Oluyimba 130
Obulamu Kyamagero
Printed Edition
1. ’Musana gwaka, ’Nkuba etonnya,
Omwana azaalibwa, ’Mmere ’mera—
Byonna biva wa Katonda waffe.
Byamagero by’akola tubeerewo, ffe.
(CHORUS)
’Bulamu kirabo kya muwendo nnyo.
Oyo abutuwadde tumwagalenga nnyo.
Ddala obulamu bwaffe kya magero;
Ate nga kirabo, eky’omuwendo ’nnyo.
2. Wadde ng’eriyo Abatasiima
Katonda eyatuwa Obulamu;
Tetuli ng’abo. Ffe tumutenda.
Tumwebaza obulamu bwe tulina.
(CHORUS)
’Bulamu kirabo kya muwendo nnyo.
Bantu bannaffe bonna tubaagalenga nnyo.
Ddala obulamu bwaffe kya magero;
Ate nga kirabo, eky’omuwendo ’nnyo.
(Era laba Yob. 2:9; Zab. 34:12; Mub. 8:15; Mat. 22:37-40; Bar. 6:23.)