Oluyimba 98
Okusiga Ensigo z’Obwakabaka
Printed Edition
1. Mujje mmwe ’baddu ba Yakuwa,
Mmwe abeewaddeyo gy’ali.
Mujje tukole omulimu,
Gwa Mukama waffe, Yesu.
Tusige ensigo y’amazima
Awatali kutya kwonna,
Eveemu ebibala ebirungi,
Ettendo liweebwe Katonda.
2. ’Nsigo ezimu zijja kugwa
Ku mitima ’mikalubo.
Balabika ng’abakkirizza,
Nay’o bunafu bweraga.
Amaggwa gazisa ekigambo
Bwe balondawo eby’ensi.
Naye ’nsigo ezimu zo, zibala;
Ezigwa ku ttaka eddungi.
3. Ebinaava mu mulimu gwo,
Byandyesigama nnyo ku ggwe.
Bw’olaga ’bugumiikiriza,
Wandituuka ku mutima.
Bayinza okuggwaamu okutya,
Bw’obakwata obulungi.
N’essanyu oyinza okukungula,
Asatu oba n’ekikumi.
(Era laba Mat. 13:19-23; 22:37.)