OLUYIMBA 56
Nyweza Amazima
1. Ekkubo ery’amazima lye lisinga,
Naye ggw’oba weesalirawo.
Kale kkiriza Yakuwa by’akugamba;
By’akugamba bituufu nnyo.
(CHORUS)
Nyweza ’mazima
Gabe ga ddala gy’oli.
Ojja kufuna
Essanyu lingi
Bw’onoonyweza ’mazima.
2. Okufuba kwo n’ebiseera by’owaayo
Mu kuweereza Katonda wo
Bya kkuviiramu ’bulamu ’butaggwaawo,
Bw’ojj’o kunyumirwa ennyo.
(CHORUS)
Nyweza ’mazima
Gabe ga ddala gy’oli.
Ojja kufuna
Essanyu lingi
Bw’onoonyweza ’mazima.
3. Ffe tuli baana mu maaso ga Katonda
Twetaag’o bulagirizi bwe.
Kale tambula ne Kitaffe Yakuwa
Ofune emikisa gye.
(CHORUS)
Nyweza ’mazima
Gabe ga ddala gy’oli.
Ojja kufuna
Essanyu lingi
Bw’onoonyweza ’mazima.
(Laba ne Zab. 26:3; Nge. 8:35; 15:31; Yok. 8:31, 32.)