OLUYIMBA 161
Okukola by’Oyagala Kindeetera Essanyu
1. Bwe yamal’o kubatizibwa,
Yesu yafumiitiriza
Kw’ebyo bye wali omwetaaza;
Yali mumalirivu.
Ebintw’e bibi yabyesamba
’Lw’okwagal’e linnya lyo.
Yakola byonna by’oyagala.
Njagal’o kumukoppa.
(CHORUS)
Okukola by’oyagala
Kindeeter’e ssanyu lingi.
Njagala nnyo nkuweereze
N’amaanyi gange gonna.
Okukola by’oyagala
Kinywez’e ssuubi lye nnina.
Nkiraba nti onjagala.
Nja kukutendereza
Buli lukya.
2. Nze nnafuna essanyu lingi
Bwe nnakumanya Yakuwa.
Njagal’o kuyamba ’balala
Nabo bakuweereze.
Era wampa ab’oluganda;
Mpeereza wamu nabo.
Okuyitibwa erinnya lyo
Nkyenyumirizaamu nnyo.
(CHORUS)
Okukola by’oyagala
Kindeeter’e ssanyu lingi.
Njagala nnyo nkuweereze
N’amaanyi gange gonna.
Okukola by’oyagala
Kinywez’e ssuubi lye nnina.
Nkiraba nti onjagala.
Nja kukutendereza
Buli lukya.
Nja ‘kkutendereza.
(Laba ne Zab. 40:3, 10.)