Oluyimba 75
Ebituleetera Essanyu
1. Bingi nnyo ebitusanyusa,
’Ssanyu lyaffe lyeyongera.
Ebyegombebwa amawanga
Bigenda bitwegattako.
Essanyu lyaffe lisinziira,
Mu Kigambo kya Katonda.
Tukisoma buli lunaku;
Tunyweza okukkiriza.
Essanyu lye tulina liri
Ng’omuliro mu mutima.
Wadde tuba n’emitawaana,
Yakuwa atuwa ’maanyi.
(CHORUS)
Yakuwa lye ssanyu lyaffe,
By’akola bitusanyusa.
Emirimu gye gya kitalo nnyo,
Mulungi era wa maanyi!
2. Bye yakola bitusanyusa,
Eggulu, ennyanja, n’ensi.
Twewuunya bwe tutunuulira,
Emirimu gy’engalo ze.
Tubulangirira n’essanyu,
’Bwakabaka bwa Katonda.
Tubwogerako buli wamu,
N’emikisa gye buleeta.
Essanyu eritaliggwaawo,
Liri kumpi okutuuka.
Ensi empya n’eggulu eppya
Bireeta essanyu eryo.
(CHORUS)
Yakuwa lye ssanyu lyaffe,
By’akola bitusanyusa.
Emirimu gye gya kitalo nnyo,
Mulungi era wa maanyi!
(Era laba Ma. 16:15; Is. 12:6; Yok. 15:11.)