OLUYIMBA 14
Okutendereza Kabaka w’Ensi Omuggya
Printed Edition
1. Ekibiina ’kinene kiva
mu mawanga gonna;
Yesu Kristo n’abalonde
be bakikuŋŋaanyizza.
’Bwakabaka bwa Katonda
Buzaaliddwa era bujja.
Essuubi lino litugumya;
Mazima lya muwendo nnyo.
(CHORUS)
Tendanga Yakuwa, Tenda n’Omwana we
Gw’alonze nga Kabaka waffe.
Ka tube bawulize bulijjo
Wansi w’obufuzi bwe.
2. Kabaka waffe, Yesu Kristo,
tumutendereza.
Agenda kutuukiriza
Katonda by’ayagala.
Essanyu lingi gye bujja:
Ensi teribaamu kutya;
Abafu balizuukizibwa.
’Ssanyu lijjule ’nsi yonna!
(CHORUS)
Tendanga Yakuwa, Tenda n’Omwana we
Gw’alonze nga Kabaka waffe.
Ka tube bawulize bulijjo
Wansi w’obufuzi bwe.