwegattako. Bwe baali ku nnyanja Peetero n’akitegeera nti omuntu gwe baali balengera ku lukalu yali Yesu, yebbika mu mazzi n’awuga okugenda ku lukalu. Bwe baali balya ebyennyanja Yesu bye yali akaliridde, Yesu yabuuza Peetero obanga yali amwagala okusinga “bino,” kwe kugamba, ebyennyanja ebyali mu maaso gaabwe. Mu kumubuuza bw’atyo, Yesu yali akubiriza Peetero okusalawo okumugoberera ekiseera kyonna, mu kifo ky’okukola omulimu gw’okuvuba n’okutundanga ebyennyanja.​—Yok. 21:1-22.

Awo nga mu 62-64 E.E., Peetero yabuulira amawulire amalungi mu Babulooni, ekitundu leero ekisangibwa mu Iraq, ekyalimu Abayudaaya abangi. (1 Peet. 5:13) Eyo mu Babulooni Peetero gye yawandiikira ebbaluwa ye esooka era oboolyawo n’ey’okubiri, era ng’ebbaluwa ezo zombi ziyitibwa erinnya lye. Yesu yawa Peetero “obuyinza okuba omutume eri abakomole.” (Bag. 2:8, 9) Omulimu ogwo Peetero yagukola n’obunyiikivu naye mu ngeri ey’ekisa.

YOKAANA​—OMUYIGIRIZWA YESU GWE YALI AYAGALA ENNYO

Omutume Yokaana yali mutabani wa Zebedaayo era yali muganda w’omutume Yakobo. Kirabika maama we yali Saalome, era kiyinzika okuba nga yali muganda wa Maliyamu maama wa Yesu. (Mat. 10:2; 27:55, 56; Mak. 15:40; Luk. 5:9, 10) N’olwekyo, Yokaana ayinza okuba nga yalina oluganda ku Yesu. Kirabika amaka Yokaana mwe yali ava gaali bulungi mu byenfuna. Bizineesi ya Zebedaayo ey’ebyennyanja yali nnene ne kiba nti yakozesanga n’abapakasi. (Mak. 1:20) Saalome yatambulanga ne Yesu, yamuweerezanga bwe yali mu Ggaliraaya, era oluvannyuma yaleeta eby’akaloosa eby’okuteeka ku mulambo gwa Yesu. (Mak. 16:1; Yok. 19:40) Kirabika Yokaana yalina ennyumba eyiye ku bubwe.​—Yok. 19:26, 27.

Omutume Yokaana ng’akutte omuzingo.

Kirabika Yokaana ye muyigirizwa wa Yokaana Omubatiza eyali ayimiridde ne Andereya Yokaana Omubatiza bwe yatunuulira Yesu n’agamba nti: “Laba Omwana gw’Endiga owa Katonda!” (Yok. 1:35, 36, 40) Oluvannyuma lw’okuwulira ebigambo ebyo, kirabika Yokaana mutabani wa Zebedaayo yagenda ne Yesu e Kaana era yalaba ekyamagero Yesu kye yasooka okukola. (Yok. 2:1-11) Engeri Yokaana gye yawandiika ku ebyo Yesu bye yakola mu Yerusaalemi, mu Samaliya, ne mu Ggaliraaya, eraga nti yalingawo nga bikolebwa era yabiraba. Yesu bwe yayita Yokaana okuba omuyigirizwa we, okufaananako Yakobo, Peetero, ne Andereya, Yokaana yalekawo obutimba bwe, eryato lye, n’omulimu ogwali gumuyimirizaawo n’agoberera Yesu. Ekyo kiraga nti yalina okukkiriza okw’amaanyi.​—Mat. 4:18-22.

Yokaana tayogerwako nnyo nga Peetero mu bitabo by’Enjiri. Kyokka Yokaana naye yali teyeemotyamotya. Kino kyeyolekera ku linnya Yesu lye yamuwa ye ne muganda we Yakobo. Yabatuuma Bowanerege, ekitegeeza, ‘Abaana ab’Okubwatuka.’ (Mak. 3:17) Mu kusooka Yokaana yali ayagala nnyo ebitiibwa ne kiba nti ye ne muganda we baagamba maama waabwe agambe Yesu abawe ebifo eby’oku mwanjo mu Bwakabaka bwe. Wadde ng’ekyo kye baasaba kyalaga nti baali beefaako bokka, naye era kyalaga nti baali bakkiririza mu Bwakabaka. Ekyo Yakobo ne Yokaana kye baasaba kyaviirako Yesu okuyigiriza abatume be bonna obukulu bw’okuba abeetoowaze.​—Mat. 20:20-28.

Waliwo ebintu ebitali bimu Yokaana bye yakola ebyalaga nti yali teyeemotyamotya era nga teyeerya ntama. Ng’ekyokulabirako, lumu yagezaako okuziyiza omusajja ataali muyigirizwa wa Yesu okugoba dayimooni mu linnya lya Yesu. Ate olulala Yokaana yayagala omuliro gukke okuva mu ggulu gusaanyeewo abantu ab’omu kyalo ekimu eky’e Samaliya olw’okugaana okusembeza ababaka Yesu be yatuma okumuteekerateekera. Emirundi egyo gyonna Yesu yanenya Yokaana. Kyokka ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, Yokaana yakulaakulanya obusaasizi, ekintu ky’ataalina mu kusooka. (Luk. 9:49-56) Kyokka nga wadde yalina obunafu obutali bumu, Yokaana ye ‘muyigirizwa Yesu gwe yali ayagala ennyo.’ N’olwekyo Yesu bwe yali anaatera okufa, yakwasa Yokaana obuvunaanyizibwa obw’okulabirira maama we Maliyamu.​—Yok. 19:26, 27; 21:7, 20, 24.

Yokaana yawangaala okusinga abatume abalala bonna nga Yesu bwe yali yagamba. (Yok. 21:20-22) Yokaana yaweereza Yakuwa n’obwesigwa okumala emyaka nga 70. Bwe yali anaatera okufa mu kiseera kya kabaka wa Rooma eyali ayitibwa Domitian, Yokaana yawaŋŋangusibwa ku kizinga ky’e Patumo “olw’okwogera ebikwata ku Katonda n’olw’okuwa obujulirwa ku Yesu.” Ng’ali eyo awo nga mu 96 E.E., Yokaana yafuna okwolesebwa kwe yawandiika mu kitabo ky’Okubikkulirwa. (Kub. 1:1, 2, 9) Ebyafaayo biraga nti oluvannyuma lwa Yokaana okuteebwa, yagenda mu Efeso era eyo gye yawandiikira ekitabo ky’Enjiri ekiyitibwa erinnya lye n’amabaluwa agamanyiddwa nga Yokaana 1, 2, ne 3, era nti oluvannyuma yafiira mu Efeso awo nga mu 100 E.E.

a Baasabiranga ku yeekaalu mu kiseera ky’okuwaayo ekiweebwayo eky’okumakya n’ekiweebwayo eky’akawungeezi. Ekiweebwayo eky’akawungeezi kyawebwangayo ku ‘ssaawa mwenda’ ez’olweggulo.

b Laba obusanduuko, “Peetero​—Eyali Omuvubi Yafuuka Omutume Omunywevu Ennyo,” ne “Yokaana​—Omuyigirizwa Yesu gwe Yali Ayagala Ennyo.”

c Laba akasanduuko “Kabona Asinga Obukulu ne Bakabona Abakulu.”

d Mu mwaka gwa 33 E.E, mu Yerusaalemi muyinza okuba nga mwalimu Abafalisaayo nga 6,000 n’Abasaddukaayo abatonotono. Ekyo kituyamba okulaba ensonga endala lwaki Abafalisaayo n’Abasaddukaayo baatya nnyo okulaba ng’enjigiriza za Yesu zeeyongera okusaasaana.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share