Oluyimba 15
Obutonde Bwoleka Ekitiibwa kya Yakuwa
Printed Edition
1. Yakuwa Katonda nkimanyi nga
Eggulu ttendo lyo liryoleka.
Lyogera emisana n’ekiro
Wadde nga teryatula kigambo.
Lyogera emisana n’ekiro
Wadde nga teryatula kigambo.
2. Wakola enjuba n’emmunyeenye
Wamu n’agayanja aganene.
Bwe tulaba ebiri waggulu
Twewuunya nti ofaayo ku bantu.
Bwe tulaba ebiri waggulu
Twewuunya nti ofaayo ku bantu.
3. Ebiragiro byo birongoofu
N’amateeka go matuukirivu.
Bisinga zaabu omulongoose.
Tubikuume, era tubinyweze.
Bisinga zaabu omulongoose.
Tubikuume, era tubinyweze.
(Era laba Zab. 12:6; 89:7; 144:3; Bar. 1:20.)