OLUYIMBA 79
Mubayigirize Basobole Okuba Abanywevu
Printed Edition
1. Kya ssanyu okuyigiriza
Endiga za Yakuwa.
Laba bwe bakulaakulanye
Ne banyweza ’mazima.
(CHORUS)
Yakuwa, tukusaba ffe
Endiga zo ozikuume,
Era tukwegayirira Obayambe
Beeyongere okunywera.
2. Bwe twali tubayigiriza
Twabasabiranga nnyo.
Kirungi okubalaba nga
Bakuze mu by’omwoyo.
(CHORUS)
Yakuwa, tukusaba ffe
Endiga zo ozikuume,
Era tukwegayirira Obayambe
Beeyongere okunywera.
3. Ka babe bagumiikiriza
Mu mbiro z’obulamu,
Era beeyongerere ddala
Okuba abanywevu.
(CHORUS)
Yakuwa, tukusaba ffe
Endiga zo ozikuume,
Era tukwegayirira Obayambe
Beeyongere okunywera.
(Laba ne Luk. 6:48; Bik. 5:42; Baf. 4:1.)