Oluyimba 27
Beera ne Yakuwa!
1. Twali nga tutabuddwatabuddwa,
Nga tuli mu ddiini z’obulimba;
Twasanyuka nnyo bwe twawulira
’Mawulire ’malungi.
(CHORUS)
Beera ne Yakuwa;
Munywerereko.
Talikwabulira;
Tambula naye.
Buulira enjiri
Ey’emirembe.
Omwana we Yesu
Ajja kufuga.
2. Tuweereza Katonda n’essanyu,
Tubunyisa wonna ’mazima ge,
Nga bwe tuyamba baganda baffe,
Tutende erinnya lye.
(CHORUS)
Beera ne Yakuwa;
Munywerereko.
Talikwabulira;
Tambula naye.
Buulira enjiri
Ey’emirembe.
Omwana we Yesu
Ajja kufuga.
3. Tetutya Sitaani ky’anaakola,
Kuba Yakuwa anaatuyamba.
Babe bangi, ffe tube batono,
’Maanyi gaffe Katonda.
(CHORUS)
Beera ne Yakuwa;
Munywerereko.
Talikwabulira;
Tambula naye.
Buulira enjiri
Ey’emirembe.
Omwana we Yesu
Ajja kufuga.
(Era laba Zab. 94:14; Nge. 3:5, 6; Beb. 13:5.)