Oluyimba 140
Obulamu bwa Payoniya
Printed Edition
Wanula:
Obudde nga bukya, enjuba ng’evaayo,
Tusaba Yakuwa
ne tugenda
okubuulira.
Omulimu gwaffe gutunyumira nnyo.
Wadde si bonna nti
basiima obubaka bwaffe.
(CHORUS)
Ffe twesalirawo
’Kuweereza tutyo.
Okugulumiza Yakuwa.
Tugumira byonna,
’Nkuba n’omusana.
Yakuwa tuba tumugamba:
“Nkwagala.”
Ng’obudde buzibye, nga tuddayo eka,
Tuba tukooye nnyo
naye tubeera
basanyufu.
Tusaba Yakuwa era tumwebaza,
Kubanga atuwa
emikisa buli lunaku.
(CHORUS)
Ffe twesalirawo
’Kuweereza tutyo.
Okugulumiza Yakuwa.
Tugumira byonna,
’Nkuba n’omusana.
Yakuwa tuba tumugamba:
“Nkwagala.”
(Era laba Yos. 24:15; Zab. 92:2; Bar. 14:8.)