Oluyimba 9
Tendereza Yakuwa, Katonda Waffe!
Printed Edition
1. Tendanga Katonda waffe!
Langirira erinnya lye!
Buulira! Ku lunaku lwe,
Kuba lunaatera ’kutuuka.
Kye kiseera ’Mwana wa Katonda
Afuge ’nsi nga Kabaka.
Kirangirire ’ri ’bantu bonna,
Bamanye ’birungi ’bijja!
(CHORUS)
Tendanga! Katonda waffe!
Manyisanga ekitiibwa kye!
2. Tendanga Katonda waffe!
Tendereza erinnya lye!
Kitiibwa Kya Katonda, ffe,
Tukimanyisa n’obuvumu,
Wadde ekitiibwa kye kingi nnyo,
Afaayo ku bantu bonna.
Alaga ekisa n’okwagala
Awulira nga tusaba.
(CHORUS)
Tendanga! Katonda waffe!
Manyisanga ekitiibwa kye!
(Era laba Zab. 89:27; 105:1; Yer. 33:11.)