Okwewaayo okw’Ekikristaayo
Printed Edition
1. Kuba Yakuwa yatonda
Obutonde bwonna,
Byombi ’nsi n’eggulu bibye,
Gyonna mirimu gye.
Yalaga ebitonde bye
Nti ye y’agwanidde
Yekka okuweebwa ettendo,
N’okusinzibwa bonna.
2. Ne Yesu yabatizibwa
Mu butuukirivu,
‘Nzize ’kola by’oyagala,’
Yagamba Katonda.
Bwe yava mu Yoludaani
Yalaga ’bwesigwa,
Era yali muwulize nnyo
Ng’Oyo eyeewaddeyo.
3. Tujja ’maaso go Yakuwa,
Tutende ’linnya lyo.
N’emitima ’miwombeefu,
Twewaddeyo gy’oli.
Wawaayo ’Mwana wo omu,
Muwendo mungi nnyo.
Tetukyetwalanga ku lwaffe,
Tunaabaawo ku lulwo.
(Era laba Mat. 16:24; Mak. 8:34; Luk. 9:23.)